ESSUULA 111
Abatume Bamusaba Ababuulire Akabonero
MATAYO 24:3-51 MAKKO 13:3-37 LUKKA 21:7-38
-
ABAYIGIRIZWA BANA BAMUSABA ABABUULIRE AKABONERO
-
OBUNNABBI OBUTUUKIRIRA MU KYASA EKYASOOKA N’OKWEYONGERAYO
-
TULINA OKUBA OBULINDAALA
Olunaku Lwakubiri olweggulo, era olunaku lwa Nisaani 11 lunaatera okuggwaako. Ate era Yesu anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi. Emisana abaddenga abuulira mu yeekaalu ate ng’ekiro agenda wabweru w’ekibuga gy’asula. Abantu bangi babaddenga bajja “mu yeekaalu ku makya okumuwuliriza.” (Lukka 21:37, 38) Kati ebyo biwedde, era kati Yesu atudde ku Lusozi olw’Emizeyituuni awamu n’abatume be bana, Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana.
Abatume abo abana bazze gy’ali nga bali bokka. Baagala okutegeera amakulu g’ebigambo Yesu by’ayogedde bw’agambye nti tewali jjinja na limu erya yeekaalu lijja kusigala ku linnaalyo. Kyokka balina n’ekintu ekirala kye beebuuza. Emabegako Yesu yabagamba nti: “Mubeere beetegefu, kubanga ekiseera kye mutamusuubiriramu, Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.” (Lukka 12:40) Ate era Yesu yayogera ku “lunaku Omwana w’omuntu lw’alirabisibwa.” (Lukka 17:30) Kyandiba nti ebigambo ebyo bye yayogera birina akakwate n’ebyo by’ayogedde ku yeekaalu? Abatume baagala okumanya ebintu ebyo. Bamugamba nti: “Tubuulire, ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo, n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?”—Matayo 24:3.
Abatume abo bayinza okuba nga balowooza ku kuzikirizibwa kwa yeekaalu gye balengera nga basinziira mu kifo we bali. Era babuuza Yesu ebikwata ku kubeerawo kw’Omwana w’omuntu. Bayinza okuba nga bajjukira nti Yesu yagera olugero olukwata ku ‘musajja ow’omu lulyo olulangira eyagenda mu nsi ey’ewala okulya obwakabaka era oluvannyuma akomewo.’ (Lukka 19:11, 12) Bayinza n’okuba nga beebuuza ebyo ebinaabaawo mu ‘mafundikira g’enteekateeka ey’ebintu.’
Yesu abaddamu ng’awa akabonero akandiraze ddi enteekateeka y’Ekiyudaaya lwe yandikomye era ne yeekaalu n’ezikirizibwa. Naye Yesu tayogera ku ebyo byokka. Akabonero ako k’awa era kandiyambye Abakristaayo mu biseera eby’omu maaso okumanya nti bali mu kiseera ‘eky’okubeerawo’ kwe era nti enkomerero y’ensi ya Sitaani eri kumpi.
Emyaka bwe gigenda giyitawo, abatume balaba ng’obunnabbi bwa Yesu obwo butuukirira. Mu butuufu, bingi ku bintu Yesu by’ayogerako bitandika okutuukirira mu kiseera kyabwe. Bwe kityo, Abakristaayo abali obulindaala ababaawo nga wayise emyaka 37 bukya Yesu ayogera obunnabbi obwo, okuzikirizibwa kw’enteekateeka y’Ekiyudaaya awamu ne yeekaalu, ebibaawo mu mwaka gwa 70 E.E., tebibatuukako nga tebamanyi. Kyokka omwaka gwa 70 E.E we gutuukira, ebyo byonna Yesu by’ayogerako mu kabonero biba tebinnatuukirira era byonna tebituukirira mu mwaka ogwo. Kati olwo kiki ekijja okulaga okubeerawo kwa Kristo mu Bwakabaka? Ekyo Yesu ayamba abatume be okukimanya.
