ESSUULA 65
Ayigiriza ng’Agenda e Yerusaalemi
MATAYO 8:19-22 LUKKA 9:51-62 YOKAANA 7:2-10
-
ENGERI BAGANDA BA YESU GYE BAMUTWALAMU
-
LWAKI KIKULU OKUBUULIRA EBIKWATA KU BWAKABAKA?
Olw’okuba abantu b’omu Ggaliraaya bawuliriza okusinga ab’omu Buyudaaya, Yesu amala ekiseera kiwanvu ng’abuulira mu Ggaliraaya. Okugatta ku ekyo, bwe yali mu Yerusaalemi n’awonya omuntu ku Ssabbiiti, ‘Abayudaaya beeyongera okusala amagezi okumutta.’—Yokaana 5:18; 7:1.
Kati kiseera kya ddumbi, omwaka gwa 32 E.E., era Embaga ey’Ensiisira eneetera okutuuka. Embaga eyo emala ennaku musanvu, era ku lunaku olw’omunaana wabaawo olukuŋŋaana olw’enjawulo. Embaga eyo ekwatibwa ku nkomerero y’omwaka gw’Abaisiraeri ogw’eby’obulimi era ekiseera ekyo kiba kya ssanyu era kya kwebaza Katonda.
Baganda ba Yesu—Yakobo, Simooni, Yusufu, ne Yuda—bamugamba nti: “Va wano ogende e Buyudaaya.” Yerusaalemi ye ntabiro y’okusinza mu Buyudaaya. Abantu bangi bagenda e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga essatu ezibaayo. Baganda ba Yesu bamugamba nti: “Tewali muntu akola kintu kyonna mu kyama bw’aba ng’ayagala okumanyibwa mu lujjudde. Bw’oba ng’okola ebintu bino, weerage eri ensi.”—Yokaana 7:3, 4.
Ekituufu kiri nti baganda ba Yesu abo ‘tebakkiriza’ nti ye Masiya. Wadde kiri kityo, baagala abo abanaabaawo ku mbaga balabe Yesu ng’akola ebyamagero. Olw’okuba Yesu amanyi akabi akayinza okuvaamu, abagamba nti: “Ensi terina nsonga egireetera kubakyawa, naye nze enkyawa kubanga njogera nti ebikolwa byayo bibi. Mmwe mugende ku mbaga; nze sinnatuusa kugenda kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”—Yokaana 7:5-8.
Nga wayise ennaku ntonotono oluvannyuma lwa baganda ba Yesu n’abantu abalala bangi okugenda e Yerusaalemi, Yesu n’abayigirizwa be nabo batambula nga boolekera Yerusaalemi ng’abantu abasinga tebamanyi. Bayita mu kkubo ery’okumpi eriyita mu Samaliya, mu kifo ky’okuyita mu eryo bangi lye bakozesa eriyitira okumpi n’Omugga Yoludaani. Yesu n’abayigirizwa be bajja kwetaaga aw’okusula mu Samaliya, bwe kityo asindika ababaka okubakulemberamu babafunire aw’okusula. Abantu b’omu kitundu ekimu mu Samaliya bagaana okubasembeza olw’okuba Yesu yali agenda ku mbaga y’Abayudaaya mu Yerusaalemi. Ekyo kinyiiza nnyo Yakobo ne Yokaana era ne bagamba Yesu nti: “Mukama waffe, oyagala tugambe omuliro guve mu ggulu gubasaanyeewo?” (Lukka 9:54) Yesu abanenya olw’okulowooza ku kintu ng’ekyo. Beeyongerayo ku lugendo lwabwe.
Bwe baba mu kkubo nga bagenda, omuwandiisi omu agamba Yesu nti: “Omuyigiriza, nja kukugobereranga yonna gy’onoogenda.” Yesu amugamba nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Matayo 8:19, 20) Yesu alaga omuwandiisi oyo nti singa afuuka omugoberezi we, ajja kwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Naye kirabika nti omuwandiisi oyo wa malala era si mwetegefu kubeera mu bulamu ng’obwo. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ndi mwetegefu kwenkana wa okugoberera Yesu?’
Yesu agamba omusajja omulala nti: “Beera mugoberezi wange.” Omusajja amuddamu nti: “Mukama wange, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” Olw’okuba amanyi embeera y’omusajja oyo, Yesu amugamba nti: “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire buli wamu amawulire ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 9:59, 60) Kirabika kitaawe w’omusajja oyo tannafa. Singa abadde afudde, oboolyawo teyandibadde awo ng’ayogera ne Yesu. Omusajja oyo si mwetegefu kukulembeza Bwakabaka mu bulamu bwe.
Bwe baba bakyali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, omusajja omulala agamba Yesu nti: “Nja kukugoberera Mukama wange; naye sooka onzikirize mmale okusiibula ab’ewaffe.” Yesu amugamba nti: “Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n’atunuulira ebiri emabega, asaanira Obwakabaka bwa Katonda.”—Lukka 9:61, 62.
Abo bonna abaagala okuba abayigirizwa ba Yesu aba nnamaddala balina okukuumira amaaso gaabwe ku Bwakabaka. Singa omuntu alima amaaso tagakuumira mu maaso gy’alaga, ekyuma ekirima kiyinza okukyama, by’alima ne bitatereera. Ate singa assa wansi ekyuma ekirima asobole okulaba ebiri emabega, ebiseera biyinza okumuyitako n’atamalaayo lubimbi lw’alina okulima. Mu ngeri y’emu, omuntu yenna atunula emabega mu nteekateeka eno ey’ebintu asobola okuwugulibwa n’ava ku kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.