ESSUULA 2
Ebbaluwa Okuva eri Katonda ow’Okwagala
MBUULIRA, kitabo ki ky’osinga okwagala?— Abaana abamu bayinza okugamba nti basinga kwagala ekyo ekyogera ku bisolo. Ate abalala, ekyo ekirimu ebifaananyi ebingi. Tunyumirwa nnyo okusoma ebitabo ng’ebyo.
Naye ebitabo ebisingayo obulungi mu nsi by’ebyo ebitutegeeza amazima agakwata ku Katonda. Ekimu ku bitabo ebyo kya muwendo nnyo okusinga ebitabo ebirala byonna. Ekitabo ekyo okimanyi?— Ye Bayibuli.
Lwaki Bayibuli kitabo kya muwendo nnyo?— Kubanga kyava eri Katonda. Kitutegeeza ebimukwatako n’ebintu ebirungi by’ajja okutukolera. Era kitulaga bye tusaanidde okukola okusobola okumusanyusa. Kiringa ebbaluwa Katonda gye yatuwandiikira.
Bayibuli yonna Katonda yali asobola okugiwandiikira mu ggulu n’alyoka agiwa abantu. Naye teyakola bw’atyo. Wadde nga byonna ebyawandiikibwa mu Bayibuli byava eri Katonda, yakozesa baweereza be ku nsi okugiwandiika.
Ekyo Katonda yakikola atya?— Okusobola okumanya engeri gye yakikolamu, lowooza ku kino. Bwe tuwulira eddoboozi ly’omuntu ku rediyo, omuntu oyo ayinza okuba ng’ayogerera wala nnyo. Bwe tulaba ttivi, tusobola okulaba ebifaananyi by’abantu abali mu nsi endala era n’okuwulira bye boogera.
Abantu bayinza n’okugenda ku mwezi nga bakozesa ebizungirizi, era bayinza n’okuweereza obubaka ku nsi nga bali eyo. Ekyo obadde okimanyi?— Bwe kiba nti abantu basobola okukola ekyo, Katonda y’atasobola
kuweereza bubaka kuva mu ggulu?— Kya lwatu asobola! Era ekyo yakikola dda ng’abantu tebannakola rediyo oba ttivi.Musa y’omu ku basajja abaawulira Katonda ng’ayogera. Musa yali tayinza kulaba Katonda, naye yali asobola okuwulira eddoboozi lye. Waaliwo abantu bangi nnyo abaawulira Katonda ng’ayogera. Mu butuufu, ku lunaku olwo, Katonda yakankanya olusozi lwonna, era eggulu lyamyansa era ne libwatuka. Abantu baakitegeera nti Katonda ye yali ayogera, naye ne batya nnyo. N’olwekyo baagamba Musa nti: “Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.” Nga wayiseewo ekiseera, Musa yawandiika ebyo Katonda bye yagamba. Era ebyo Musa bye yawandiika biri mu Bayibuli.—Okuva 20:18-21.
Musa ye yawandiika ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli. Naye si ye yekka eyawandiika ebitabo byonna ebiri mu Bayibuli. Katonda yakozesa abasajja nga 40 okuwandiika Bayibuli. Abasajja abo baaliwo dda nnyo, era kyatwala emyaka mingi okumaliriza okuwandiika Bayibuli. Yee, kyatwala emyaka nga 1,600! Ekyewuunyisa kiri nti wadde ng’abamu ku basajja bano baali tebamanyiganye, ebyo bye baawandiika bikwatagana.
Abamu ku basajja Katonda be yakozesa okuwandiika Bayibuli baali bamanyiddwa nnyo. Wadde nga Musa yali mulunzi wa ndiga, yafuuka omukulembeze w’eggwanga lya Isiraeri. Sulemaani yali kabaka eyali asinga amagezi n’obugagga mu nsi. Naye abawandiisi abalala baali tebamanyiddwa nnyo. Amosi ye yalabiriranga miti egissaako ebibala ebiyitibwa ettiini.
Ate era, omu ku bawandiisi ba Bayibuli yali musawo. Omanyi erinnya lye?— Ye Lukka. Omuwandiisi omulala yali asolooza misolo. Yali ayitibwa Matayo. Ate omulala yali munnamateeka, eyali amanyi ennyo amateeka g’eddiini y’Ekiyudaaya. Ye yawandiika ebitabo ebisinga obungi mu Bayibuli. Omanyi erinnya lye?— Ye Pawulo. Ate abalala, Peetero ne Yokaana, abayigirizwa ba Yesu, baali bavubi.
