AKASANDUUKO 15A
Ab’oluganda Ababiri Bamalaaya
Mu Ezeekyeri essuula 23, Katonda yavumirira nnyo abantu be olw’obutaba beesigwa gy’ali. Mu ngeri nnyingi ebyo ebiri mu ssuula eyo bifaanagana n’ebyo ebiri mu ssuula 16. Okufaananako essuula 16, mu ssuula 23 namwo bakozesa ekyokulabirako ky’obwamalaaya. Yerusaalemi kiyitibwa muto wa Samaliya. Essuula ezo zombi ziraga engeri Yerusaalemi, muto wa Samaliya gye yakoppa muganda we oyo omukulu mu kukola obwamalaaya ate ye n’asukkawo mu kukola ebintu ebibi ennyo n’eby’obugwenyufu. Mu ssuula 23, Yakuwa yawa ab’oluganda abo amannya: Samaliya, ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi, yamuyita Okola; ate muto we Yerusaalemi, ekibuga kya Yuda ekikulu n’amuyita Okoliba. a—Ezk. 23:1-4.
Essuula ezo ebbiri zirina ebintu ebirala bye zifaanaganya, gamba nga kino: Abo abaafuuka bamalaaya baali bakyala ba Yakuwa mu kusooka naye oluvannyuma ne bataba beesigwa gy’ali. Ate era essuula ezo zombi ziwa essuubi. Wadde ng’essuubi eryo teriragibwa butereevu mu ssuula 23, ebigambo bino ebigirimu Yakuwa bye yayogera bikwatagana n’ebyo ebiri mu ssuula 16: “Nja kukomya ebikolwa byo eby’obugwenyufu n’obwamalaaya bwo.”—Ezk. 16:16, 20, 21, 37, 38, 41, 42; 23:4, 11, 22, 23, 27, 37.
Bakiikirira Kristendomu?
Emabega, ebitabo byaffe bibadde bigamba nti ab’oluganda abo ababiri, Okola ne Okoliba bakiikirira Kristendomu, naddala ebiwayi ebibiri ebikulu ebigirimu, eky’Abakatuliki n’eky’Abapolotesitante. Naye bwe tweyongedde okwekenneenya Bayibuli n’okusaba ennyo, kituleetedde okwebuuza ebibuuzo bino ebikulu. Kristendomu yali ebaddeko mukyala wa Yakuwa mu ngeri yonna? Yali ebaddeko mu ndagaano naye? Kya lwatu nedda. Kristendomu teyalinawo Yesu we yatandikira okukola ng’omutabaganya ‘w’endagaano empya’ eyakolebwa ne Isirayiri ow’omwoyo. Ate era Kristendomu tebangako kitundu kya Isirayiri ow’omwoyo, nga bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta. (Yer. 31:31; Luk. 22:20) Kristendomu yatandikawo luvannyuma nnyo nga n’abatume baamala dda okufa. Yatandikawo mu kyasa eky’okuna E.E. ng’ekibiina kya bakyewaggula, Abakristaayo ab’obulimba abalinga “omuddo” Yesu gwe yayogerako mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo.—Mat. 13:24-30.
Ekintu ekirala ekikulu kye tusaanidde okulowoozaako kye kino: Yakuwa yalaga nti ekiseera kyandituuse embeera ya Yerusaalemi ne Samaliya ebitaali byesigwa n’eddamu okutereera. (Ezk. 16:41, 42, 53-55) Bayibuli eraga nti ekiseera kinaatuuka ne Kristendomu n’etereera? Nedda! Okufaananako amadiini amalala gonna agali mu Babulooni ekinene, Kristendomu terina ssuubi lyonna lya kutereera.
N’olwekyo Okola ne Okoliba tebakiikirira Kristendomu. Naye tulina ekintu ekikulu ennyo kye tubayigirako: Bye tubasomako bituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’atwalamu abo abavumaganya erinnya lye era abasambajja emitindo gye egy’okusinza okulongoofu. Kristendomu eriko omusango munene mu nsonga eno kubanga amadiini gaayo amangi gagamba nti gakiikirira Katonda ow’amazima. Ate era gagamba nti Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, ye mukulembeze waago. Naye ebyo bye gayigiriza ne bye gakola biraga nti ekyo si kituufu, kubanga gagamba nti, Yesu y’omu ku bakatonda abasatu abali mu Katonda omu, era abantu mu Kristendomu tebakolera ku kiragiro kya Yesu ‘eky’obutaba ba nsi.’ (Yok. 15:19) Olw’okuba amadiini ga Kristendomu geenyigira mu kusinza ebifaananyi ne mu by’obufuzi, kyeyolese kaati nti Kristendomu nakyo kitundu kya “malaaya omukulu.” (Kub. 17:1) Awatali kubuusabuusa, nakyo kijja kuzikirizibwa ng’amadiini amalala gonna ag’obulimba gazikirizibwa!
a Amannya ago gatuukirawo. Okola litegeeza “Weema Ye [ey’Okusinzizaamu].” Erinnya eryo likwataganyizibwa n’ekyo Isirayiri kye yakola eky’okweteerawo ebifo eby’okusinzizaamu mu kifo ky’okugenda okusinziza mu yeekaalu ya Yakuwa e Yerusaalemi. Ate Okoliba litegeeza “Weema Yange [ey’Okusinzizaamu] Eri mu Ye.” Mu Yerusaalemi mwe mwali ennyumba ya Yakuwa ey’okusinzizaamu.