ESSUULA 19
Kirungi Okulwana?
WALIWO abalenzi oba abawala b’omanyi abeewaga nti ba maanyi?— Oyagala okubeera nabo? Oba wandyagadde kuba n’omuntu ow’ekisa ayagala emirembe?— Omuyigiriza Omukulu yagamba nti: “Balina essanyu abaleetawo emirembe, kubanga baliyitibwa ‘baana ba Katonda.’”—Matayo 5:9.
Naye oluusi abantu abamu bakola ebintu ebitunyiiza. Si bwe kiri?— N’olwekyo, tuyinza okwagala okubeesasuza. Lumu, kino kyatuuka ku bayigirizwa ba Yesu bwe baali nga bagenda naye e Yerusaalemi. Ka nkubuulire ekyaliwo.
Bwe baali batambuddeko akabanga, Yesu yatuma abamu ku bayigirizwa be bagende mu kyalo ky’Abasamaliya babafunire ekifo we banaawummulira. Naye abantu b’omu kitundu ekyo baali tebaagala Yesu n’abayigirizwa be babeere mu kitundu kyabwe, kubanga Abasamaliya baalina eddiini yaabwe. Era baali tebaagala muntu yenna agenda e Yerusaalemi okusinza.
Kyo kituufu nti oluusi abantu abamu bayinza okutuyisa obubi. Abaana abamu bayinza okuba nga tebaagala tuzannye nabo. Bayinza n’okukugamba nti: “Tetwagala kubeera naawe.” Singa ekyo kibaawo, kisobola okutunakuwaza, si bwe kiri? Tuyinza okuwulira nga twagala okubeesasuza. Naye ddala tusaanidde okukikola?—
Bikkula Bayibuli yo tusome Engero essuula 24, olunyiriri 29. Wagamba nti: “Toyogeranga nti ndimukola nga ye bw’ankoze nze; ndisasula omusajja oyo ng’omulimu gwe bwe gubadde.”
Olowooza ekyawandiikibwa ekyo kitegeeza ki?— Kitegeeza nti tetusaanidde kwesasuza. Tetusaanidde kuyisa bubi muntu olw’okuba naye atuyisizza bubi. Naye watya singa omuntu akusosonkereza ng’ayagala mulwane? Ayinza okugezaako okukunyiiza ng’akuyita amanya agaswaza. Ayinza okukusekerera era n’akugamba nti oli mutiitiizi. Kiki kye wandikoze? Wandisazeewo okulwana naye?—
Ka tulabe ekirala Bayibuli ky’egamba. Bikkula Matayo essuula 5, olunyiriri 39. Yesu agamba nti: “Omubi bw’akukolanga ekibi, teweesasuzanga; buli akukuba oluyi ku ttama lyo erya ddyo, omukyusizanga n’erya kkono.” Olowooza Yesu okwogera ebyo yali ategeeza ki? Yali ategeeza nti omuntu bw’akukuba ekikonde ku ttama erya ddyo, omukyusiza n’erya kkono?—
Nedda, ekyo Yesu si kye yali ategeeza. Oluyi teruli ng’omuntu okukuba kikonde. Wabula, okukuba oluyi kiringa omuntu bw’anaakusindika. Omuntu ayinza okutukuba oluyi ng’ayagala tunyiige tulwane
naye. Era kiki ekiyinza okubaawo singa tunyiiga naffe ne tumusindika?— Oboolyawo, tuyinza okulwana naye.Naye Yesu yali ayagala abagoberezi beewalenga okulwana. N’olw’ensonga eyo, yagamba nti omuntu bw’atukuba oluyi, naffe tetusaanidde kulumudiza. Tetusaanidde kunyiiga ne tutuuka n’okwagala okulwana. Singa tulwana, tujja kuba tetulaze nti tuli ba njawulo ku oyo eyatusosonkeleza.
Omuntu bw’aba ayagala okulwana naawe, olowooza kiki ekisingayo obulungi kye wandikoze?— Kumuviira. Omulala ayinza okukusindika emirundi egiwerako. Naye oluvannyuma, ayinza okulekera awo okukikola. N’olwekyo bw’omuviira, tekitegeeza nti oli munafu. Wabula kiraga nti toyagala kwesasuza.
Naye watya singa olwana n’omuntu era n’omuwangula? Kiki ekiyinza okuddirira?— Oyo gw’okubye ayinza okukomawo n’emikwano gye. Bayinza okukuba emiggo oba okufumita ebiso. Kati otegedde ensonga lwaki Yesu yatugaana okulwana?—
Kiki kye tusaanidde okukola bwe tulaba abantu abalala nga balwana? Tusaanidde okubaako gwe tuwagira?— Bayibuli etubuulira ekituufu kye tusaanidde okukola. Bikkula mu Engero essuula 26, olunyiriri 17. Wagamba nti: ‘Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako aba ng’omuntu akwata amatu g’embwa.’
Kiki ekiyinza okubaawo singa osika amatu g’embwa? Embwa eyinza okulumizibwa era n’eyagala okukuluma, si bwe kiri? Embwa bw’eba eyagala ogite, ggwe oyongera kuginyweza matu era nayo ne yeeyongera okukambuwala. Bw’ogita, oboolyawo eyinza okukuluma. Naye ddala osobola okubeera awo ekiseera kyonna ng’oginywezezza amatu?—
Obwo bwe buzibu bwe tuyinza okwessaamu singa twesembereza abo ababa balwana ne tubaako gwe tuwagira. Tuyinza obutamanya ani eyavuddeko olutalo oba lwaki balwana. Omu ayinza okuba ng’akuba munne olw’okuba yabbye ekintu kye. Singa tutaasa oyo gwe bakuba, tuba tuyamba mubbi. Ekyo tekyandibadde kirungi n’akatono.
Kati olwo, kiki kye wandikoze ng’olabye abalwana?— Bwe baba balwanira ku ssomero,
osobola okudduka n’otegeeza omusomesa. Naye bwe baba balwanira wala okuva ku ssomero, osobola okutegeeza omu ku bazadde bo oba owa poliisi. Yee, ne bwe kiba nti abantu abalala baagala okulwana, ffe tusaanidde okuba ba mirembe.Abayigirizwa ba Yesu ab’amazima bakola kyonna kye basobola okwewala okulwana. Mu ngeri eyo, balaga nti bamalirivu okukola ekituufu. Bayibuli egamba nti omuyigirizwa wa Yesu ‘tekimwetaagisa kulwana, wabula alina okuba omukkakkamu eri abantu bonna.’—2 Timoseewo 2:24.
Kati ka twetegereze okubuulira okulala okulungi okunaatuyamba okwewala okulwana: Abaruumi 12:17-21 ne 1 Peetero 3:10, 11.