ESSUULA 94
Ebintu Bibiri Ebikulu—Okusaba n’Obwetoowaze
-
OLUGERO LWA NNAMWANDU ATAALEKULIRA
-
OMUFALISAAYO N’OMUSOLOOZA W’OMUSOLO
Emabegako, Yesu yagerera abayigirizwa be olugero olukwata ku kunyiikirira okusaba. (Lukka 11:5-13) Ayinza okuba nga kati ali mu Samaliya oba mu Ggaliraaya, era addamu okwogera ku nsonga lwaki kikulu okusaba bulijjo n’obutalekulira. Akozesa olugero olulala okuggumiza ensonga eno.
Agamba nti: “Mu kibuga ekimu waaliyo omulamuzi eyali tatya Katonda era nga tawa bantu kitiibwa. Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo eyagendanga gy’ali n’amugamba nti, ‘Beera mwenkanya ng’okola ku nsonga zange n’oyo gwe mpoza naye.’ Omulamuzi n’amala ekiseera ng’akyagaanye okumuyamba, naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Wadde nga sitya Katonda era nga siwa muntu kitiibwa, naye olw’okuba nnamwandu ono antawaanya olutata, nja kuba mwenkanya nga nkola ku nsonga ze alyoke alekere awo okunneetayirira n’okummalako emirembe.’”—Lukka 18:2-5.
Ng’alaga eky’okuyiga ekiri mu lugero olwo, Yesu agamba nti: “Muwulire omulamuzi kye yagamba wadde teyali mutuukirivu! Mazima ddala, Katonda talifaayo okulaba nti obwenkanya bubaawo eri abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro, era ng’aba mugumiikiriza gye bali?” (Lukka 18:6, 7) Kiki Yesu ky’ayagala abantu bamanye ku Kitaawe?
Yesu tategeeza nti Yakuwa Katonda alinga omulamuzi oyo atali mutuukirivu. Wabula ategeeza nti bwe kiba nti omulamuzi oyo atali mutuukirivu bwe bamusaba obutalekulira abaako ky’akolawo, ate olwo Katonda omutuukirivu! Katonda mulungi era ajja kuddamu essaala z’abantu be singa bamusaba obutalekulira. Ekyo tukitegeerera ku ebyo Yesu by’azzaako: “Mazima mbagamba nti, [Katonda] alikakasa nti balagibwa obwenkanya mu bwangu.”—Lukka 18:8.
Abanaku n’abaavu tebayisibwa mu ngeri ya bwenkanya, kyokka ab’amaanyi n’abagagga bo bafiibwako nnyo. Naye ye Katonda bw’atyo si bw’akola. Mu kiseera kye ekituufu, ajja kwoleka obw’enkanya ng’azikiriza abantu ababi naye ng’abaweereza be abawa obulamu obutaaggwaawo.
Baani abalina okukkiriza ng’okwa nnamwandu oyo? Bameka abakkiriza nti Katonda “alikakasa nti balagibwa obwenkanya mu bwangu”? Yesu yaakagera olugero olulaga nti kikulu nnyo okunyiikirira okusaba. Naye bwe kituuka ku kuba n’okukkiriza nga tusaba, Yesu abuuza nti: “Omwana w’omuntu bw’alijja, ddala alisanga okukkiriza okw’engeri eno ku nsi?” (Lukka 18:8) Ekyo kiraga nti Yesu w’alikomerawo, kirabika okukkiriza ng’okwo kuliba kutono ku nsi.
Abamu ku abo abawuliriza Yesu bawulira nti balina okukkiriza. Beetwala okuba abatuukirivu kyokka nga batwala abalala okuba aba wansi. Abantu ng’abo Yesu abagerera olugero luno:
“Abasajja babiri baagenda mu yeekaalu okusaba; omu yali Mufalisaayo, omulala nga musolooza wa musolo. Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba ng’ayogera ebintu bino mu mutima gwe, ‘Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri ng’abantu abalala—abanyazi, abatali batuukirivu, abenzi—oba ng’ono omusolooza w’omusolo. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki; mpaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’”—Lukka 18:10-12.
Lukka 11:42) Emyezi mitono emabega, baayoleka endowooza enkyamu gye balina ku bantu ba bulijjo nga bagamba nti: “Abantu bano abatamanyi Mateeka baakolimirwa.”—Yokaana 7:49.
Abafalisaayo beeraga mu lujjudde nti bo batuukirivu nnyo. Ekyo bakikola nga basiiba ku Bbalaza ne ku Lwokuna, ennaku z’akatale, abantu bangi basobole okubalaba. Ate era bawaayo n’ekimu eky’ekkumi eky’ebimera ebitono ennyo. (Mu lugero olwo Yesu agattako nti: “Naye ye omusolooza w’omusolo n’ayimirira walako, nga tayagala na kuyimusa maaso ge kutunula waggulu, naye n’akuba mu kifuba kye ng’agamba nti, ‘Ai Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’” Omusolooza w’omusolo ye akiraga nti tatuukiridde era yeenenya ensobi ze. Yesu afundikira bw’ati: “Mbagamba nti, omusajja ono bwe yaddayo ewuwe yali mutuukirivu okusinga Omufalisaayo oyo. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”—Lukka 18:13, 14.
N’olwekyo, Yesu akiraga nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze. Okwo kubuulirira kulungi eri abayigirizwa ba Yesu kubanga bakulidde mu bantu omuli Abafalisaayo abeetwala okuba abatuukirivu era abassa essira ku kuba n’obuyinza era n’okutwalibwa ng’aba waggulu. Ate era okubuulirira okwo kwa muganyulo nnyo eri abagoberezi ba Yesu bonna abaliwo mu kiseera kino.