ESSUULA 23
Ensonga Lwaki Abantu Balwala
OMANYIIYO omuntu yenna omulwadde?— Oboolyawo naawe otera okulwala. Oyinza okulwala ssenyiga oba olubuto luyinza okukuluma. Abantu abamu balwadde nnyo. Tebasobola na kuyimirira nga tewali abayambye. Kino kibaawo ng’abantu bakaddiye nnyo.
Ffenna oluusi tulwala. Omanyi ensonga lwaki abantu balwala, bakaddiwa, era ne bafa?— Lumu, baaleeta eri Yesu omusajja eyali tasobola kutambula, era Yesu n’alaga ensonga lwaki abantu balwala era ne bafa. Ka nkubuulire ebyaliwo.
Yesu yali abeera mu nnyumba eyali mu kabuga akaali okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya. Ekibiina ky’abantu kyajja okumulaba. Abantu baali bangi nnyo ne batasobola na kuggya mu nnyumba. Abamu abaali ebweru baali tebasobola na kutuuka ku mulyango. Naye era ng’abantu beeyongera kujja! Abamu ku abo abajja oluvannyuma baaleeta omusajja eyasannyalala nga tasobola na kutambula. Kyali kyetaagisa abasajja bana okumusitulira ku katanda.
Omanyi ensonga lwaki omusajja oyo omulwadde baamuleeta eri Yesu?— Baali bakkiriza nti Yesu asobola okumuwonya. Omanyi engeri gye baatuusa omusajja oyo eyasannyalala awali Yesu wadde ng’ennyumba yali ejjudde abantu?—
Ekifaananyi ky’olaba wano kiraga engeri gye baakikolamu. Okusooka, baasitula omusajja oyo ne bamutuusa waggulu ku kasolya k’ennyumba. Akasolya kaali kaseeteevu nga tekeesulise. Baakola ekituli ekinene mu kasolya. Oluvannyuma baayisa omusajja omulwadde mu
kituli ekyo, ng’agalamidde ku katanda ke, ne bamutuusa mu nnyumba awaali Yesu. Nga baalina okukkiriza kwa maanyi!Abantu bonna abaali mu nnyumba beewuunya nnyo bwe baalaba ekyo ekyali kigenda mu maaso. Omusajja eyasannyalala baamusiza ku katanda ke n’atuukira ddala wakati we baali. Olowooza Yesu yanyiiga?— Nedda! Yasanyuka nnyo bwe yalaba nga balina okukkiriza. Yagamba omusajja eyasannyalala nti: “Ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Kyokka abantu abamu baalowooza nti si kituufu Yesu okwogera bw’atyo. Baali tebalowooza nti asobola okusonyiwa ebibi. N’olwekyo okubalaga nti ddala asobola okusonyiwa ebibi, Yesu yagamba omusajja nti: “Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”
Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, omusajja oyo eyali asannyaladde yawona! Kati yali asobola okuyimuka yekka n’atambula. Abantu abaalaba ekyamagero kino beewuunya. Mu bulamu bwabwe bwonna baali tebalabanga ku kintu kyewuunyisa ng’ekyo! Baatendereza Yakuwa olw’okubawa Omuyigiriza Omukulu, eyali asobola n’okuwonya endwadde z’abantu.—Kiki kye tuyigira ku kyamagero kino?— Tuyiga nti Yesu alina obuyinza okusonyiwa ebibi n’okuwonya abantu abalwadde. Naye era waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo kye tuyiga. Tuyiga nti ekibi kye kireetera abantu okulwala.
Okuva bwe kiri nti oluusi ffenna tulwala, kino kiraga nti ffenna tuli boonoonyi?— Yee, Bayibuli egamba nti ffenna twazaalibwa n’ekibi. Omanyi kye kitegeeza okuzaalibwa n’ekibi?— Kitegeeza nti twazaalibwa tetutuukiridde. Oluusi tukola ebintu ebibi wadde nga tuba tetwagala kubikola. Omanyi engeri ffenna gye twafunamu ekibi?—
Twafuna ekibi kubanga omusajja eyasooka, Adamu, yajeemera Katonda. Yayonoona bwe yamenya etteeka lya Katonda. Era ffenna twasikira ekibi okuva ku Adamu. Omanyi engeri gye twasikiramu ekibi ekyo? Ka ngezeeko okukinnyonnyola mu ngeri gy’osobola okutegeera.
Oboolyawo, wali olabye omuntu ng’afumbira emigaati mu mikebe. Kiki ekiyinza okubaawo singa omukebe gubaako akamogo?
— Emigaati gyonna egifumbiddwa mu mukebe ogwo gibaako akamogo, si bwe kiri?—Adamu yali ng’omukebe ogwo, ate ffe tuli ng’emigaati. Yafuuka omuntu atatuukiridde bwe yamenya etteeka lya Katonda. Mu ngeri eyo, yali ng’afunye akamogo. Kati olwo, bwe yandizadde abaana, bandibadde batya?— Abaana be bonna bandibadde n’akamogo oba bandibadde tebatuukiridde.
Abaana abasinga obungi bazaalibwa nga tebaliiko bulemu bw’amaanyi. Bazaalibwa n’emikono gyabwe gyombi n’amagulu. Naye olw’okuba tebatuukiridde, balwala era ekiseera kituuka ne bafa.
Kya lwatu, abantu abamu balwalalwala nnyo okusinga abalala. Lwaki kiri bwe kityo? Kyandiba nti bo baazaalibwa n’ekibi ekisinga eky’abalala?— Nedda, ffenna twasikira ekibi kye kimu. Ffenna twazaalibwa tetutuukiridde. N’olwekyo, ffenna ekiseera kituuka ne tulwala. N’abantu abafuba okugondera amateeka ga Katonda gonna era ne beewala okukola ebintu ebibi, balwala.
Kati olwo, lwaki abantu abamu balwalalwala nnyo okusinga abalala?— Waliwo ebintu bingi ebibaleetera okulwala. Kiyinzika okuba nti tebalya mmere emala. Oba bayinza okuba nga tebalya bulungi. Bayinza n’okuba nga balya nnyo ebintu ebiwoomerera nga keeki oba swiiti. Ekirala, bayinza okuba nga balwawo okwebaka. Oba bayinza okuba nga tebambala ngoye zibuguma mu budde obw’empewo. Ate abantu abamu, emibiri gyabwe minafu nnyo ne kiba nti tegisobola na kulwanyisa ndwadde wadde nga bagezaako okwerabirira.
Ekiseera kirituuka ne tuba nga tetukyalwala? Ekiseera kirituuka ne tuggibwako ekibi?— Kiki Yesu kye yakolera omusajja eyasannyalala?— Yesu yasonyiwa ebibi bye era n’amuwonya. Mu ngeri eyo, Yesu yalaga ekyo ky’ajja okukolera abantu bonna abafuba okukola ebyo ebisanyusa Katonda.
Singa tulaga nti tetwagala kwonoona era ne tulaga nti tukyawa ekikyamu, Yesu ajja kutuwonya. Mu kiseera eky’omu maaso, ajja kuggyawo obutali butuukirivu bwaffe. Kino ajja kukikola bw’anaaba afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Ekibi tekijja kutuggibwako omulundi gumu. Kijja kuggibwawo mpolampola. Era ekibi bwe kinaaba kiggiddwawo, tetuliddamu kulwala. Tujja kuba n’obulamu obutuukiridde. Ng’ekyo kiriba kya ssanyu nnyo!
Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri ekibi gye kikosaamu buli omu, soma Yobu 14:4; Zabbuli 51:5; Abaruumi 3:23; 5:12; ne 6:23.