ESSUULA 76
Yesu Alya n’Omufalisaayo
-
YESU ANENYA ABAFALISAAYO BANNANFUUSI
Ng’ali mu Buyudaaya, Yesu akkiriza okugenda ew’Omufalisaayo amuyise okulya emmere. Kirabika amuyise ku kya misana so si ku kya ggulo. (Lukka 11:37, 38; geraageranya Lukka 14:12.) Abafalisaayo bwe baba tebannalya basooka kukola kalombolombo ak’okunaaba engalo okutuukira ddala ku nkokola. Naye ekyo Yesu takikola. (Matayo 15:1, 2) Wadde ng’okunaaba engalo mu ngeri eyo tekimenya Mateeka ga Katonda, Katonda teyeetaagisa bantu kukikola.
Omufalisaayo oyo yeewuunya okuba nti Yesu tagoberedde kalombolombo ako. Ekyo Yesu bw’akiraba, agamba nti: “Mmwe Abafalisaayo, muyonja kungulu w’ekikopo ne kungulu w’ekibya, naye munda mu mmwe mujjudde obunyazi n’ebikolwa ebibi. Basirusiru mmwe! Oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda?”—Lukka 11:39, 40.
Yesu tavumirira kya bantu kunaaba mu ngalo nga tebannalya, wabula avumirira bunnanfuusi obuli mu bakulembeze b’eddiini. Abafalisaayo n’abalala abagoberera akalombolombo ak’okunaaba engalo mu ngeri eyo balemererwa okulongoosa emitima gyabwe okugiggyamu ebintu ebibi. Bw’atyo Yesu abagamba nti: “Ebibali munda mubigabe ng’ebirabo eri abaavu era laba! ebirala byonna ku mmwe bijja kuba biyonjo.” (Lukka 11:41) Ekyo kituufu nnyo! Omuntu asaanidde okugaba ng’akubirizibwa omutima omulungi, so si lwa kwagala kusanyusa balala nga yeefuula omutuukirivu.
Tekiri nti abasajja abo tebagaba. Yesu agamba nti: “Muwaayo ekimu eky’ekkumi ekya nnabbugira n’ekya peganoni n’eky’omuddo omulala gwonna oguliibwa enva naye ne musuula muguluka obwenkanya n’okwagala Katonda! Ebintu ebyo mugwanidde okubikola, naye na bino ebirala temusaanidde kubibuusa maaso.” (Lukka 11:42) Amateeka ga Katonda gaali geetaagisa abantu okuwaayo ekimu eky’ekkumi eky’ebirime byabwe. (Ekyamateeka 14:22) Muno mwe mwali nnabbugira, peganoni, n’omuddo oba ebimera ebikozesebwa ng’ebirungo mu mmere. Abafalisaayo baafubanga okuwaayo ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyo. Naye baatwalanga batya ebintu ebikulu ebyali mu Mateeka, gamba ng’okwoleka obwenkanya n’okuba abeetoowaze mu maaso ga Katonda?—Mikka 6:8.
Yesu agenda mu maaso n’agamba nti: “Zibasanze mmwe Abafalisaayo, kubanga mwagala ebifo eby’omu maaso mu makuŋŋaaniro n’okulamusibwa mu butale! Zibasanze mmwe, kubanga mulinga amalaalo agatali malambe abantu kwe batambulira naye nga tebakimanyi nti malaalo!” (Lukka 11:43, 44) Mu butuufu, abantu baba basobola okulinnya ku malaalo ng’ago ne bafuuka abatali balongoofu. Yesu akozesa ekyokulabirako ekyo okulaga nti obutali bulongoofu bw’Abafalisaayo si bwangu kulaba.—Matayo 23:27.
Omusajja omu omukenkufu mu Mateeka agamba Yesu nti: “Omuyigiriza, bw’oyogera ebintu ebyo, naffe oba otuvuma.” Naye abasajja ng’abo nabo beetaaga okukimanya nti balemereddwa okuyamba abantu. Yesu agamba nti: “Zibasanze nammwe abakenkufu mu Mateeka, kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, naye nga mmwe temugikwatako wadde n’olugalo lwammwe olumu! Zibasanze mmwe, kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye nga bajjajjammwe be baabatta!”—Lukka 11:45-47.
Emigugu Yesu gy’ayogerako bwe bulombolombo awamu n’engeri Abafalisaayo gye bataputamu Amateeka. Abasajja abo bakaluubirizza nnyo obulamu bw’abantu. Bataddewo obulombolombo bungi ate nga basuubira buli omu okubugoberera. Bajjajjaabwe batta bannabbi ba Katonda, okuviira ddala ku Abbeeri. Kyokka kati, ne bano abeefuula okuba nga bassa ekitiibwa mu bannabbi nga babazimbira amalaalo, bakoppa endowooza n’ebikolwa bya bajjajjaabwe. Mu butuufu baagala na kutta Nnabbi wa Katonda asinga obukulu. Yesu agamba
nti Katonda ajja kubonereza omulembe guno. Ekyo kyennyini kye kibaawo oluvannyuma lw’emyaka 38, mu mwaka gwa 70 E.E.Yesu era agamba nti: “Zibasanze mmwe abakenkufu mu Mateeka, kubanga mwaggyawo ekisumuluzo ky’okumanya. Mmwe mmwennyini temwayingira era muziyiza n’abo abayingira!” (Lukka 11:52) Abasajja bano be bandibadde bayamba abantu okutegeera Ekigambo kya Katonda, naye mu kifo ky’ekyo babalemesa okukitegeera.
Kati olwo kiki Abafalisaayo n’abawandiisi kye bakola? Yesu bw’aba agenda, batandika okumuteganya ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi. Tebamubuuza bibuuzo lwa kwagala kuyiga. Mu kifo ky’ekyo, baagala okuleetera Yesu okwogera ekintu kyonna kwe bayinza okusinziira okumukwata.