Febwali 24–Maaki 1
OLUBEREBERYE 20-21
Oluyimba 108 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Bulijjo Yakuwa Atuukiriza by’Asuubiza”: (Ddak. 10)
Lub 21:1-3—Saala yafuna olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi (wp17.5 lup. 14-15)
Lub 21:5-7—Yakuwa yakola ekyo ekyali kirabika ng’ekitasoboka
Lub 21:10-12, 14—Ibulayimu ne Saala baali bakkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku Isaaka
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 20:12—Mu ngeri ki Saala gye yali mwannyina wa Ibulayimu? (wp17.3 lup. 12, obugambo obuli wansi)
Lub 21:33—Mu ngeri ki Ibulayimu gye ‘yakoowoola erinnya lya Yakuwa’? (w89-E 7/1 lup. 20 ¶9)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 20:1-18 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omubuulizi alaze atya omuganyulo oguli mu kyawandiikibwa? Ataddewo atya ekyokulabirako ekirungi eky’okuddira omuntu alaze okusiima?
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 4)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) bhs lup. 35 ¶19-20 (th essomo 3)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Lipoota y’Omwaka gw’Obuweereza: (Ddak. 15) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’omwaka gw’obuweereza evudde ku ofiisi y’ettabi, buuza ebibuuzo ababuulizi be balonze nga bukyali, abalina ebyokulabirako ebirungi bye baafuna mu buweereza omwaka oguwedde.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 105
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 119 n’Okusaba