Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 10

Yesu ne Bazadde Be Bagenda e Yerusaalemi

Yesu ne Bazadde Be Bagenda e Yerusaalemi

LUKKA 2:40-52

  • YESU ABUUZA ABAYIGIRIZA EBIBUUZO NGA WA MYAKA EKKUMI N’EBIRI

  • YESU AYITA YAKUWA ‘KITAAWE’

Ekiseera kituuse ab’omu maka ga Yusufu, mikwano gyabwe, awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe okugenda e Yerusaalemi nga bwe bakola buli mwaka. Bagenda Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako ng’Amateeka bwe galagira. (Ekyamateeka 16:16) Okuva e Nazaaleesi okutuuka e Yerusaalemi waliwo olugendo lwa mayiro nga 75. Ekiseera kino kibaamu eby’okukola bingi, era buli omu akyesunga. Mu kiseera kino Yesu alina emyaka 12, era naye yeesunga nnyo okugenda ku mbaga eyo n’okufuna akakisa okuddamu okubeerako okumpi ne yeekaalu.

Eri Yesu n’ab’ewaabwe, embaga ey’Okuyitako tejja kuba ya lunaku lumu lwokka. Oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako, olunaku oluddako y’eba entandikwa y’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, emala ennaku omusanvu. (Makko 14:1) Ekiseera eky’okukwatiramu embaga eyo nakyo kitwalibwa ng’ekiseera eky’embaga ey’Okuyitako. Okuva e Nazaaleesi okugenda e Yerusaalemi, okubeera e Yerusaalemi ku mbaga, n’okuddayo e Nazaaleesi byonna bitwala ebbanga lya wiiki nga bbiri. Naye omwaka guno, olugendo lubatwalira ebbanga erisingako, olw’ekyo ekibaawo nga bava e Yerusaalemi baddayo e Nazaaleesi.

Nga baddayo e Nazaaleesi, Yusufu ne Maliyamu balowooza nti Yesu ali awamu n’ab’eŋŋanda oba ab’emikwano be batambula nabo. Naye bwe baatuuka we bagenda okusula, bakizuula nti Yesu tali nabo. Batandika okumunoonya mu mikwano gyabwe naye ne batamulaba. Yusufu ne Maliyamu baddayo e Yerusaalemi okumunoonya.

Bamunoonya olunaku lulamba naye ne batamulaba. Era bamunoonya ne ku lunaku oluddako naye ne batamulaba. Naye ku lunaku olw’okusatu, bamusanga mu kimu ku bisenge bya yeekaalu ng’awuliriza abayigiriza Abayudaaya era ng’ababuuza ebibuuzo. Abayigiriza beewuunya nnyo amagezi g’alina.

Maliyamu abuuza Yesu nti: “Mwana wange, lwaki otuyisizza bw’oti? Nze ne kitaawo tukunoonyezza buli wantu.”​—Lukka 2:48.

Yesu yeewuunya nnyo okuba nti babadde tebamanyi w’ali. Ababuuza nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Mubadde temumanyi nti nnina kubeera mu nnyumba ya Kitange?”​—Lukka 2:49.

Oluvannyuma Yusufu ne Maliyamu baddayo naye e Nazaaleesi era Yesu yeeyongera okubagondera. Yeeyongera okukula n’okufuna amagezi era ayagalibwa nnyo Katonda n’abantu. Okuviira ddala ng’akyali muto, Yesu assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukulembeza eby’omwoyo n’okugondera bazadde be.