Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 10

Obufumbo—Kirabo Okuva eriKatonda ow’Okwagala

Obufumbo—Kirabo Okuva eriKatonda ow’Okwagala

“Omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.”​ —OMUBUULIZI 4:12.

1, 2. (a) Kiki oluusi kye tuyinza okwebuuza ekikwata ku abo abaakafumbiriganwa, era lwaki? (b) Bibuuzo ki bye tujja okukubaganyaako ebirowoozo mu ssuula eno?

ONYUMIRWA okugenda ku mbaga? Bangi banyumirwa okugenda ku mbaga, kubanga emikolo ng’egyo gitera okubeera egy’essanyu ennyo. Abo ababa bagenda okufumbiriganwa baba bambadde bulungi. Okugatta ku ekyo, essanyu lye baba nalyo ku mbaga yaabwe liba lyeyoleka ne ku maaso gaabwe! Ku lunaku olwo bonna babaako akamwenyumwenyu, era ebiseera byabwe eby’omu maaso biba birabika nga bijja kubeera birungi.

2 Wadde kiri kityo, tulina okukikkiriza nti obufumbo bugootanye nnyo leero. Wadde nga tuba tusuubira nti abo ababa baakafumbiriganwa ebintu bijja kubagendera bulungi, oluusi tuyinza okwebuuza: ‘Obufumbo bwabwe bunaaba bwa ssanyu? Bunaawangaala?’ Eby’okuddamu bijja kusinziira ku ngeri omwami n’omukyala gye bassa mu nkola amagezi Katonda g’awa ku bufumbo. (Soma Engero 3:5, 6.) Ekyo beetaaga okukikola okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda. Kati ka tulabe engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bino ebina: Nsonga ki ezandireetedde omuntu okuyingira obufumbo? Bw’oba ow’okuyingira obufumbo, muntu wa ngeri ki gwe wandisazeewo okufumbiriganwa naye? Osobola otya okweteekerateekera obufumbo? Era kiki ekiyinza okuyamba abafumbo okusigala nga basanyufu?

NSONGA KI EZANDIREETEDDE OMUNTU OKUYINGIRA OBUFUMBO?

3. Lwaki tekyandibadde kya magezi okuyingira obufumbo olw’ensonga ezitaliimu?

3 Abamu balowooza nti okusobola okubeera omusanyufu olina okuyingira obufumbo—nti tosobola kuba mumativu oba musanyufu okuggyako ng’oyingidde obufumbo. Naye ekyo si kituufu n’akamu! Yesu, teyali mufumbo naye obwannamunigina yabuyita ekirabo era n’akubiriza bonna abaali basobola okusigala obwannamunigina. (Matayo 19:11, 12) Omutume Pawulo naye yayogera ku birungi ebiri mu kubeera obwannamunigina. (1 Abakkolinso 7:32-38) Kyokka Yesu n’omutume Pawulo tebaawa teeka lyonna ligaana muntu kuwasa oba kufumbirwa; mu butuufu, ‘okugaana abantu okufumbiriganwa’ y’emu ku ‘njigiriza za dayimooni.’ (1 Timoseewo 4:1-3) Wadde kiri kityo, okusigala obwannamunigina kya muganyulo nnyo eri abo abaagala okuweereza Yakuwa nga tebalina kibataataaganya. N’olwekyo, tekyandibadde kya magezi kuyingira bufumbo olw’ensonga ezitaliimu, gamba ng’okupikirizibwa abalala.

4. Obufumbo busobozesa butya abazadde okukuza obulungi abaana?

4 Naye, waliwo ensonga ennungi ezandireetedde omuntu okuyingira obufumbo? Mazima ddala weeziri. Obufumbo nabwo kirabo okuva eri Katonda atwagala ennyo. (Soma Olubereberye 2:18.) N’olwekyo bulimu emiganyulo era busobola okuleeta essanyu. Ng’ekyokulabirako, obufumbo busobozesa abazadde okukuza obulungi abaana. Abaana beetaaga abazadde ababaagala, ababagunjula, era ababawa obulagirizi. (Zabbuli 127:3; Abeefeso 6:1-4) Kyokka, okukuza obulungi abaana si y’ensonga yokka eyandireetedde abantu okuyingira obufumbo.

