ESSUULA 12
Yesu Atuyigiriza Okusaba
OYOGERA ne Yakuwa Katonda?— Ayagala oyogere naye. Bw’oyogera ne Katonda, oba osaba. Yesu yayogeranga ne Kitaawe ow’omu ggulu. Oluusi yayagalanga okubeera yekka ng’ayogera ne Katonda. Bayibuli egamba nti lumu, ‘yayambuka ku lusozi ng’ali yekka n’asaba. Wadde obudde bwali buzibye, yabeerayo yekka.’—Matayo 14:23.
Wa w’oyinza okusabira Yakuwa ng’oli wekka?— Oboolyawo osobola okwogera ne Yakuwa ekiro nga tonneebaka. Yesu yagamba nti: “Bw’osabanga, yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo.” (Matayo 6:6) Osaba Yakuwa buli kiro nga tonneebaka?— Osaanidde okukikola.
Yesu era yasabanga ng’ali wamu n’abantu abalala. Mukwano gwe Lazaalo bwe yafa, Yesu Yokaana 11:41, 42) Era Yesu yasabanga bwe yakuŋŋaananga n’abayigirizwa be. Ogenda mu nkuŋŋaana ezibaamu okusaba?— Mu nkuŋŋaana ng’ezo omuntu omukulu atera okusaba ng’abalala bawuliriza. Wuliriza bulungi by’ayogera kubanga aba ayogera ne Katonda ku lulwo. Awo ojja kusobola okugamba nti “Amiina” ng’amaze okusaba. Omanyi kye kitegeeza okugamba nti “Amiina” oluvannyuma lw’okusaba?— Kitegeeza nti osiimye okusaba okwo. Kiraga nti okkiriziganya nakwo era nti ebyogeddwa naawe bye wandyagadde okusaba.
yasaba ng’ali wamu n’abalala mu kifo gye baali baziise Lazaalo. (Yesu era yasabanga ng’agenda okulya emmere. Yeebazanga Yakuwa olw’emmere gye yabanga amuwadde. Osaba nga tonnalya mmere?— Kiba kirungi okwebaza Yakuwa olw’emmere gy’atuwadde nga tetunnatandika kulya. Omuntu omulala ayinza okusaba nga temunnatandika kulya. Naye watya ng’ogenda okulya wekka? Oba watya ng’ogenda okuliira awamu n’abantu abateebaza Yakuwa?— Awo oba olina okwesabira.
Kikwetaagisa bulijjo okusaba mu ddoboozi eriwulikika? Yakuwa asobola okuwulira bw’osaba mu kasirise?— Tusobola okufuna
eky’okuddamu nga twekeneenya ebyo ebyatuuka ku Nekkemiya. Yali asinza Yakuwa era yakolanga mu lubiri lwa Kabaka Alutagizerugizi ow’e Busuuli. Lumu Nekkemiya yanakuwala nnyo bwe yawulira nti ebisenge bya Yerusaalemi, ekibuga ekikulu eky’abantu be, byali bimenyeddwa.Kabaka bwe yabuuza Nekkemiya ekyali kimunakuwazizza, Nekkemiya yasooka kusaba mu kasirise. Awo Nekkemiya n’alyoka agamba kabaka ekyali kimunakuwazizza era n’amusaba amukkirize agenda e Yerusaalemi addemu okuzimba ebisenge ebyali bimenyeddwa. Kiki ekyaddirira?—
Katonda yaddamu okusaba kwa Nekkemiya. Kabaka yamukkiriza okugenda! Era kabaka yawa Nekkemiya emiti mingi egy’okukozesa mu kuzimba ebisenge. N’olwekyo, Katonda asobola okuddamu okusaba Nekkemiya 1:2, 3; 2:4-8.
kwaffe, ne bwe tuba nga tusabye mu kasirise.—Lowooza ku kino. Osaanidde okukutamya ku mutwe ng’osaba? Oba, osaanidde okufukamira? Ggwe olowooza otya?— Oluusi Yesu yafukamiranga ng’asaba. Olulala yayimiriranga buyimirizi. Ate olulala, yayimusanga omutwe gwe n’atunula waggulu ng’asaba, nga bwe yakola ng’asabira Lazaalo.
