Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 39

Engeri Katonda gy’Atwalamu Omusaayi

Engeri Katonda gy’Atwalamu Omusaayi

Omusaayi kintu kikulu nnyo. Awatali musaayi, tetusobola kubeera balamu. Olw’okuba Katonda ye yatonda ebintu byonna, y’alina obuyinza okutubuulira engeri omusaayi gye gusaanidde okukozesebwamu. Ayogera ki ku musaayi? Gusaanidde okuliibwa oba okuteekebwa ku muntu? Oyinza otya okusalawo obulungi ku nsonga eno?

1. Yakuwa atwala atya omusaayi?

Yakuwa yagamba abaweereza be mu biseera eby’edda nti: ‘Obulamu obwa buli kiramu gwe musaayi gwakyo.’ (Eby’Abaleevi 17:14) Eri Yakuwa, omusaayi gukiikirira bulamu. Okuva bwe kiri nti obulamu kirabo kitukuvu okuva eri Katonda, n’omusaayi nagwo mutukuvu.

2. Kiragiro ki Katonda kye yateekawo ekikwata ku musaayi?

Yakuwa yalagira abaweereza be abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnatandika, obutalya musaayi. (Soma Olubereberye 9:4 ne Eby’Abaleevi 17:10.) Yakuwa yaddamu okukakasa ekiragiro ekyo bwe yalagira Abakristaayo “okwewalanga . . . omusaayi.”​—Soma Ebikolwa 15:28, 29.

Biki ebizingirwa mu kwewala omusaayi? Omusawo bw’akugamba nti weewale omwenge, kya lwatu oba tosaanidde kugunywa. Naye osobola okulya eby’okulya ebitabuddwamu omwenge, oba okukkiriza okugukuyingizaamu nga baguyisa mu misuwa? Kya lwatu nedda. Mu ngeri y’emu, ekiragiro kya Katonda ekikwata ku kwewala omusaayi kiba kitegeeza nti tetulina kulya musaayi, oba ennyama y’ensolo etaggiddwamu musaayi. Ate era kiba kitegeeza nti tetusaanidde kulya kintu kyonna ekitabuddwamu omusaayi.

Kati ate bwe kituuka ku kukozesa omusaayi mu by’obujjanjabi? Enkola ezimu ez’obujjanjabi zikontana butereevu n’etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. Enkola ezo zizingiramu okuteekebwako omusaayi, oba ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu, kwe kugamba, obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelates, ne plasma. Enkola endala ez’obujjanjabi tezikontana butereevu na tteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. Ng’ekyokulabirako, mu nzijanjaba ezimu, bakozesa obutundutundu obuba buggiddwa mu kimu ku bitundu ebina ebikola omusaayi. Ate mu nkola endala, omuntu ajjanjabibwa nga bakozesa omusaayi gwe gwennyini. Okusalawo kuba kwetaagisa mu mbeera ng’ezo ezoogeddwako waggulu, naye buli omu aba alina okwesalirawo ku lulwe. a​—Abaggalatiya 6:5.

YIGA EBISINGAWO

Laba engeri gy’oyinza okusalawo ku by’obujjanjabi ebizingiramu okukozesa omusaayi.

3. Londawo obujjanjabi obusanyusa Yakuwa

Oyinza otya okusalawo okufuna obujjanjabi obutakontana na mateeka ga Katonda? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku nsonga lwaki kikulu okukola ebintu bino wammanga.

  • Okusaba Yakuwa akuwe amagezi.​—Yakobo 1:5.

  • Okunoonyereza ku misingi gya Bayibuli egisobola okukuyamba n’okugikolerako.​—Engero 13:16.

  • Okumanya enzijanjaba ezikozesebwa mu kitundu gy’obeera.

  • Okumanya enzijanjaba z’otasobola kukkiriza.

  • Okukakasa nti ekyo ky’osalawo tekiikuleetere kulumirizibwa omuntu wo ow’omunda.​—Ebikolwa 24:16. b

  • Kimanye nti tewali n’omu, k’abe munno mu bufumbo, omukadde mu kibiina, oba oyo akuyigiriza Bayibuli, alina kukusalirawo ku nsonga buli muntu gy’alina okwesalirawo ku lulwe.​—Abaruumi 14:12.

