ESSUULA 9
Akulira mu Nazaaleesi
-
AB’OMU MAKA GA YUSUFU NE MALIYAMU BEEYONGERA OBUNGI
-
YESU AYIGA OMULIMU
Yesu akulira mu Nazaaleesi, ekibuga ekitono era ekitamanyiddwa nnyo. Ekibuga ekyo kisangibwa mu bitundu by’e Ggaliraaya, ebugwanjuba w’Ennyanja y’e Ggaliraaya.
Kirabika nti Yusufu ne Maliyamu we baviira e Misiri, Yesu alina emyaka ng’ebiri era kirabika ye mwana yekka gwe balina. Kyokka oluvannyuma Yesu afuna baganda be, Yakobo, Yusufu, Simooni, ne Yuda. Yusufu ne Maliyamu bazaalayo n’abaana ab’obuwala, bannyina ba Yesu. Mu butuufu, oluvannyuma lw’ekiseera, Yesu aba ne baganda be ne bannyina, nga bonna awamu tebakka wansi wa mukaaga.
Kya lwatu nti Yesu alina n’ab’eŋŋanda ze abalala. Mu bo mulimu Erizabeesi ne mutabani we, Yokaana ababeera ewala ennyo mu bukiikaddyo, mu kitundu ekisangibwa mu Buyudaaya. Kirabika Saalome, abeera mu kitundu ekiri okumpi ne Ggaliraaya, muganda wa Maliyamu. Bwe kityo Saalome aba maama wa Yesu omuto. Omwami wa Saalome ye Zebedaayo. Ekyo kiba kitegeeza nti abaana baabwe ababiri, Yakobo ne Yokaana, nabo baba balina oluganda ku Yesu. Tetumanyi obanga Yesu bw’aba akyali muto amala ebiseera bingi n’abalenzi abo, naye kye tumanyi kiri nti bwe bakula bafuuka mikwano gye egy’oku lusegere. Yakobo ne Yokaana baba bamu ku batume ba Yesu.
Yusufu kimwetaagisa okukola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge kati abeeyongedde obungi. Yusufu mubazzi, era olw’okuba akuza Yesu ng’omwana we yennyini, Yesu ayitibwa ‘omwana Matayo 13:55) Yusufu ayigiriza Yesu omulimu ogw’okubajja, era Yesu akuguka mu mulimu ogwo. Mu butuufu, oluvannyuma abantu bwe baba boogera ku Yesu bamwogerako ‘ng’omubazzi.’—Makko 6:3.
w’omubazzi.’ (Yusufu n’ab’omu maka ge okusinza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwabwe. Ng’Amateeka ga Katonda bwe galagira, Yusufu ne Maliyamu bafuba okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda ‘bwe batuula mu nnyumba yaabwe, bwe batambula mu kkubo, bwe bagalamira, era bwe bagolokoka.’ (Ekyamateeka 6:6-9) Mu Nazaaleesi mulimu ekuŋŋaaniro. Era Yusufu ateekwa okuba nga tayosa kutwala ba mu maka ge mu kkuŋŋaaniro eryo okusinza. Oluvannyuma kigambibwa nti Yesu ayingira mu kkuŋŋaaniro, ‘ng’enkola ye bw’eri ku Ssabbiiti.’ (Lukka 4:16) Ate era Yusufu n’ab’omu maka ge teboosa kugenda ku yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi ku mbaga ezibaayo buli mwaka.