Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’ESSATU

Obulamu Butwale nga bwa Muwendo

Obulamu Butwale nga bwa Muwendo

1. Ani yatuwa obulamu?

YAKUWA “ye Katonda omulamu.” (Yeremiya 10:10) Ye mutonzi waffe era ye yatuwa obulamu. Bayibuli egamba nti: “Watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” (Okubikkulirwa 4:11) Awatali kubuusabuusa Yakuwa yali ayagala tubeere balamu. Obulamu kirabo kya muwendo okuva gy’ali.—Soma Zabbuli 36:9.

2. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okuba n’obulamu obulungi?

2 Yakuwa atuwa ebintu byonna bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli balamu, gamba ng’emmere n’amazzi. (Ebikolwa 17:28) Ayagala tunyumirwe obulamu. (Ebikolwa 14:15-17) Kyokka okusobola okuba n’obulamu obulungi, tulina okugondera amateeka ga Katonda.—Isaaya 48:17, 18.

ENGERI KATONDA GY’ATWALAMU OBULAMU

3. Yakuwa yakola ki Kayini bwe yatta Abbeeri?

3 Bayibuli eraga nti obulamu bwaffe n’obw’abalala bwa muwendo nnyo eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Kayini, mutabani wa Adamu ne Kaawa, bwe yasunguwalira ennyo muto we Abbeeri, Yakuwa yamugamba nti yali yeetaaga okufuga obusungu bwe. Kyokka Kayini teyawuliriza, wabula yeeyongera okusunguwala n’atuuka ‘n’okutta muganda we Abbeeri.’ (Olubereberye 4:3-8) Yakuwa yabonereza Kayini olw’okutta Abbeeri. (Olubereberye 4:9-11) N’olwekyo, obusungu n’obukyayi bibi nnyo kubanga bisobola okutuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe oba eby’ettemu. Omuntu akola ebintu ebyo tayinza kufuna bulamu butaggwaawo. (Soma 1 Yokaana 3:15.) Bwe tuba twagala okusanyusa Yakuwa, tulina okwagala abantu bonna.—1 Yokaana 3:11, 12.

4. Erimu ku mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri liraga litya engeri Yakuwa gy’atwalamu obulamu?

4 Nga wayiseewo emyaka mingi, Yakuwa era yalaga nti obulamu abutwala nga bwa muwendo nnyo bwe yawa Musa Amateeka Ekkumi. Erimu ku mateeka ago ligamba nti: “Tottanga.” (Ekyamateeka 5:17) Omuntu bwe yattanga omuntu omulala mu bugenderevu, naye yali alina okuttibwa.

5. Katonda atwala atya okuggyamu embuto?

5 Katonda atwala atya okuggyamu embuto? N’obulamu bw’omwana atannazaalibwa bwa muwendo nnyo eri Yakuwa. Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri, yakiraga nti singa omuntu yatuusanga akabi ku mukazi ow’olubuto, olubuto ne luvaamu, omuntu oyo yalinanga okuttibwa. (Soma Okuva 21:22, 23; Zabbuli 127:3.) Kino kitulaga nti okuggyamu embuto kikyamu.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 28.

6, 7. Tuyinza tutya okulaga Yakuwa nti obulamu tubutwala nga bwa muwendo?

6 Tuyinza tutya okulaga Yakuwa nti obulamu bwaffe n’obw’abalala tubutwala nga bwa muwendo? Nga twewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuteeka obulamu bwaffe oba obw’abantu abalala mu kabi. N’olw’ensonga eyo, tetujja kunywa sigala, kulya mayirungi, oba okukozesa enjaga, kubanga ebintu ng’ebyo bya kabi nnyo era bisobola okututta.

7 Katonda ye yatuwa obulamu n’emibiri gye tulina, era tusaanidde okubikozesa nga bw’ayagala. N’olwekyo, tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona emibiri gyaffe. Singa tetukola bwe tutyo, tetujja kuba bayonjo mu maaso ga Katonda. (Abaruumi 6:19; 12:1; 2 Abakkolinso 7:1) Tetusobola kusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima singa obulamu tetubutwala nga bwa muwendo. Wadde nga kiyinza obutaba kyangu kuleka mize mibi, Yakuwa ajja kutuyamba singa tufuba okugireka olw’okuba obulamu tubutwala nga bwa muwendo.