5, 6. (a) Okusinziira ku Omubuulizi 4:9-12, egimu ku miganyulo egiri mu kuba n’ow’omukwano ow’oku lusegere gye giruwa? (b) Obufumbo buyinza butya okuba ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu?

5 Lowooza ku kyawandiikibwa ekikulu ekyesigamiziddwako essuula eno awamu n’ebyawandiikibwa ebyetooloddewo: “Ababiri basinga omu, kubanga bafuna empeera ennungi olw’ebyo bye bafuba okukola. Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka. Naye omuntu bw’aba yekka n’agwa, ani ayinza okumuyamba okusituka? Ate era ababiri bwe bagalamira awamu babuguma, naye ali obw’omu ayinza atya okubuguma? Omuntu ayinza okusinza amaanyi oyo ali yekka, naye ababiri tasobola kubasinza maanyi. N’omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.”​—Omubuulizi 4:9-12.

6 Okusingira ddala, ekyawandiikibwa kino kyogera ku muganyulo oguli mu kubeera n’ow’omukwano ow’oku lusegere. Kya lwatu, omukwano oguba wakati w’omwami ne mukyala we gwe gusingirayo ddala okuba ogw’oku lusegere. Ng’ekyawandiikibwa kino bwe kiraga, enteekateeka eno esobozesa abafumbo okuyambagana, okubudaabudagana, era n’okukuumagana. Obufumbo buba bunywevu n’okusingawo singa bubaamu omuntu omulala. Ng’ekyawandiikibwa kino bwe kiraga, omuguwa ogw’emiyondo ebiri gusobola okukutuka. Naye ogw’emiyondo esatu guba muzibu nnyo okukutula. Bwe kiba nti ekintu omwami n’omukyala kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kusanyusa Yakuwa, obufumbo bwabwe bubeera ng’omuguwa ogwo ogw’emiyondo esatu. Abafumbo bombi bwe beemalira ku Yakuwa, kiviirako obufumbo bwabwe okuba obunywevu gguluggulu.

7, 8. (a) Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa Abakristaayo abali obwannamunigina abalwanagana n’okwegomba okw’okwegatta? (b) Bayibuli ekyoleka etya nti obufumbo tebubaamu ssanyu lyokka?

7 Abafumbo bokka be bakkirizibwa okwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta. Mu butuufu, mu bufumbo okwegatta kutwalibwa ng’ekintu ekireeta essanyu. (Engero 5:18) Omuntu ali obwannamunigina bw’aba ng’amaze okuyita mu ekyo Bayibuli ky’eyita ‘ekiseera ekya kabuvubuka’​—ekiseera w’abeerera n’okwegomba okw’amaanyi okw’okwegatta—​ayinza okuba ng’akyalwanagana n’okwegomba okwo. Singa okwegomba ng’okwo tekufugibwa, kuyinza okuviirako omuntu okwenyigira mu bikolwa ebitasaana. Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebigambo bino ebikwata ku abo abali obwannamunigina: “Bwe baba tebasobola kwefuga, bayingire obufumbo, kubanga okuyingira obufumbo kisinga okufugibwa okwegomba okw’amaanyi.”​—1 Abakkolinso 7:9, 36; Yakobo 1:15.

8 K’ebeere nsonga ki eviirako omuntu okuyingira obufumbo, kiba kirungi n’amanya nti obufumbo tebubaamu ssanyu lyokka. Pawulo yagamba nti abo abayingira obufumbo “bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe.” (1 Abakkolinso 7:28) Abafumbo boolekagana n’ebizibu abo abali obwannamunigina bye batayinza kwolekagana nabyo. Naye singa osalawo okuyingira obufumbo, oyinza kukola ki okulaba nti ebizibu biba bitono ddala ate essanyu ne liba lingi? Ekimu ku biyinza okukuyamba kwe kulonda n’amagezi oyo gw’onoofumbiriganwa naye.

ANI YANDIBADDE OMUNTU OMULUNGI OW’OKUFUMBIRIGANWA NAYE?

