Programu y’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2017
Laba ebiri ku program ya buli lunaku mu lukuŋŋaana luno olunaakuyamba okweyongera okukola ebirungi n’okugumiikiriza mu mbeera enzibu.
Olwokutaano
Biki ebisobola okuyamba Abakristaayo okukulaakulanya engeri ezinaabayamba okugumiikiriza?
Olwomukaaga
Katonda Omuyinza w’ebintu byonna atuyamba atya okugumiikiriza era atubudaabuda atya?
Sande
Yesu yagamba nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” Biki ebinaakuyamba okugumiikiriza?
Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
Oyinza okwagala okubaawo mu nkuŋŋaana ez’enjawulo ezijja okubaawo ku lukuŋŋaana olunene. Ate era, soma wano bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku baaniriza abagenyi, ku kubatizibwa, okuwaayo, obujjanjabi obusookerwako, ebibuze n’ebizuuliddwa, aw’okutuula, oba okukola nga nnakyewa.