ESSUULA 22
Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu
MATAYO 4:13-22 MAKKO 1:16-20 LUKKA 5:1-11
-
YESU AGAMBA ABAYIGIRIZWA OKUMUGOBERERA EKISEERA KYONNA
-
ABAVUBI B’EBY’ENNYANJA BAFUUKA ABAVUBI B’ABANTU
Abantu b’e Nazaaleesi bwe bagezaako okutta Yesu, avaayo n’agenda e Kaperunawumu okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya era eyitibwa “ennyanja ey’e Genesaleeti.” (Lukka 5:1) Kino kituukiriza obunnabbi obuli mu kitabo kya Isaaya, obugamba nti abantu b’omu Ggaliraaya ababeera okumpi n’ennyanja bandirabye ekitangaala.—Isaaya 9:1, 2.
Ng’ali mu Ggaliraaya, Yesu yeeyongera okulangirira nti “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” (Matayo 4:17) Yesu asisinkana abayigirizwa be bana. Baatambulanga ne Yesu naye bwe baava e Buyudaaya, bo ne baddayo ku mulimu gwabwe ogw’okuvuba. (Yokaana 1:35-42) Naye kati balina okutambula naye ekiseera kyonna asobole okubatendeka mu mulimu gw’okubuulira, gwe bajja okusigala nga bakola ng’agenze.
Yesu bw’aba atambulira ku lubalama lw’ennyanja, alaba Simooni Peetero, muganda we Andereya, ne bannaabwe abalala nga booza obutimba bwabwe. Yesu alinnya eryato lya Peetero era amusaba alyongereyoko mu nnyanja. Bw’alyongerayo, Yesu atuula era n’atandika okuyigiriza ekibiina ky’abantu abakuŋŋaanidde ku lubalama ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.
Oluvannyuma, Yesu agamba Peetero nti: “Eryato lyongereyo mu buziba, era musuule obutimba bwammwe muvube.” Peetero amuddamu nti: “Omuyigiriza, twateganye ekiro kyonna ne tutakwasa kantu, naye olw’okuba ggwe oyogedde, nja kusuula obutimba.”—Lukka 5:4, 5.
Basuula obutimba bwabwe ne bakwasa eby’ennyanja bingi nnyo era obutimba bwabwe ne butandika n’okuyulika! Amangu ddala bawenya ku bannaabwe abali mu lyato eddala bajje babayambe. Amaato gombi gajjula eby’ennyanja era gatandika okubbira. Peetero bw’alaba kino, afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti: “Va we ndi Mukama wange kubanga ndi muntu mwonoonyi.” Yesu amuddamu nti: “Totya. Okuva leero ojja kuvubanga bantu.”—Lukka 5:8, 10.
Yesu agamba Peetero ne Andereya nti: “Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.” (Matayo 4:19) Ku abo agattako abavubi abalala babiri, Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebedaayo. Nabo basitukiramu ne bamugoberera. Abayigirizwa bano abana baleka omulimu gwabwe ogw’okuvuba, ne bafuuka abagoberezi ba Yesu ab’ekiseera kyonna abasookedde ddala.