Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYONGEREZEDDWAKO

Okugonjoola Obutakkaanya mu Bizineesi

Okugonjoola Obutakkaanya mu Bizineesi

Mu 1 Abakkolinso 6:1-8, omutume Pawulo yayogera ku b’oluganda abaali batwala bannaabwe mu kkooti z’amateeka. Kyamunakuwaza nnyo okulaba ng’abamu ku Bakristaayo ab’omu Kkolinso ‘baagenda mu kkooti mu maaso g’abo abatali batuukirivu.’ (Olunyiriri 1) Pawulo yawa ensonga lwaki Abakristaayo tebasaanidde kutwala baganda baabwe mu kkooti z’ensi wabula, mu kifo kyekyo, bagonjoole ensonga zaabwe nga bagoberera obulagirizi obuweebwa mu kibiina. Ka twekenneenye ezimu ku nsonga lwaki yabuulirira ab’oluganda ku nsonga eyo era tulabe n’ezimu ku mbeera eziyinza okuba nga tezizingirwa mu kubuulirira okwo.

Bwe tufuna obutakkaanya mu bizineesi ne mukkiriza munnaffe, tusaanidde okufuba ennyo okubugonjoola nga tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, so si ku magezi gaffe. (Engero 14:12) Nga Yesu bwe yakiraga, kiba kirungi okugonjoola amangu obutakkaanya nga tebunnafuuka bwa maanyi. (Matayo 5:23-26) Eky’ennaku, Abakristaayo abamu baba n’enkaayana ez’amaanyi ne batuuka n’okutwala ensonga zaabwe mu kkooti z’ensi. Pawulo yagamba: “Bwe muloopagana mu kkooti kiba kitegeeza nti muwanguddwa.” Lwaki kino kiri bwe kityo? Ensonga enkulu eri nti kino kiyinza okuleeta ekivume ku kibiina ne ku Katonda gwe tusinza. N’olwekyo, kikulu nnyo okufumiitiriza ku kibuuzo kya Pawulo kino: “Lwaki temumala gakkiriza ne muyisibwa obubi?”​—Olunyiriri 7.

Ate era, Pawulo yalaga nti waliwo abantu Katonda bataddewo mu kibiina abayinza okuyamba ab’oluganda abalina obutakkaanya. Abakadde baba bamanyi bulungi Ebyawandiikibwa era Pawulo yagamba nti ‘basobola okulamula ab’oluganda mu bulamu buno.’ (Olunyiriri 3-5) Yesu yakiraga nti obutakkaanya obuzingiramu ebibi eby’amaanyi, gamba ng’obukumpanya n’okwogera eby’obulimba ku muntu omulala, busaanidde okugonjoolwa nga tugoberera emitendera esatu: ogusooka, abo abakwatibwako basaanidde okufuba okugonjoola ensonga zaabwe nga bali bokka; ogw’okubiri, singa omutendera ogusooka gulemererwa, bayinza okufunayo omujulizi omu oba babiri; n’ogw’okusatu, singa omutendera ogw’okubiri nagwo gulemererwa, ensonga zisaanidde okutwalibwa mu bakadde abakiikirira ekibiina.​—Matayo 18:15-17.

Kya lwatu, abakadde mu kibiina tebakola nga bannamateeka oba bannabizineesi era si be basalawo ku ngeri ab’oluganda gye balina okugonjoolamu obutakkaanya bwe baba balina mu bya bizineesi. Wabula, bakozesa Ebyawandiikibwa okuyamba ab’oluganda abalina obutakkaanya okubugonjoola mu mirembe. Ensonga bwe ziba ez’amaanyi ennyo, kiyinza okubeetaagisa okwebuuza ku mulabirizi w’ekitundu oba ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyokka, waliwo embeera endala ezitazingirwa mu kubuulirira kwa Pawulo kuno. Ezimu ku zo ze ziruwa?

Oluusi kiyinza okwetaagisa Omukristaayo okugenda mu mbuga z’amateeka okusobola okugonjoola ensonga mu ngeri ey’emirembe era ey’obwenkanya. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okumwetaagisa okugenda mu kkooti okusobola okukkirizibwa okugattululwa mu bufumbo, okusalawo ani asaanidde okusigaza abaana, okusalawo ssente omu ku bafumbo z’alina okuwanga munne nga bamaze okugattululwa, okuliyirirwa insuwalensi, okuteekebwa ku lukalala lw’abo ababanja kampuni eba egudde, n’okuwandiisa eddaame mu mateeka. Ate era, waliwo embeera eziyinza okuleetera ow’oluganda okuwulira nga kimwetaagisa okutwala ensonga ze mu kkooti asobole okufuna obukuumi. *

Singa kino kikolebwa mu mwoyo mulungi, kiba tekikontana na kubuulirira kwa Pawulo okwaluŋŋamizibwa. * Wadde kiri kityo, ekyo Omukristaayo kye yandisinze okutwala ng’ekikulu kwe kutukuza erinnya lya Yakuwa n’okutumbula emirembe n’obumu mu kibiina. Okwagala ke kabonero akasingayo obukulu akaawulawo abagoberezi ba Kristo, era “okwagala . . . tekwenoonyeza byakwo.”​—1 Abakkolinso 13:4, 5; Yokaana 13:34, 35.

^ lup. 2 Oluusi, Omukristaayo ayinza okukola ekintu ekibi ennyo gamba ng’okukuba Mukristaayo munne, oba okumutta, oba okumubba, oba okumukwata. Mu mbeera ng’ezo, kiba tekikontana na Byawandiikibwa singa Omukristaayo atwala ensonga ezo mu b’obuyinza, ne bwe kiba nga kiyinza okuviirako oyo amenye amateeka okutwalibwa mu kkooti.

^ lup. 3 Okusobola okumanya ebisingawo, laba Watchtower eya Maaki 15, 1997, olupapula 17-22, n’eya Okitobba 15, 1991, olupapula 25-28.