  • Ekyo kyʼoba osazeewo kiteeke mu buwandiike.

4. Abajulirwa ba Yakuwa baagala obujjanjabi obusingayo obulungi

Kisoboka okugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi, ate mu kiseera kye kimu ne tufuna obujjanjabi obulungi. Laba VIDIYO.

Soma Tito 3:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki tusaanidde okukolagana obulungi n’abasawo era n’okuba abakkakkamu?

Ebitakkirizibwa

Omukristaayo by’alina okwesalirawo

A. Plasma

Obutundutundu obuggibwa mu plasma

B. Obutoffaali obweru

Obutundutundu obuggibwa mu butoffaali obweru

C. Platelets

Obutundutundu obuggibwa mu platelets

D. Obutoffaali obumyufu

Obutundutundu obuggibwa mu butoffaali obumyufu

 5. Enzijanjaba ezizingiramu okukozesa obutundutundu obuggibwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi

Omusaayi gukolebwa ebitundu bina ebikulu​—obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, ne plasma. Ebitundu ebyo birimu obutundutundu obulala obutono. c Obumu ku butundutundu obwo bukolebwamu eddagala eriyambako mu kulwanyisa endwadde oba okuziyiza omuntu okuvaamu omusaayi omungi.

Bwe kituuka ku by’obujjanjabi ebizingiramu okukozesa obutundutundu obuggibwa mu kimu ku bitundu ebina, buli Mukristaayo asaanidde okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. Abamu bayinza okusalawo okugaana obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obuggibwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi, ate abalala omuntu waabwe ow’omunda ayinza okuba ng’abakkiriza okukozesa obujjanjabi obwo.

Bw’oba ng’osalawo ku by’obujjanjabi, osaanidde okulowooza ku kibuuzo kino:

  • Nnyinza kunnyonnyola ntya omusawo ensonga lwaki nzikiriza oba sikkiriza obumu ku butundutundu obuggibwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi?

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Kikyamu ki ekiri mu kuteekebwako omusaayi?”

  • Wandimuzzeemu otya?

MU BUFUNZE

Yakuwa ayagala twewale okukozesa obubi omusaayi.

Okwejjukanya

  • Lwaki Yakuwa omusaayi agutwala nga mutukuvu?

  • Tumanyira ku ki nti ekiragiro kya Katonda ekikwata ku kwewala omusaayi kizingiramu n’okwewala okuteekebwako omusaayi?

  • Oyinza otya okusalawo obulungi ku bikwata ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Biki by’osaanidde okulowoozaako ng’osalawo ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi gwo?

“Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” (Omunaala gw’Omukuumi, Noovemba 1, 2000)

Biki by’osaanidde okulowoozaako ng’osalawo ku bikwata ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obuggibwa mu bitundu ebina ebikulu ebikola omusaayi?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” (Watchtower, Jjuuni 15, 2004)

Kiki ekyaleetera omusawo omu okukiraba nti endowooza Yakuwa gy’alina ku musaayi ekola amakulu?

“Nnakkiriza Endowooza Katonda gy’Alina ku Musaayi” (Awake!, Ddesemba 8, 2003)

Laba engeri abakadde abaweereza ku Bukiiko Obukwataganya eby’Eddwaliro gye bayambamu bakkiriza bannaabwe.

Yakuwa Ayamba Abalwadde (10:23)

a Laba Essomo 35, “Engeri gy’Oyinza Okusalawo mu Ngeri ey’Amagezi.”

b Laba  akatundu 5, “Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Obutundutundu Obuggibwa mu Bitundu Ebina Ebikola Omusaayi,” n’Ebyongerezeddwako 3, “Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi”.

c Abasawo abamu ebitundu ebina ebikulu ebikola omusaayi babitwala ngʼobutundutundu obuggibwa mu bitundu ebyo. N’olwekyo, kiyinza okukwetaagisa okunnyonnyola omusawo nti tokkiriza kuteekebwako musaayi, obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, oba plasma.