Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 55

Ebigambo bya Yesu Byewuunyisa Bangi

Ebigambo bya Yesu Byewuunyisa Bangi

YOKAANA 6:48-71

  • OKULYA OMUBIRI GWE N’OKUNYWA OMUSAAYI GWE

  • BANGI BEESITTALA NE BALEKERA AWO OKUMUGOBERERA

Mu kkuŋŋaaniro ly’e Kaperunawumu, Yesu ayigiriza abantu nti ye mmere eyava mu ggulu. Ebyo by’ayogera byongereza ku ebyo bye yagamba abantu abaali bavudde ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, be yali yaliisa emigaati n’ebyennyanja.

Yesu yeeyongera okwogera ng’agamba nti: “Bajjajjammwe baalya emmaanu mu ddungu naye ne bafa.” Ku luuyi olulala, abagamba nti: “Nze mmere ennamu eyava mu ggulu. Omuntu yenna bw’alya ku mmere eno ajja kubeerawo emirembe gyonna; era mazima ddala emmere gye nnaagaba ku lw’obulamu bw’ensi gwe mubiri gwange.”​—Yokaana 6:48-51.

Mu ttoggo w’omwaka gwa 30 E.E., Yesu yagamba Nikodemu nti Katonda yayagala nnyo ensi n’atuuka n’okuwaayo Omwana we ng’Omulokozi. Kati Yesu akikkaatiriza nti abantu beetaaga okulya omubiri gwe nga bakkiririza mu ssaddaaka gy’ajja okuwaayo. Eyo ye ngeri gye bandisobodde okufunamu obulamu obutaggwaawo.

Kyokka, abantu bagaana okukkiriza ebigambo bya Yesu, ne bagamba nti: “Omusajja ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?” (Yokaana 6:52) Yesu ayagala bakimanye nti akozesa lulimi lwa kabonero. Ekyo kyeyolekera mu bigambo by’addako okwogera.

“Okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu. Oyo alya omubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange alina obulamu obutaggwaawo, . . . kubanga omubiri gwange mmere ya ddala, n’omusaayi gwange kya kunywa kya ddala. Oyo yenna alya omubiri gwange n’anywa omusaayi gwange, nze naye tuba bumu.”​—Yokaana 6:53-56.

Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byeyongedde okunyiiza Abayudaaya. Bayinza okuba nga balowooza nti Yesu abagamba kulya mubiri gwe gwennyini oba okumenya etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. (Olubereberye 9:4; Eby’Abaleevi 17:10, 11) Naye ekyo Yesu si ky’ategeeza. Akiraga nti abo bonna abaagala obulamu obutaggwaawo balina okukkiririza mu ssaddaaka gy’ajja okuwaayo ng’awaayo omubiri gwe ogutuukiridde era ng’omusaayi gwe guyiibwa. Kyokka bangi ku bayigirizwa be nabo balemererwa okutegeera ebigambo bye ebyo. Abamu ku bo bagamba nti: “Ebigambo ebyo byesisiwaza; ani ayinza okubiwuliriza?”​—Yokaana 6:60.

Yesu bw’akiraba nti abamu ku bayigirizwa be beemulugunya, agamba nti: “Bino bibeesittaza? Kati olwo bwe munaalaba Omwana w’omuntu ng’addayo gye yava? . . . Ebigambo bye mbagambye bya mwoyo era bya bulamu. Naye waliwo abamu ku mmwe abatakkiriza.” Oluvannyuma lw’ebyo, abayigirizwa bangi bamuvaako era ne balekera awo okumugoberera.​—Yokaana 6:61-64.

Bwe kityo, Yesu abuuza abatume be 12 nti: “Nammwe mwagala kugenda?” Peetero amuddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo. Tukkirizza era tutegedde nti ggwe Mutukuvu wa Katonda.” (Yokaana 6:67-69) Mu butuufu Peetero n’abatume abalala bakiraze nti beesigwa wadde nga nabo tebategeera bulungi ebyo Yesu by’ayogedde.

Wadde nga musanyufu olw’ebyo Peetero by’ayogedde, Yesu agamba nti: “Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n’ababiri? Naye omu ku mmwe mulyolyomi.” (Yokaana 6:70) Wano Yesu ayogera ku Yuda Isukalyoti. Kirabika mu kiseera kino Yesu akirabye nti Yuda atandise okukwata ekkubo ekyamu.

Wadde kiri kityo, Yesu kimusanyusa nnyo okulaba nti Peetero n’abatume abalala bamunywereddeko era nti beeyongedde okukolera awamu naye omulimu oguwonya obulamu bw’abantu.