9, 10. (a) Kyakulabirako ki Pawulo kye yawa ekikwata ku kabi akali mu kufumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza? (b) Biki ebitera okuva mu kusuula omuguluka okubuulirira kwa Katonda okukwata ku kufumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza?

9 Pawulo yawandiika ku musingi ogusaanidde okugobererwa mu kulonda ow’okufumbiriganwa naye. Yagamba nti: “Temwegattanga wamu na batali bakkiriza.” (2 Abakkolinso 6:14) Singa ebisolo bibiri ebitenkanankana bunene oba maanyi bisibibwa ku kikoligo kimu, byombi bikaluubirizibwa. Mu ngeri y’emu, omukkiriza n’atali mukkiriza bwe bagattibwa mu bufumbo, awatali kubuusabuusa wabaawo obutategeeragana bungi. Singa omu ayagala okusigala mu kwagala kwa Katonda kyokka ng’omulala si byaliko, ekyo kiyinza okuvaamu ebizibu bingi. Bwe kityo, Pawulo yakubiriza Abakristaayo okufumbirwa oba okuwasa “mu Mukama waffe mwokka.”​—1 Abakkolinso 7:39.

10 Abakristaayo abamu abali obwannamunigina balowooza nti kisingako okufumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza okusinga okubeera mu kiwuubaalo. Abamu basalawo okubuusa amaaso okubuulirira okuli mu Bayibuli ne bafumbiriganwa n’omuntu ataweereza Yakuwa. Kyokka emirundi mingi ebivaamu tebiba birungi. Abalinga abo beesanga nga bayingidde obufumbo n’omuntu gwe batasobola kwogera naye ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. Ekiwuubaalo kye bafuna mu bufumbo ng’obwo kisingira wala ekyo kye baalina nga tebannayingira bufumbo. Kyokka, waliwo Abakristaayo bangi nnyo abali obwannamunigina abanywerera ku magezi Katonda g’awa ku nsonga eno. (Soma Zabbuli 32:8.) Wadde nga basuubira nti luliba olwo ne bayingira obufumbo, basigala bwannamunigina okutuusa nga bafunye ow’okufumbiriganwa naye okuva mu abo abasinza Yakuwa Katonda.

11. Kiki ekiyinza okukuyamba okulonda mu ngeri ey’amagezi ow’okufumbiriganwa naye? (Laba n’akasanduuko ku  lupapula 114.)

11 Kya lwatu nti, si buli muweereza wa Yakuwa nti muntu mutuufu ow’okufumbiriganwa naye. Bw’oba ng’olowooza ku ky’okuyingira obufumbo, noonya omuntu alina ebiruubirirwa eby’omwoyo, era ayagala ennyo Katonda. Omuddu omwesigwa awandiise bingi nnyo ku nsonga eno ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, era kyandibadde kya magezi okubifumiitirizaako era n’okusaba Yakuwa akuyambe okubissa mu nkola ng’osalawo ku nsonga eno enkulu ennyo. *—Soma Zabbuli 119:105.

12. Mpisa ki ekwata ku bufumbo egobererwa mu nsi nnyingi, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekiyinza okuganyulwa abazadde ku nsonga eno?

12 Mu nsi nnyingi, abazadde be balondera abaana baabwe omuntu ow’okufumbiriganwa naye. Mu nsi ng’ezo, abantu bangi bakikkiriza nti abazadde be balina amagezi n’obumanyirivu ebyetaagisa okusobola okusalawo obulungi ku nsonga ng’eno enkulu ennyo. Obufumbo obw’engeri ng’eno butera okuba obulungi, nga bwe kyali ne mu biseera bya Bayibuli. Ekyokulabirako kya Ibulayimu eky’okuweereza omuddu we okugenda okufunira Isaaka omukazi kya muganyulo nnyo eri abazadde abayinza okubeera mu mbeera ng’eyo leero. Essente oba amaka amatutumufu si bye bintu Ibulayimu bye yatwala ng’ekikulu. Mu kifo ky’ekyo, yafuba okulaba nti afunira Isaaka omukazi okuva mu bantu abaali basinza Yakuwa. *​—Olubereberye 24:3, 67.