8. Biki bye tulina okukola okukakasa nti tetuteeka bulamu bwaffe n’obw’abalala mu kabi?

8 Tulabye nti obulamu kirabo kya muwendo nnyo. Yakuwa asuubira nti tujja kukola kyonna ekisoboka obutateeka bulamu bwaffe oba obw’abalala mu kabi. Kino tukikola nga twegendereza engeri gye tuvugamu emmotoka zaffe, ppikipiki, oba ebidduka ebirala. Era twewala emizannyo egy’akabi eri obulamu bwaffe oba obw’abalala. (Zabbuli 11:5) Ate era twegendereza nnyo okulaba nti mu maka gaffe temubaamu kintu kyonna ekisobola okuteeka obulamu bw’omuntu yenna mu kabi. Yakuwa yalagira Abayisirayiri nti: “Bw’ozimbanga ennyumba, waggulu ku nnyumba eyo oteekangako omuziziko [oba, ekisenge ekimpi], oleme kuleeta ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi singa wabaawo awanukayo n’agwa.”—Ekyamateeka 22:8.

9. Tusaanidde kuyisa tutya ensolo?

9 Obulamu bw’ensolo nabwo Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. N’olwekyo, tayagala tuyise bubi nsolo. Atukkiriza okutta ensolo bwe tuba nga twagala kulya nnyama yayo, okufuna eky’okwambala, oba ensolo bw’eba nga ya bulabe eri obulamu bwaffe. (Olubereberye 3:21; 9:3; Okuva 21:28) Naye kiba kikyamu okubonyaabonya ensolo oba okugitta olw’okwagala okwesanyusaamu obwesanyusa.—Engero 12:10.

OMUSAAYI GUTWALE NGA MUTUKUVU

10. Tumanya tutya nti omusaayi gukiikirira bulamu?

10 Omusaayi mutukuvu mu maaso ga Yakuwa kubanga gukiikirira bulamu. Oluvannyuma lwa Kayini okutta Abbeeri, Yakuwa yamugamba nti: “Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.” (Olubereberye 4:10) Omusaayi gwa Abbeeri gwali gukiikirira bulamu bwe, era Yakuwa yabonereza Kayini olw’okutta Abbeeri. Oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa, Yakuwa yaddamu okukiraga nti omusaayi gukiikirira bulamu. Yakuwa yakkiriza Nuuwa n’ab’omu maka ge okulya ennyama y’ensolo. Yabagamba nti: “Buli nsolo ennamu etambula eneebanga kya kulya gye muli. Byonna mbibawadde nga bwe nnabawa ebimera.” Kyokka waliwo ekintu kimu kye yabagaana okulya. Yabagamba nti: “Temulyanga ennyama erimu obulamu bwayo, nga gwe musaayi gwayo.”—Olubereberye 1:29; 9:3, 4.

11. Tteeka ki erikwata ku musaayi Katonda lye yawa eggwanga lya Isirayiri?

11 Nga wayise emyaka nga 800 oluvannyuma lwa Yakuwa okugaana Nuuwa okulya omusaayi, Yakuwa yalagira abantu be nti: “Omuyisirayiri yenna oba omugwira abeera mu mmwe anaayigganga n’akwata ensolo oba ekinyonyi ekiriibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo n’agubikkako ettaka.” Era yagattako nti: “Temulyanga musaayi.” (Eby’Abaleevi 17:13, 14) Yakuwa yali akyayagala abantu be okutwala omusaayi nga mutukuvu. Yabakkiriza kulya nnyama so si musaayi. Bwe battanga ensolo ey’okulya, baalinanga okuyiwa omusaayi gwayo ku ttaka.

12. Abakristaayo batwala batya omusaayi?

12 Nga wayiseewo emyaka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, abatume n’abakadde mu kibiina Ekikristaayo mu Yerusaalemi baakuŋŋaana wamu basobole okusalawo bintu ki ku ebyo ebyali mu Mateeka agaaweebwa Abayisirayiri ebyali bikyalina okugobererwa Abakristaayo. (Soma Ebikolwa 15:28, 29; 21:25.) Yakuwa yabayamba okukitegeera nti omusaayi yali akyagutwala nga gwa muwendo nnyo, era nti baali balina okweyongera okugutwala nga mutukuvu. Abakristaayo abaasooka tebaalina kulya oba kunywa musaayi oba okulya ennyama y’ensolo etaggiddwamu bulungi musaayi. Bwe bandigulidde oba bwe bandigunywedde, bandibadde ng’abasinzizza ebifaananyi oba abeenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. Okuviira ddala mu kiseera ekyo, Abakristaayo ab’amazima babadde beewala okulya omusaayi oba okugunywa. Ne leero Yakuwa akyagala omusaayi tugutwale nga mutukuvu? Yee.

13. Lwaki Abakristaayo tebakkiriza kuteekebwako musaayi?

13 Kino kitegeeza nti Abakristaayo tebalina na kukkiriza kuteekebwako musaayi? Yee. Yakuwa yatugaana okulya omusaayi wadde okugunywa. Lowooza ku kino, singa omusawo akugaana okunywa omwenge, wandiguyisizza mu misuwa? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, etteeka eritugaana okulya omusaayi oba okugunywa, lizingiramu n’obutakkiriza kuteekebwako musaayi.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 29.