Kati olwo, ekyo kiraga ki?— Kiraga nti engeri gy’obaamu ng’osaba si y’esinga obukulu. Oluusi kiba kirungi okukutamya ku mutwe gwo n’ozibiriza. Olulala oyinza n’okufukamira, nga Yesu bwe yakola. Naye kijjukire nti tusobola okusaba Katonda ekiseera kyonna emisana oba ekiro, era ajja kuwulira essaala zaffe. Ekintu ekikulu ekikwata ku kusaba kwe kuba nti tukkiriza nti Yakuwa awuliriza essaala zaffe. Okkiriza nti Yakuwa awulira essaala zo?—
Biki bye tusaanidde okutegeeza Yakuwa nga tusaba?— Ggwe bw’oba osaba, kiki ky’ogamba Katonda?— Yakuwa atuwa ebintu ebirungi bingi, era kiba kirungi okumwebaza olw’ebintu ebyo, si bwe kiri?— Tusobola okumwebaza olw’emmere gy’atuwa. Naye wali omwebazizaako olw’eggulu erya bbulu, emiti egya kiragala, n’olw’ebimuli ebirabika obulungi?— Jjukira nti ebintu ebyo ye yabitonda.
Lumu abayigirizwa ba Yesu baamusaba abayigirize okusaba. Omuyigiriza Omukulu yakikola, era n’ababuulira ebintu ebisinga obukulu bye baalina okusaba. Ebintu ebyo obimanyi?— Bikkula Matayo essuula 6 okuva ku lunyiriri 9 okutuuka ku lunyiriri 13. Mu nnyiriri ezo, waliwo essaala abantu bangi gye bayita Essaala ya Kitaffe oba Essaala ya Mukama Waffe. Ka tugisomere wamu.
Bayibuli yo muWano Yesu yatuyigiriza okusaba ebikwata ku linnya lya Katonda. Yagamba tusabe nti erinnya lya Katonda litukuzibwe. Erinnya lya Katonda y’ani?— Ye Yakuwa, era tusaanidde okwagala erinnya eryo.
Eky’okubiri, Yesu yatuyigiriza okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. Obwakabaka buno tubwetaaga nnyo kubanga bwe bujja kuleeta emirembe mu nsi era bugifuule olusuku lwa Katonda.
Eky’okusatu, Omuyigiriza Omukulu yatuyigiriza tusabe Katonda nti by’ayagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Bwe tusaba bwe tutyo, tuba tusaanidde n’okukola ebyo Katonda by’ayagala.
Ate era, Yesu yatuyigiriza okusaba emmere eya buli lunaku. Era yagamba nti tusaanidde okwetondera Katonda olw’ebibi bye tuba tukoze. Era tusaanidde okumusaba atusonyiwe. Naye nga Katonda tannatusonyiwa, tulina okusooka okusonyiwa abalala olw’ebibi bye baba batukoze. Ekyo kikwanguyira okukola?—
N’ekisembayo, Yesu yagamba nti tusaanidde okusaba Yakuwa Katonda atuyambe tuleme okutwalirizibwa ebikemo bya Sitaani Omulyolyomi. N’olwekyo, ebintu bino byonna tusobola okubissa mu ssaala zaffe nga tusaba Katonda.
Tusaanidde okukkiriza nti Yakuwa awulira essaala zaffe. Ng’oggyeko okumusaba atuyambe, tulina okumwebazanga. Asanyuka nnyo bwe tumusaba mu bwesimbu era nga tulina ebiruubirirwa ebirungi. Era ajja kutuwa ebyo bye tumusaba. Ggwe ekyo okikkiriza?—
Okubuulirira okulala okulungi okukwata ku kusaba kuli mu Abaruumi 12:12; 1 Peetero 3:12; ne mu 1 Yokaana 5:14.