ESSOMO 19
Abajulirwa ba Yakuwa Bakristaayo ab’Amazima?
Abajulirwa ba Yakuwa tukkiriza nti tuli Bakristaayo ab’amazima. Lwaki? Lowooza ku nsibuko y’enzikiriza zaffe, ku linnya lye tuyitibwa, ne ku kwagala buli omu kw’alaga munne.
1. Ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bakkiriza babyesigamya ku ki?
Yesu yagamba nti: “Ekigambo [kya Katonda] ge mazima.” (Yokaana 17:17) Okufaananako Yesu, Abajulirwa ba Yakuwa bye bakkiriza babyesigamya ku Kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Bajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kyaffe. Awo nga mu mwaka gwa 1870, waliwo abantu abatonotono abeesimbu abaatandika okwekenneenya Bayibuli basobole okuzuula ekyo kyennyini ky’eyigiriza. Baasalawo okukkiririza mu ebyo bye baali bazudde mu Bayibuli, wadde nga byali byawukana nnyo ku ebyo amadiini mangi bye gaali gakkiriza. Ate era, baatandika okubuulirako abalala amazima ge baali bayize mu Bayibuli. a
2. Lwaki tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?
Yakuwa abaweereza be abayita bajulirwa be kubanga babuulira abalala amazima agamukwatako. (Abebbulaniya 11:4–12:1) Ng’ekyokulabirako, edda Katonda yagamba abantu be nti: “Muli bajulirwa bange.” (Soma Isaaya 43:10.) Yesu ayitibwa “Omujulirwa Omwesigwa.” (Okubikkulirwa 1:5) N’olwekyo, mu 1931 twatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Twenyumiririza mu kuyitibwa erinnya eryo.
3. Abajulirwa ba Yakuwa booleka batya okwagala nga Yesu bwe yakola?
Yesu yayagala nnyo abayigirizwa be ne kiba nti yali abatwala ng’ab’eŋŋanda ze. (Soma Makko 3:35.) Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna buli omu atwala munne nga muganda we oba mwannyina. Eyo ye nsonga lwaki bwe tuba twogera ku bakkiriza bannaffe tubayita baganda baffe oba bannyinaffe. (Firemooni 1, 2) Ate era tugondera ekiragiro kino ekigamba nti: “Mwagalenga baganda bammwe bonna.” (1 Peetero 2:17) Abajulirwa ba Yakuwa tulaga bakkiriza bannaffe mu nsi yonna okwagala mu ngeri nnyingi, nga mw’otwalidde n’okubayamba nga bafunye ebizibu.
YIGA EBISINGAWO
Weekenneenye ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa olabe obukakafu obulala obulaga nti tuli Bakristaayo ab’amazima.
4. Ebyo bye tukkiriza tubiggya mu Bayibuli
Yakuwa yakiraga nti abaweereza be bandyeyongedde okutegeera amazima agali mu Bayibuli. Soma Danyeri 12:4 n’obugambo obuli wansi, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Abantu ba Katonda bwe bandyeyongedde okwekenneenya Bayibuli, kiki ekyandivuddemu?
Laba engeri abayizi ba Bayibuli abatonotono, nga ku bano kwe kwali ne Charles Russell, gye beekenneenya Bayibuli. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
-
Okusinziira ku vidiyo, Charles Russell n’Abayizi ba Bayibuli abalala beekenneenya batya Bayibuli?
Obadde okimanyi?
Emirundi egimu tukyusizzaamuko mu bimu ku ebyo bye tuyigiriza. Lwaki? Ng’ekitangaala ky’enjuba eba evaayo bwe kigenda nga kyeyongera okwaka, ne Katonda ayamba abaweereza be okweyongera okutegeera Ekigambo kye. (Soma Engero 4:18.) Wadde nga yo Bayibuli tekyuka, bwe tugenda tweyongera okugitegeera tukola enkyukakyuka mu bye tuyigiriza.
5. Bye tukola bituukana n’erinnya lyaffe
Lwaki twasalawo okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
-
Lwaki kituukirawo abaweereza ba Katonda okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?
Lwaki Yakuwa alina abantu b’alonze okuba abajulirwa be? Ayagala bayambe abantu okukimanya nti ye Katonda ow’amazima, okuva bwe kiri nti waliwo eby’obulimba bingi ebimwogeddwako. Lowooza ku bulimba bwa mirundi ebiri obwogeddwa ku Katonda.
Amadiini agamu gayigiriza abagoberezi baago nti Katonda ayagala bakozese ebifaananyi mu kusinza. Soma Eby’Abaleevi 26:1, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Ekituufu kye kiruwa? Yakuwa atwala atya eky’okukozesa ebifaananyi mu kusinza?
Abakulu b’amadiini abamu bayigiriza nti Yesu ye Katonda. Soma Yokaana 20:17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Ekituufu kye kiruwa? Katonda ne Yesu be bamu?
-
Eky’okuba nti Yakuwa atumye Abajulirwa be okubuulira abalala amazima agamukwatako n’amazima agakwata ku Mwana we, kikuleetera kuwulira otya?
6. Twagalana
Abakristaayo Bayibuli ebageraageranya ku bitundu by’omubiri. Soma 1 Abakkolinso 12:25, 26, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Abakristaayo ab’amazima basaanidde kukola ki nga bakkiriza bannaabwe babonaabona?
-
Kiki kye weetegerezza ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baagalanamu?
Bwe wabaawo Abajulirwa ba Yakuwa abafunye ebizibu mu kitundu ekimu eky’ensi, Abajulirwa ba Yakuwa mu bitundu ebirala eby’ensi babaako kye bakolawo mu bwangu okubayamba. Okusobola okulabayo ekyokulabirako ku nsonga eyo, laba VIDIYO. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
-
Abajulirwa ba Yakuwa bwe badduukirira bannaabwe ababa bakoseddwa obutyabaga kyoleka kitya okwagala?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Abajulirwa ba Yakuwa ddiini mpya.”
-
Yakuwa yava ddi ng’abaweereza be abayita abajulirwa be?
MU BUFUNZE
Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima. Tuli bumu mu nsi yonna, bye tukkiriza tubiggya mu Bayibuli, era tumanyisa abalala amazima agakwata ku Yakuwa.
Okwejjukanya
-
Lwaki tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?
-
Buli omu ku ffe ayisa atya munne?
-
Olowooza Abajulirwa ba Yakuwa Bakristaayo ab’amazima?
LABA EBISINGAWO
Manya ebisingawo ku byafaayo byaffe.
Abajulirwa ba Yakuwa—Okwoleka Okukkiriza mu Bikolwa, Ekitundu 1: Okuva mu Kizikiza (1:00:53)
Laba emu ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baaniseemu enjigiriza ez’obulimba.
Laba eby’okuddamu mu bibuuzo by’oyinza okuba nga weebuuza ku Bajulirwa ba Yakuwa.
“Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza” (Biri ku mukutu)
Stephen yali yakyawa abantu b’amawanga amalala era yabalumbanga. Weetegereze ekyo kye yalaba mu Bajulirwa ba Yakuwa ekyamuleetera okukyusa endowooza ye.
“Nnali Nneeyongera Kwonooneka” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2015)
a Okuva mu 1879, Abajulirwa ba Yakuwa bazze bakuba magazini y’Omunaala gw’Omukuumi, okunnyonnyola ebyo ebiri mu Bayibuli