14, 15. Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okutwala obulamu nga bwa muwendo n’okugondera Yakuwa?

14 Watya singa omusawo akugamba nti bw’otooteekebweko musaayi ojja kufa? Mu mbeera ng’eyo, buli muntu aba alina okwesalirawo ky’anaakola ku bikwata ku nsonga y’okugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. Abakristaayo ab’amazima obulamu Katonda bwe yabawa babutwala nga bwa muwendo, era bakkiriza obujjanjabi obw’engeri endala yonna olw’okuba baagala okutaasa obulamu bwabwe; kyokka tebakkiriza kuteekebwako musaayi.

15 Tukola kyonna ekisoboka okwekuuma nga tuli balamu bulungi, naye olw’okuba obulamu bwa muwendo nnyo eri Katonda, tetukkiriza kuteekebwako musaayi. Kikulu nnyo okugondera Yakuwa okusinga okumujeemera olw’okwagala okuwonya obulamu bwaffe. Yesu yagamba nti: “Buli ayagala okulokola obulamu bwe alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange alibufuna.” (Matayo 16:25) Twagala okugondera Yakuwa olw’okuba tumwagala. Amanyi ekisinga okutuganyula, era obulamu tubutwala nga butukuvu era nga bwa muwendo nnyo nga Yakuwa bw’abutwala.—Abebbulaniya 11:6.

16. Lwaki abaweereza ba Katonda bamugondera?

16 Abaweereza ba Katonda abeesigwa bamalirivu okugondera etteeka lye erikwata ku musaayi. Tebalya musaayi, tebagunywa, era tebakkiriza kugubateekako. * Kyokka bakkiriza obujjanjabi obw’engeri endala olw’okuba baagala okutaasa obulamu bwabwe. Bakakafu nti oyo eyatuwa obulamu n’omusaayi y’amanyi ekisinga okubaganyula. Ggwe naawe ekyo okikkiriza?

ENGERI YOKKA ENTUUFU EY’OKUKOZESAAMU OMUSAAYI

17. Mu Isirayiri, engeri yokka entuufu omusaayi gye gwalina okukozesebwamu y’eruwa?

17 Mu Mateeka Yakuwa Katonda ge yawa Musa, yagamba Abayisirayiri nti: “Obulamu buli mu musaayi, era ngubawadde okutangirira obulamu bwammwe ku kyoto, kubanga omusaayi gwe gutangirira ebibi.” (Eby’Abaleevi 17:11) Abayisirayiri bwe baayonoonanga, baalinga basobola okusaba Yakuwa abasonyiwe nga bawaayo ensolo nga ssaddaaka, era kabona yayiwanga ogumu ku musaayi gwayo ku kyoto ekyali ku yeekaalu. Eyo ye ngeri yokka entuufu omusaayi gye gwalina okukozesebwamu.

18. Ssaddaaka ya Yesu Kristo etusobozesa kufuna ki?

18 Yesu bwe yajja ku nsi, yaggyawo etteeka ery’okuwaayo ssaddaaka z’ensolo bwe yawaayo obulamu bwe, oba omusaayi gwe, tusobole okusonyiyibwa ebibi byaffe. (Matayo 20:28; Abebbulaniya 10:1) Omusaayi gwa Yesu gwali gwa muwendo nnyo ne kiba nti oluvannyuma lwa Yakuwa okumuzuukiza n’addayo mu ggulu, Yakuwa yali asobola okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu okuwa abantu obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 3:16; Abebbulaniya 9:11, 12; 1 Peetero 1:18, 19.

Oyinza otya okulaga nti ossa ekitiibwa mu bulamu n’omusaayi?

19. Kiki kye tulina okukola ‘obutavunaanibwa musaayi gwa muntu yenna’?

19 Twebaza nnyo Yakuwa Katonda olw’okutuwa ekirabo eky’obulamu, era twagala okubuulira abantu nti bwe bakkiririza mu Yesu basobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Olw’okuba twagala abantu, tujja kukola kyonna ekisoboka okubayigiriza engeri gye bayinza okufunamu obulamu obutaggwaawo. (Ezeekyeri 3:17-21) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okwogera ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna, kubanga saalekayo kubabuulira kigendererwa kya Katonda.” (Ebikolwa 20:26, 27) Mazima ddala, tuba tukiraga nti obulamu n’omusaayi tubitwala nga bya muwendo bwe tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa era bwe tubabuulira nti obulamu abutwala nga bwa muwendo nnyo.

^ lup. 16 Okumanya ebisingawo ku kuteekebwako omusaayi, laba akatabo Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda,” olupapula 77-79. Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.