Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 2A

Okutegeera Obunnabbi bwa Ezeekyeri

Okutegeera Obunnabbi bwa Ezeekyeri

OBUNNABBI KYE KI?

Mu Bayibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya na·vaʼʹ, ekyavvuunulwa “obunnabbi,” okusingira ddala kitegeeza okulangirira obubaka obuva eri Katonda, omusango ogusaliddwa, obulagirizi obukwata ku mpisa, oba ekiragiro ekiva eri Katonda. Era kisobola okutegeeza okulangirira ekintu Katonda ky’agambye nti kijja kubaawo mu maaso. Obunnabbi bwa Ezeekyeri buzingiramu ebintu ebyo byonna.​—Ezk. 3:10, 11; 11:4-8; 14:6, 7; 37:9, 10; 38:1-4.

ENGERI GYE BUWEEBWAMU

  • OKWOLESEBWA

  • EBYOKULABIRAKO

  • EBIKOLEBWA OKULAGA EBINAABAAWO

Ekitabo kya Ezeekyeri kirimu okwolesebwa, ebyokulabirako, engero, n’ebintu ebikolebwa okulaga ebinaabaawo.

OKUTUUKIRIZIBWA KWABWO

Obumu ku bunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri okutuukirizibwa kwabwo kusukka mu mulundi ogumu. Ng’ekyokulabirako, obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu bwatuukirizibwa ku kigero ekitono abantu ba Katonda bwe baddayo mu Nsi Ensuubize. Naye nga bwe kiragibwa mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino, bungi ku bunnabbi obwo butuukirizibwa leero era bujja kutuukirizibwa ne mu biseera eby’omu maaso.

Edda, ebitabo byaffe byalinga biraga nti ebintu ebiwerako ebyogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri birina kye bikiikirira. Naye mu kitabo kino twewaze okugamba nti omuntu, ekifo, oba ekintu kyonna ekyaliwo kirina kye kikiikirira mu kiseera kyaffe okuggyako nga waliwo obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti ddala bwe kityo bwe kiri. a Mu kifo ky’ekyo, ekitabo kino kiraga engeri obunnabbi bungi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri gye butuukirizibwamu ku kigero ekisingawo. Era kituyamba okulaba eby’okuyiga ebiri mu bubaka Ezeekyeri bwe yalangirira, era n’ebyo bye tuyigira ku bantu, ebifo, n’ebintu ebyaliwo ebyogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri.

a Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 15, 2015, lup. 9-11, kat. 7-12; ne “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi,” lup. 17-18 mu magazini eyo.