OYINZA OTYA OKWETEEKERATEEKERA OBUFUMBO OBULUNGI?

13-15. (a) Omusingi oguli mu Engero 24:27 guyinza gutya okuyamba omusajja ayagala okuwasa? (b) Kiki omukazi ky’ayinza okukola nga yeetegekera obufumbo?

13 Bw’oba ng’olowooza ku ky’okuyingira obufumbo, kyandibadde kirungi ne weebuuza nti: ‘Ddala ndi mwetegefu okuyingira obufumbo?’ Eky’okuddamu mu kibuuzo kino tekisinziira ku ndowooza gy’olina ku kwagala, ku kwegatta, ku kuba n’omuntu anaakumalako ekiwuubaalo, oba ku kuzaala abaana byokka. Waliwo n’ebintu ebirala ebikulu omuntu ayagala okuwasa oba okufumbirwa by’asaanidde okulowoozaako.

14 Omusajja ayagala okuwasa asaanidde okulowooza n’obwegendereza ku musingi guno: “Teekateeka emirimu gyo egy’ebweru, era otereeze bulungi ennimiro yo, oluvannyuma ozimbe ennyumba yo.” (Engero 24:27) Olunyiriri luno lulina makulu ki? Mu biseera ebyo omusajja bwe yabanga ayagala okuwasa yalinanga okusooka okwebuuza nti, ‘Nnaasobola okulabirira omukyala awamu n’abaana be tunaazaala?’ Okusooka, yalina okukola, ng’alabirira ennimiro ze, oba ebirime bye. Omusingi guno ne leero gukola. Omusajja ayagala okuwasa alina okweteekateeka asobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Kasita aba ng’obulamu bwe bumusobozesa okukola, aba alina okukola. Ekigambo kya Katonda kikiraga bulungi nti omusajja atalabirira ba mu maka ge mu by’omubiri, mu by’omwoyo, era atafaayo ku nneewulira zaabwe, aba mubi nnyo n’okusinga oyo atali mukkiriza!​—Soma 1 Timoseewo 5:8.

15 Mu ngeri y’emu, n’omukazi asazeewo okufumbirwa aba n’obuvunaanyizibwa bwalina okutuukiriza. Bayibuli eyogera ku bimu ku bintu omukyala by’asaanidde okuba ng’amanyi okukola era n’engeri z’asaanidde okuba nazo okusobola okuyamba ku mwami we n’okulabirira amaka. (Engero 31:10-31) Abasajja n’abakazi abapapa okuyingira obufumbo nga tebeetegekedde buvunaanyizibwa obuzingirwamu baba beefaako bokka, era baba tebalowoozezza ku ebyo bye balina okukolera oyo gwe baagala okufumbiriganwa naye. N’ekisinga byonna, abo abalowooza ku ky’okuyingira obufumbo beetaaga okuba abeetegefu okussa mu nkola emisingi gya Katonda egikwata ku bufumbo.

16, 17. Abo abateekateeka okuyingira obufumbo basaanidde kufumiitiriza ku misingi ki egy’omu Byawandiikibwa?

16 Okwetegekera obufumbo kizingiramu okufumiitiriza ku buvunaanyizibwa Katonda bw’awadde omwami n’omukyala. Omusajja Omukristaayo kimwetaagisa okumanya ebizingirwa mu kuba omutwe gw’amaka. Obuvunaanyizibwa buno tebumuwa bbeetu kweyisa nga nnaakyemalira. Wabula, ateekwa okukoppa engeri Yesu gy’akulemberamu ekibiina. (Abeefeso 5:23) Mu ngeri y’emu, omukyala Omukristaayo alina okutegeera obuvunaanyizibwa bw’alina. Anaaba mwetegefu okugondera ‘etteeka ly’omwami we’? (Abaruumi 7:2) Omukyala aba yamala dda okukkiriza okubeera wansi w’etteeka lya Yakuwa n’erya Kristo. (Abaggalatiya 6:2) Obuyinza bw’omwami we mu maka nabwo buba tteeka ddala ly’aba alina okugondera. Mwetegefu okugondera era n’okuwagira omusajja oyo atatuukiridde? Ekyo bw’aba nga taakisobole, kiba kya magezi n’atafumbirwa.

