AKASANDUUKO 13A
Yeekaalu za Njawulo, eby’Okuyiga bya Njawulo
Yeekaalu Ezeekyeri Gye Yalaba:
-
Ezeekyeri yategeeza Abayudaaya abaali mu Babulooni kalonda agikwatako
-
Erina ekyoto kwe baweerayo ssaddaaka nnyingi
-
Eraga emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu egikwata ku kusinza okulongoofu
-
Ekwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu okwatandika mu 1919
Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo:
-
Pawulo yannyonnyola Abakristaayo Abebbulaniya ebigikwatako
-
Erina ekyoto era ssaddaaka emu yokka y’eweebwayo ku kyo, “omulundi gumu” (Beb. 10:10)
-
Eraga ekyo weema entukuvu ne yeekaalu kye byali bisongako, kwe kugamba, enteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu eyeesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Kristo
-
Eraga omulimu Kristo gwe yakola nga Kabona Asingira Ddala Obukulu, okuva mu 29 okutuuka mu 33 E.E.