Bangi ku bawandiisi ba Bayibuli bano baawandiika ku bintu Katonda bye yali agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. Baamanya batya ebintu ebyo nga tebinnabaawo?— Katonda ye yategeeza abasajja abo ebintu ebyo. Yababuulira ebyo ebyandibaddewo.
Mu kiseera Yesu, Omuyigiriza Omukulu we yabeerera ku nsi, ebitabo ebisinga obungi mu Bayibuli byali bimaze okuwandiikibwa. Naye jjukira nti Omuyigiriza Omukulu yali abeera mu ggulu. Yali amanyi Katonda kye yali akoze. Yali akikkiriza nti Bayibuli yava eri Katonda?— Yee, yali akikkiriza.
Yesu bwe yalinga abuulira abantu ebikwata ku mirimu gya Katonda, yabasomeranga okuva mu Bayibuli. Oluusi yabategeezanga butegeeza Yokaana 8:26) Yesu yali awulidde ebintu bingi okuva eri Katonda kubanga yali abeera ne Katonda. Wa we tuyinza okusoma ebyo Yesu bye yayogera?— Mu Bayibuli. Byonna byawandiikibwa tusobole okubisoma.
ekyo Bayibuli ky’egamba. Era waliwo obubaka obulala Yesu bwe yatuleetera okuva eri Katonda. Yesu yagamba nti: “Ebintu bye nnawulira okuva gy’ali bye njogera eri ensi.” (Kya lwatu, abo Katonda be yakozesa okuwandiika Bayibuli, baawandiika mu lulimi olwakozesebwanga mu bulamu obwa bulijjo. N’olwekyo ebitabo ebisinga obungi mu Bayibuli byawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ebimu mu Lulamayiki, n’ebirala bingi mu Luyonaani. Okuva bwe kiri nti abantu abasinga obungi leero tebamanyi kusoma nnimi ezo, Bayibuli evvuunuddwa mu nnimi endala. Leero ebitundu ebimu ebya Bayibuli bisobola okusomebwa mu nnimi ezisoba mu 2,260. Kirowoozeeko ekyo! Bayibuli
bbaluwa Katonda gye yawandiikira abantu bonna. Wadde ng’evvuunuddwa mu nnimi nnyingi, obubaka obugirimu bukyali bwa Katonda.Bayibuli by’eyogera bikulu nnyo gye tuli. Yawandiikibwa dda nnyo. Naye eyogera ku bintu ebiriwo leero. Era etubuulira ebyo Katonda by’agenda okukola mu maaso awo. Ebyo by’eyogera bisanyusa nnyo. Bituwa essuubi ery’ekitalo.
Bayibuli era etubuulira engeri Katonda gy’ayagala tweyiseemu. Etubuulira ekituufu n’ekikyamu ggwe nange bye twetaaga okumanya. Etubuulira ebikwata ku bantu abaakola ebintu ebibi n’ebyo ebyabatuukako, tusobole okwewala ebizibu bye baafuna. Era etubuulira ebikwata ku bantu abaakola ebintu ebirungi n’engeri gye baaganyulwamu. Byonna byawandiikibwa okutuganyula.
Naye okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebiri mu Bayibuli, tulina okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo kino: Ani yatuwa Bayibuli? Wandizzeemu otya?— Yee, Bayibuli yava eri Katonda. Kati olwo tuyinza tutya okulaga nti ddala tuli ba magezi?— Nga tuwuliriza Katonda era nga tukola ebyo by’agamba.
N’olwekyo, twetaaga okuwaayo ekiseera ne tusomera wamu Bayibuli. Bwe tufuna ebbaluwa okuva eri omuntu gwe twagala ennyo, tugisoma emirundi mingi. Eba ya muwendo gye tuli. Ne Bayibuli twandigitutte nga ya muwendo gye tuli kubanga bbaluwa eyava eri Oyo asingayo okutwagala. Bbaluwa eyava eri Katonda ow’okwagala.
Soma ebyawandiikibwa bino ebiraga nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda, ekyawandiikibwa okutuganyula: Abaruumi 15:4; 2 Timoseewo 3:16, 17; ne 2 Peetero 1:20, 21.