17 Okugatta ku ekyo, buli omu ku bafumbo kimwetaagisa okuba omwetegefu okukola ku byetaago bya munne. (Soma Abafiripi 2:4) Pawulo yagamba: “Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini; n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.” Ng’aluŋŋamiziddwa Katonda, Pawulo yakitegeera nti omusajja yeetaaga okuwulira nti mukyala we amussaamu ekitiibwa. Era n’omukyala yeetaaga okuwulira nti ayagalibwa omwami we.​—Abeefeso 5:21-33.

Aboogerezeganya bangi bakola enteekateeka ne wabaawo omuntu omulala

18. Lwaki abo aboogerezeganya basaanidde okwefuga?

18 N’olwekyo, okwogerezaganya tekiba kiseera kya kwesanyusa bwesanyusa. Kiba kiseera omusajja n’omukazi okuyiga engeri y’okukolaganamu obulungi n’okulaba obanga kinaaba kya magezi okuyingira obufumbo. Ate era kiba kiseera kya kwefuga! Muyinza okuwulira nga mwagala okwoleka ebikolwa ebiraga omukwano​—kya mu butonde abaagalana okulagaŋŋana okwagala. Kyokka, abaagalana basaanidde okwewala ebikolwa byonna ebiyinza okwonoona enkolagana yaabwe ne Katonda. (1 Abassessalonika 4:6) N’olwekyo, bwe muba mwogerezeganya, mwefuge; okwefuga kujja kubaganyula ekiseera kyonna ka kibe nti mufumbiriganiddwa oba nedda.

KIKI KY’OSOBOLA OKUKOLA OBUFUMBO BWAMMWE OKUSOBOLA OKUWANGAALA?

19, 20. Endowooza Abakristaayo gye balina ku bufumbo eyawukana etya ku y’abantu bangi mu nsi leero? Waayo ekyokulabirako.

19 Abafumbo bwe baba baagala obufumbo bwabwe okuwangaala, baba balina okutwala obweyamo bwe baakola ng’ekintu ekikulu. Okufumbiriganwa y’entandikwa y’ekintu Yakuwa kye yateekawo kibeerewo olubeerera. (Olubereberye 2:24) Kyokka eky’ennaku kiri nti, eyo si ye ndowooza abantu gye balina mu nsi ey’akakyo kano. Mu nsi ezimu, okugattibwa mu bufumbo abantu bakitwala “ng’okusiba ekifundikwa.” Bayinza okuba tebakimanyi nti enjogera eyo eragira ddala bulungi endowooza abantu bangi leero gye balina ku bufumbo. Mu ngeri ki? Wadde ng’ekifundikwa ekisibiddwa obulungi kirina okuba ekinywevu, era kirina okuba nga kyangu okusumulula.

20 Abantu bangi leero obufumbo babutwala okuba obw’akaseera obuseera. Banguwa okubuyingira kubanga baba balowooza nti bujja kukola ku bwetaavu bwabwe, naye ate mu kiseera kye kimu baba basuubira okubuvaamu amangu ddala singa bafuna ebizibu. Kyokka, jjukira ekyokulabirako eky’omuguwa Bayibuli ky’ekozesa ng’eyogera ku nkolagana ey’oku lusegere eba wakati w’omwami n’omukyala mu bufumbo. Emiguwa egikozesebwa okuvuga emmeeri ezimu gikolebwa nga girina okuwangaala, tegirina kukutuka ne bwe wabaawo omuyaga ogw’amaanyi ennyo. N’obufumbo bwe butyo bwe bulina okuba, bulina okuwangaala. Jjukira, Yesu yagamba nti: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” (Matayo 19:6) Singa oyingira obufumbo, olina okuba n’endowooza ng’eyo ku bufumbo. Ekyo kifuula obufumbo okubeera omugugu? N’akatono.

