Okwejjukanya Ekitundu 1
Mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga n’omusomesa wo:
Ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli, kiruwa ky’osinga okwesunga?
(Laba Essomo 02.)
Lwaki okkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda?
Lwaki kikulu okukozesa erinnya lya Katonda?
(Laba Essomo 04.)
Bayibuli egamba nti Katonda ye “nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9) Ekyo okikkiriza?
(Laba Essomo 06.)
Soma Engero 3:32.
Lwaki Yakuwa ye w’omukwano asingayo?
Kiki Yakuwa ky’asuubira mu mikwano gye? Olowooza ky’abasuubiramu kizibu okutuukiriza?
Soma Zabbuli 62:8.
Bintu ki bye wali osabye Yakuwa? Biki ebirala by’oyinza okumusaba?
Yakuwa addamu atya okusaba?
(Laba Essomo 09.)
Soma Abebbulaniya 10:24, 25.
Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ziyinza kukuganyula zitya?
Olowooza onooganyulwa bw’onoofuba okubaawo mu nkuŋŋaana ezo?
(Laba Essomo 10.)
Lwaki kikulu okusoma Bayibuli obutayosa? Nteekateeka ki gy’olina ey’okusoma Bayibuli buli lunaku?
(Laba Essomo 11.)
Kiki ekisinze okukukwatako ku ebyo bye waakayiga mu Bayibuli?
Okuva lwe watandika okuyiga Bayibuli, kusoomooza ki kw’ofunye? Kiki ekiyinza okukuyamba okweyongera okuyiga?
(Laba Essomo 12.)