AKASANDUUKO 19B
Amazzi Amatono Gafuuka Omugga Omunene!
Ezeekyeri alaba amazzi nga gakulukuta okuva mu yeekaalu ya Yakuwa ne gafuuka omugga omunene mu bbanga lya mayiro ng’emu yokka! Ku mabbali g’omugga alabako emiti egiriko ebibala era egiriko ebikoola ebiwonya. Ebintu ebyo birina makulu ki?
Omugga Guleeta Emikisa
MU KISEERA EKY’EDDA: Abayudaaya bwe baakomawo mu nsi yaabwe okuva mu buwaŋŋanguse, baafuna emikisa mingi bwe beenyigira mu kuzzaawo okusinza okulongoofu ku yeekaalu
MU KISEERA KYAFFE: Mu 1919 okusinza okulongoofu kwazzibwawo, ekyo ne kisobozesa abaweereza ba Katonda abeesigwa okufuna emikisa mu by’omwoyo ku kigero ekitabangawo
MU KISEERA EKY’OMU MAASO: Oluvannyuma lwa Amagedoni, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mu by’omubiri ne mu by’omwoyo
Amazzi Agawa Obulamu
MU KISEERA EKY’EDDA: Yakuwa yawa abantu abawulize emikisa mingi, era ne bwe beeyongera obungi yabasobozesa okufuna byonna bye beetaaga mu by’omwoyo
MU KISEERA KYAFFE: Mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo olugenda lweyongera okugaziwa, abantu bonna abaluyingiramu baganyulwa mu mikisa Yakuwa gye yeeyongera okuwa abantu be era ekyo kibasobozesezza okuba abalamu mu by’omwoyo
MU KISEERA EKY’OMU MAASO: Abo abanaawonawo ku Amagedoni bajja kwegattibwako obukadde n’obukadde bw’abantu abanaazuukizibwa, era bonna bajja kufuna emikisa gya Yakuwa mu bungi
Emiti Egibala Ebibala era Egiwonya
MU KISEERA EKY’EDDA: Yakuwa yaliisa abantu be abeesigwa mu by’omwoyo bwe baali bazzeeyo ku butaka; era yabawonya obulwadde obw’eby’omwoyo obwali bumaze ebbanga eddene nga bubaluma
MU KISEERA KYAFFE: Emmere ennyingi ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’awa abantu be ebayambye okwewala endwadde ez’eby’omwoyo n’enjala ey’eby’omwoyo ebiri mu nsi leero
MU KISEERA EKY’OMU MAASO: Kristo n’abo 144,000 abanaafugira awamu naye bajja kuyamba abantu abawulize okufuuka abatuukiridde n’okuba abalamu obulungi emirembe gyonna!