Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 137

Bikumi na Bikumi Bamulaba nga Pentekooti Tennatuuka

Bikumi na Bikumi Bamulaba nga Pentekooti Tennatuuka

MATAYO 28:16-20 LUKKA 24:50-52 EBIKOLWA 1:1-12; 2:1-4

  • YESU ALABIKIRA BANGI

  • AGENDA MU GGULU

  • YESU AFUKA OMWOYO OMUTUKUVU KU BAYIGIRIZWA 120

Yesu bw’amala okuzuukizibwa, akola enteekateeka okusisinkana abatume be 11 ku lusozi olumu olw’omu Ggaliraaya. Abayigirizwa abalala nga 500 nabo gye bali, era ng’abamu bakyalimu okubuusabuusa. (Matayo 28:17; 1 Abakkolinso 15:6) Naye ebyo Yesu by’ayogera biyamba buli omu okukkiriza nti ddala mulamu.

Yesu abannyonnyola nti Katonda amuwadde obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Abagamba nti: “N’olwekyo, mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” (Matayo 28:18-20) Ng’oggyeeko okuba nti Yesu mulamu, akyagala amawulire amalungi geeyongere okubuulirwa.

Abagoberezi ba Yesu bonna​—abasajja, abakazi, n’abaana​—baweebwa ekiragiro kino eky’okufuula abantu abayigirizwa. Abantu bangi bajja kugezaako okulemesa omulimu gwabwe, naye Yesu abakakasa nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Ekyo kitegeeza ki eri abagoberezi be? Abagamba nti: “Laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” Yesu tagamba nti buli anaabulira amawulire amalungi ajja kuba asobola okukola ebyamagero. Wadde kiri kityo, bonna bajja kuba n’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu.

Mu ‘nnaku 40’ Yesu z’amala ku nsi ng’azuukidde, alabikira abayigirizwa be emirundi egiwera. Yeeyambaza emibiri egy’enjawulo ne ‘yeeraga gye bali mu ngeri nnyingi ezibakakasa nti mulamu,’ era ‘n’ayogera nabo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.’​—Ebikolwa 1:3; 1 Abakkolinso 15:7.

Kirabika ng’abatume bakyali e Ggaliraaya, Yesu abagamba okuddayo e Yerusaalemi. Bw’asisinkana nabo mu kibuga, abagamba nti: “Temuva mu Yerusaalemi, naye mulindirire ekyo Kitange ky’asuubizza, kye nnabagambako; Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa n’omwoyo omutukuvu mu nnaku ntono oluvannyuma lwa bino.”​—Ebikolwa 1:4, 5.

Oluvannyuma, Yesu addamu okusisinkana abatume be. “Abatwala e Bessaniya,” ekiri ku Lusozi olw’Emizeyituuni ku luuyi olw’ebuvanjuba. (Lukka 24:50) Wadde nga Yesu abagambye ebintu bingi ebikwata ku kugenda kwe, bakyalowooza nti Obwakabaka bwe bwa kubeera ku nsi.​—Lukka 22:16, 18, 30; Yokaana 14:2, 3.

Abatume babuuza Yesu nti: “Mukama waffe, ogenda kuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri mu kiseera kino?” Abaddamu nti: “Si kwammwe okumanya biseera oba ebiro Kitange by’atadde mu buyinza bwe.” Oluvannyuma addamu okwogera ku mulimu gwe balina okukola ng’abagamba nti: “mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”​—Ebikolwa 1:6-8.

Ng’abatume bali ne Yesu ku Lusozi olw’Emizeyituuni, bamulaba ng’atwalibwa waggulu. Mu kaseera katono ekire kimubikka ne baba nga tebakyasobola kumulaba. Oluvannyuma lw’okuzuukibwa, Yesu abadde yeeyambaza emibiri gy’ennyama egy’enjawulo. Naye kati Yesu yeggyako omubiri gw’abadde nagwo ku lunaku olwo, n’agenda mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo. (1 Abakkolinso 15:44, 50; 1 Peetero 3:18) Abatume be abeesigwa baba bakyatunudde waggulu, ‘abasajja babiri abambadde engoye enjeru’ ne bayimirira we bali. Bano bamalayika abambadde emibiri gy’abantu, era babuuza nti: “Abasajja b’e Ggaliraaya, lwaki muyimiridde nga mutunudde waggulu? Yesu ono abaggiddwako n’atwalibwa waggulu alidda mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda waggulu.”​—Ebikolwa 1:10, 11.

Yesu bw’abadde addayo mu ggulu abantu abalala tebamulabye, okuggyako abagoberezi be abeesigwa bokka. Ajja kudda “mu ngeri y’emu”​—abagoberezi be abeesigwa be bokka abajja okutegeera okubeerawo kwe oba nti atandise okufuga nga Kabaka.

Abatume baddayo e Yerusaalemi. Mu nnaku eziddirira bakuŋŋaana wamu n’abayigirizwa abalala, nga mw’otwalidde “Maliyamu maama wa Yesu, ne baganda ba Yesu.” (Ebikolwa 1:14) Bonna banyiikirira okusaba. Emu ku nsonga lwaki basaba eri nti baagala kulonda omuyigirizwa anadda mu kifo kya Yuda Isukalyoti, abatume basobole okuddamu okuba 12. (Matayo 19:28) Baagala okulonda omuyigirizwa alabye ebyo Yesu by’akoze n’okuzuukira kwe. Bakuba akalulu basobole okumanya oyo Katonda gw’alonze, era nga guno gwe mulundi Bayibuli lw’esembayo okwogera ku kukuba akalulu. (Zabbuli 109:8; Engero 16:33) Matiya, oboolyawo nga y’omu ku bayigirizwa 70 Yesu be yatuma, alondebwa era “abalirwa wamu n’abatume ekkumi n’omu.”​—Ebikolwa 1:26.

Yesu bw’amala okugenda mu ggulu, wayitawo ennaku kkumi Embaga y’Abayudaaya eya Pentekooti ey’omwaka 33 E.E., n’etuuka. Abayigirizwa nga 120 bali mu kisenge ekya waggulu e Yerusaalemi. Wabaawo okuwuuma okulinga okw’embuyaga ey’amaanyi okujjula ennyumba mwe bali. Balaba ennimi eziringa ez’omuliro, era zituula ku buli muntu ali mu nnyumba. Abayigirizwa bonna batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo. Kuno kwe kufukibwako omwoyo omutukuvu Yesu kwe yabasuubiza!​—Yokaana 14:26.