Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 116

Ayigiriza ku Bwetoowaze ku Mbaga ey’Okuyitako Esembayo

Ayigiriza ku Bwetoowaze ku Mbaga ey’Okuyitako Esembayo

MATAYO 26:20 MAKKO 14:17 LUKKA 22:14-18 YOKAANA 13:1-17

  • YESU AKWATA EMBAGA EY’OKUYITAKO ESEMBAYO AWAMU N’ABATUME

  • ALINA KY’AYIGIRIZA NG’ANAAZA EBIGERE BY’ABATUME

Nga Yesu bwe yalagidde, Peetero ne Yokaana baatuuse dda mu Yerusaalemi okuteekateeka embaga ey’Okuyitako. Oluvannyuma Yesu n’abatume be abalala ekkumi nabo bagenda e Yerusaalemi. Ekiseera kya lwaggulo, era Yesu n’abatume be bwe baba baserengeta ku Lusozi olw’Emizeyituuni, balaba enjuba ng’egwa. Luno lwe lunaku Yesu lw’asembayo okulaba enjuba eyo okutuusa lw’anaazuukira.

Kya ddaaki Yesu n’abatume abalala batuuka mu Yerusaalemi era ne bagenda mu nnyumba gye bagenda okukwatira embaga ey’Okuyitako. Balinnya amadaala ne bagenda mu kisenge ekya waggulu ekigazi. Bwe batuukayo, basanga buli kimu kyategekeddwa dda. Yesu abadde yeesunga ekiseera kino, kubanga agamba nti: “Njagadde nnyo okulya nammwe Okuyitako kuno nga sinnaba kubonyaabonyezebwa.”​—Lukka 22:15.

Emyaka mingi emabega, enkola ey’okuyisa ebikopo ebirimu envinnyo mu bantu abaabanga bazze ku mbaga ey’Okuyitako yali yatandiikibwawo. Kati, oluvannyuma lw’okukwata ekimu ku bikopo, Yesu yeebaza era n’agamba nti: “Mukwate, buli omu akiweereze munne; kubanga mbagamba nti, okuva leero, sigenda kuddayo kunywa ku mwenge gwa muzabbibu okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.” (Lukka 22:17, 18) Kyeyoleka lwatu nti Yesu anaatera okuttibwa.

Embaga ey’Okuyitako bw’eba ekyagenda mu maaso, wabaawo ekintu ekitali kya bulijjo. Yesu asituka n’aggyako ekyambalo kye eky’okungulu era n’akwata ttawulo. Oluvannyuma ateeka amazzi mu bbenseni eri awo okumpi. Mu mbeera eya bulijjo, oyo aba akyazizza abagenyi akakasa nti ebigere by’abagenyi be binaazibwa, oboolyawo ng’alagira omuweereza we okukikola. (Lukka 7:44) Naye kati nnannyini nnyumba taliiwo, n’olwekyo, Yesu asalawo okukola omulimu ogwo. Omu ku batume be ekyo abadde asobola okukikola, naye tewali n’omu ku bo akikoze. Kyandiba nti abatume bakyalina omwoyo ogw’okwagala obukulu? K’ebe nsonga ki ebaleetedde obutakikola, bateekwa okuba nga baswala nnyo okulaba nga Yesu asazzeewo okubanaaza ebigere.

Yesu bw’atuuka ku Peetero, Peetero amugamba nti: “Tolinaaza bigere byange n’omulundi n’ogumu.” Yesu amugamba nti: “Okuggyako nga nkunaazizza, toyinza kuba na mugabo nange.” Awo Peetero amuddamu nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka naye nnaaza n’emikono n’omutwe.” Yesu ky’amuddamu kiteekwa okuba nga kimwewuunyisa nnyo. Yesu amugamba nti: “Oyo aba anaabye aba muyonjo yenna nga yeetaaga kunaaba bigere byokka. Era nammwe muli bayonjo, naye si mmwenna.”​—Yokaana 13:8-10.

Yesu anaaza ebigere by’abatume be bonna 12, nga mw’otwalidde ne Yuda Isukalyoti. Oluvannyuma lw’okuzzaako ekyambalo kye eky’okungulu era n’atuula, Yesu agamba nti: “Mutegedde kye mbakoze? Mumpita ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi. Kale, oba nga nze, Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne. Mbateereddewo ekyokulabirako; nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola. Mazima ddala mbagamba nti, omuddu tasinga mukama we, n’oyo eyatumibwa tasinga oyo eyamutuma. Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu singa mubikola.”​—Yokaana 13:12-17.

Nga Yesu ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze! Abagoberezi ba Yesu tebasaanidde kwetwala kuba ba waggulu ku balala, nga balowooza nti ba kitalo era nti be balina okuweerezebwa. Mu kunaaza abatume be ebigere, Yesu tategeeza nti abagoberezi be balina okuba n’akalombolombo ak’okunaaza abalala ebigere. Mu kifo ky’ekyo ayagala bamukoppe, nga baba beetegefu okuweereza abalala n’obwetoowaze era nga tebasosola.