21. Ndowooza ki omwami n’omukyala buli omu gy’alina okuba nayo eri munne, era kiki ekiyinza okubayamba okukola ekyo?

21 Omwami n’omukyala beetaaga buli omu okuba n’endowooza ennuŋŋamu eri munne. Singa buli omu ku bo assa ebirowoozo bye ku ngeri ennungi munne z’alina, bajja kufuna essanyu n’obumativu mu bufumbo bwabwe. Ddala si ky’amagezi okuba n’endowooza ennuŋŋamu bw’etyo eri munno mu bufumbo atatuukiridde? Yakuwa amanyi nti tukola ensobi, naye tuli bakakafu nti ajja kweyongera okutulabamu ebirungi. Omuwandiisi wa zabbuli yabuuza nti: “Ai Ya, singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?” (Zabbuli 130:3) Mu ngeri y’emu, omwami n’omukyala balina buli omu okuba n’endowooza ennuŋŋamu eri munne era balina n’okusonyiwagananga.​—Soma Abakkolosaayi 3:13.

22, 23. Kyakulabirako ki ekirungi Ibulayimu ne Saala kye baateerawo abafumbo leero?

22 Abafumbo gye bakoma okubeera awamu okumala emyaka mingi, gye bakoma okuba abasanyufu era abamativu. Bayibuli eyogera ku bufumbo bwa Ibulayimu ne Saala bwe baali nga bakaddiye. Tekiri nti tebaalina bizibu mu bulamu bwabwe. Lowooza ku ngeri Saala (oboolyawo eyali aweza emyaka 60) gye yawuliramu, mwami we bwe yamugamba nti baali bagenda kuleka amaka gaabwe amalungi agaali mu kibuga Uli ekyali obulungi mu byenfuna, batandike okubeeranga mu weema obulamu bwabwe bwonna. Kyokka, wadde tekyali kyangu, yagondera omwami we. Olw’okuba Saala yali muyambi mulungi, yawagira Ibulayimu era Ibulayimu bye yasalawo ne bivaamu ebirungi. Era obuwulize bwe tebwali bwa kungulu. Ne “mu mutima gwe,” Saala yayita omwami we mukama we. (Olubereberye 18:12; 1 Peetero 3:6) Ekitiibwa kye yawa Ibulayimu kyali kiviira ddala ku mutima.

23 Kya lwatu Ibulayimu ne Saala tebakkirizaganyanga mu buli kimu. Olumu Saala alina ekirowoozo kye yawa ‘ekyanakuwaza ennyo’ Ibulayimu. Wadde kyali kityo, Yakuwa yawa Ibulayimu obulagirizi n’awuliriza eddoboozi lya mukyala we, era ekyo kyaganyula nnyo amaka gaabwe. (Olubereberye 21:9-13) Abaami n’abakyala leero, wadde n’abo abamaze emyaka mingi nga bafumbo, balina kye basobola okuyigira ku bafumbo bano abaali batya Katonda.

24. Bufumbo bwa ngeri ki obuweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa, era lwaki?

24 Mu kibiina Ekikristaayo mulimu abafumbo bangi abasanyufu​—abakyala abassa ekitiibwa mu babbaabwe, abaami abaagala ennyo bakyala baabwe era ababassaamu ekitiibwa, era n’abafumbo abakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe. Bw’oba osazeewo okuyingira obufumbo, londa n’amagezi oyo gw’oyagala okufumbiriganwa naye, obufumbo bwetegekere bulungi, era fuba okulaba nti obufumbo bwammwe bubaamu emirembe n’okwagala buweese Yakuwa Katonda ekitiibwa. Bw’onookola otyo, obufumbo bwo bujja kukuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda.

^ lup. 11 Laba essuula ey’okubiri ey’akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 12 Abamu ku baweereza ba Yakuwa ab’edda baalina abakazi abasukka mu omu. Yakuwa bwe yali akolagana n’abasajja ng’abo era ne Isirayiri ey’omubiri, yakkiriza enkola ey’okuwasa abakazi abasukka mu omu. Wadde si ye yatandikawo enkola eno, yassaawo ebiragiro okuyamba abantu abaalinga mu bufumbo ng’obwo. Kyokka, Abakristaayo bakimanyi nti Yakuwa takyakkiriza nkola eyo.​—Matayo 19:9; 1 Timoseewo 3:2.