Yesu agamba nti wandibaddewo “entalo mu bifo ebitali bimu” era nti “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.” (Matayo 24:6, 7) Era agamba nti: “Walibaawo musisi ow’amaanyi, era mu bifo ebitali bimu mulibaamu enjala n’endwadde ez’amaanyi.” (Lukka 21:11) Yesu alabula abayigirizwa be nti: “Abantu balibakwata, balibayigganya.” (Lukka 21:12) Wandibaddewo bannabbi ab’obulimba era bandibuzaabuzizza abantu bangi. Obumenyi bw’amateeka bwandyeyongedde era okwagala kw’abasinga obungi kwandiwoze. Era Yesu agamba nti: “N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14.
Wadde ng’ebimu ku ebyo ebiri mu bunnabbi bwa Yesu byatuukirira ng’Abaruumi tebannazikiriza kibuga Yerusaalemi oba nga bakizikiriza, kyandiba nti ebigambo bya Yesu byandibadde n’okutuukirizibwa okusingako awo mu biseera eby’omu maaso? Okiraba nti obunnabbi bwa Yesu obwo bubadde butuukirira ku kigero ekisingawo mu kiseera kyaffe?
Ekimu ku bintu Yesu by’ayogerako mu kabonero akandiraze okubeerawo kwe kye ‘ky’omuzizo ekizikiriza.’ (Matayo 24:15) Mu mwaka gwa 66 E.E., eky’omuzizo ekyo lye lyali ‘eggye’ lya Rooma awamu n’obubonero bw’eggwanga eryo. Abaruumi beetooloola ekibuga Yerusaalemi era ne batandika n’okukoona bbugwe waakyo. (Lukka 21:20) Bwe kityo, “eky’omuzizo” kyali kiyimiridde mu “kifo” Abayudaaya kye baali batwala okuba “ekitukuvu.”
Yesu era agamba nti: “Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo, era tekiribaawo nate.” Mu mwaka gwa 70 E.E., Abaruumi baazikiriza Yerusaalemi. Okuzikirizibwa ‘kw’ekibuga ky’Abayudaaya ekyo ekitukuvu,’ nga mw’otwalidde ne yeekaalu yaamu kyali kibonyoobonyo kinene. Mu butuufu, enkumi n’enkumi z’abantu battibwa. (Matayo 4:5; 24:21) Okuzikirizibwa ng’okwo kwali tekubangawo mu byafaayo by’Abayudaaya era kwaviirako enteekateeka y’Ekiyudaaya ey’okusinza eyali emaze ebyasa bingi okusaanawo. Ekyo kiraga nti mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Yesu okusingako, okuzikirizibwa okwandibaddewo kwandibadde kwa maanyi nnyo.
ABAYAMBA OBUTATYA BISEERA BY’AYOGERAKO
Yesu yeeyongera okwogera ku kabonero akandiraze okubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. Alabula ku “Bakristo ab’obulimba ne bannabbi ab’obulimba.” Agamba nti mu kiseera ekyo wandibaddewo abantu abandigezezzaako “okukyamya abantu, bwe kiba kisoboka bakyamye n’abalonde.” (Matayo 24:24) Naye abalonde abo tebandikkirizza kubuzaabuzibwa. Bakristo ab’obulimba bandibadde balabika wano ku nsi. Naye obutafaananako Bakristo abo, ye Yesu yandibadde talabika wano ku nsi mu kiseera ky’okubeerawo kwe.
Ng’ayogera ku kibonyoobonyo ekinene ekyandibaddewo ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, Yesu agamba nti: “Enjuba erijjako ekizikiza, omwezi tegulyaka, emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.” (Matayo 24:29) Abatume abawulira ebigambo bya Yesu ebyo tebategeerera ddala ekyo ekinaabaawo, naye okusinziira ku bigambo ebyo bakiraba nti ebinaabaawo bijja kuba bya ntiisa.
Ebintu ebyo eby’entiisa byandikutte bitya ku bantu? Yesu agamba nti: “Abantu balizirika olw’okutya n’olw’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.” (Lukka 21:26) Mu butuufu, wano Yesu ayogera ku kiseera ekigenda okusingayo okuba eky’entiisa mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu.
Kyokka Yesu ayamba abatume abo okukiraba nti si buli muntu nti ajja kukuba ebiwoobe ‘ng’Omwana w’omuntu azze n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.’ (Matayo 24:30) Yesu amaze okukiraga nti Katonda ajja kubaako ky’akolawo ku ‘lw’abalonde.’ (Matayo 24:22) Kati olwo abayigirizwa ng’abo abeesigwa bandikwatiddwako batya ebintu ebyo eby’entiisa Yesu by’ayogerako? Yesu azzaamu amaanyi abagoberezi be ng’agamba nti: “Ebintu bino bwe biritandika okubaawo, muyimiriranga busimba ne muyimusa emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuliba kunaatera okutuuka.”—Lukka 21:28.
Abayigirizwa ba Yesu abandibaddewo mu kiseera ekyo banditegeeredde ku ki nti enkomerero eri kumpi? Yesu akozesa ekyokulabirako ky’omuti gw’omutiini, ng’agamba nti: “Ettabi lyagwo bwe litandika okutojjera ne lissaako ebikoola, mumanya nti ekiseera eky’omusana kinaatera okutuuka. Bwe kityo nammwe, bwe mulabanga ebintu bino, mumanyanga nti ali kumpi, ali ku luggi. Mazima ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo Matayo 24:32-34.
okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.”—Bwe kityo, abayigirizwa be bwe bandirabye ebintu eby’enjawulo ebiri mu kabonero ako nga bituukirira, banditegedde nti enkomerero eri kumpi okutuuka. Ng’ayogera ku bayigirizwa be abandibaddewo mu kiseera ekyo, Yesu agamba nti:
“Naye eby’olunaku olwo n’ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka. Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, n’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba. Kubanga mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna. N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.” (Matayo 24:36-39) Yesu ayamba abo abamuwuliriza okulowooza ku Mataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, agaakwata ku nsi yonna.
Abatume abawuliriza Yesu ku Lusozi olw’Emizeyituuni bakiraba nti kikulu nnyo okuba obulindaala. Yesu agamba nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya n’okunywa n’okweraliikirira eby’obulamu, olunaku olwo ne lubagwako bugwi ng’ekyambika. Kubanga lujja kutuuka ku abo bonna abali ku nsi. Kale mutunulenga, nga musabanga ekiseera kyonna musobole okuyita mu bintu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.”—Lukka 21:34-36.
Yesu ayongera okukiraga nti ebintu by’ayogerako birina amakulu amagazi. Ebintu ebyo si bya kubaawo kumala emyaka mitono era si bya kukwata ku kibuga Yerusaalemi kyokka oba ku ggwanga ly’Abayudaaya lyokka. Ebintu by’ayogerako bijja kukwata “ku abo bonna abali ku nsi.”
Yesu akiraga nti abayigirizwa be kijja kubeetaagisa okuba obulindaala, okusigala nga batunula, n’okuba abeetegefu. Bwe kityo, Yesu akkaatiriza ensonga eyo ng’agamba nti: “Mumanye kino: Singa nnyini nnyumba yamanya ekiseera omubbi kye yandijjiddemu, yandisigadde atunula n’ataganya nnyumba ye kumenyebwa. N’olw’ensonga eyo, nammwe mubeerenga beetegefu kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”—Matayo 24:43, 44.
Yesu ayongera okugumya abayigirizwa be ng’abakakasa nti mu kiseera obunnabbi bwe obwo mwe bwandituukiridde, wandibaddewo “omuddu” eyandibadde obulindaala era ng’akola butaweera. Yesu akozesa embeera abatume gye bategeera obulungi, ng’agamba nti: “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawanga emmere yaabwe mu kiseera ekituufu? Omuddu oyo aba n’essanyu mukama we bw’ajja n’amusanga ng’akola bw’atyo! Mazima mbagamba nti, alimusigira ebintu bye byonna.” Naye “omuddu” bwe yandifuuse omubi era n’ayisa bubi abalala, mukama we ‘yandimubonerezza nnyo.’—Matayo 24:45-51; geraageranya Lukka 12:45, 46.
Kyokka Yesu tagezaako kulaga nti abamu ku bagoberezi be bandifuuse omuddu omubi. Kati olwo mu kwogera ebigambo ebyo kiki ky’ayagala okuyigiriza abayigirizwa be? Ayagala basigale nga bali bulindaala, nga bwe kyeyoleka mu lugero olulala lw’agera.