ESSUULA 11
“Obufumbo Bubeerenga bwa Kitiibwa”
“Sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo.”—ENGERO 5:18.
1, 2. Kibuuzo ki kye tujja okwekenneenya, era lwaki?
OLI mufumbo? Bwe kiba bwe kityo, obufumbo bwo bulimu essanyu, oba bulimu ebizibu eby’amaanyi? Omukwano gwe mwalina ne munno mu bufumbo gugenda gukendeera? Obufumbo obulimu lwa nakola ntya naye nga tobufunamu ssanyu? Bwe kiba kityo, kiteekwa okuba nga kikunakuwaza nnyo. Ng’Omukristaayo, wandyagadde obufumbo bwo buweese Yakuwa Katonda wo ekitiibwa. Kyokka, embeera gy’olimu kati eyinza okuba ng’ekweraliikiriza era ng’ekunakuwaza. Wadde kiri kityo, tolowooza nti embeera tesobola kulongooka.
2 Leero, waliwo Abakristaayo abalina essanyu mu bufumbo kyokka nga mu kusooka obufumbo bwabwe tebwalimu ssanyu, era nga tebaalina nkolagana ya ku lusegere. Naye waliwo ekyabayamba okufuna essanyu. Naawe osobola okufuna essanyu mu bufumbo bwo. Mu ngeri ki?
OKUBEERA N’ENKOLAGANA EY’OKU LUSEGERE NE KATONDA ERA NE MUNNO MU BUFUMBO
3, 4. Lwaki abafumbo baba n’enkolagana ey’oku lusegere bwe bafuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda? Waayo ekyokulabirako.
3 Ggwe ne munno mu bufumbo mujja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere singa mmwembi mufuba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Lwaki kiri bwe kityo? Lowooza ku kyokulabirako kino: Omusajja ayimiridde ku ludda olumu
olw’olusozi ng’ate omukyala ayimiridde ku ludda olulala. Bombi batandika okulinnya olusozi olwo. Bwe baba bakyali wansi ku lusozi olwo ebbanga eriba wakati waabwe liba ddene. Kyokka, bwe beeyongera okulinnya waggulu okwolekera entikko y’olusozi, ebbanga eryo lyeyongera okukendeera. Kiki ky’oyigira ku kyokulabirako kino?4 Engeri gy’ofubamu okuweereza Yakuwa eyinza okugeraageranyizibwa ku kufuba okwetaagisa okusobola okulinnya olusozi. Okuva bwe kiri nti oyagala Yakuwa, tuyinza okugamba nti oli ku lusozi olinnya. Kyokka, bwe kiba nti ggwe ne munno mu bufumbo temukyalina nkolagana ya ku lusegere, kiba kiraga nti mulinnya olusozi olwo naye nga muva ku njuyi za njawulo. Naye, kiki ekibaawo bwe mweyongera okululinnya? Kyo kituufu nti ku ntandikwa ebbanga eriba wakati wammwe
liba ddene nnyo. Naye bwe muneeyongera okulinnya waggulu, kwe kugamba buli omu bw’anaafuba okunyweza enkolagana ye ne Katonda, mujja kweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere mu bufumbo bwammwe. Naye kino oyinza kukikola otya?Singa okumanya okuli mu Bayibuli kussibwa mu nkola, kusobola okunyweza obufumbo bwammwe
5. (a) Kiki ekinaakuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne munno mu bufumbo? (b) Yakuwa atunuulira atya obufumbo?
5 Ekintu ekikulu ennyo ekinaakuyamba ggwe ne munno mu bufumbo okulinnya olusozi olw’akabonero, kwe kugoberera okubuulirira okukwata ku bufumbo okusangibwa mu Kigambo kya Katonda. (Zabbuli 25:4; Isaaya 48:17, 18) Lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna.” (Abebbulaniya 13:4) Ekyo kitegeeza ki? Ebigambo “bwa kitiibwa” biraga nti ekintu ekyogerwako kitwalibwa nga kya muwendo nnyo. Era bw’atyo ddala Yakuwa bw’atunuulira obufumbo—abutwala nga bwa muwendo.
EKIKUKUBIRIZA—OKWAGALA OKW’AMAANYI KW’OLINA ERI YAKUWA
6. Ebigambo ebiri mu nnyiriri ezeetoolodde okubuulirira kwa Pawulo okukwata ku bafumbo biraga ki, era lwaki kikulu okukijjukira ekyo?
6 Kya lwatu nti ggwe ne munno mu bufumbo mukimanyi bulungi nti obufumbo bwa muwendo era butukuvu. Yakuwa kennyini ye yatandikawo obufumbo. (Soma Matayo 19:4-6.) Kyokka, bwe kiba nti kati mulina ebizibu mu bufumbo bwammwe, okumanya obumanya nti obufumbo bwa kitiibwa kiyinza obutakubiriza buli omu ku mmwe okuyisa munne mu ngeri ey’okwagala era n’okumuwa ekitiibwa. Kati olwo kiki ekinaabayamba? Weetegereze engeri Pawulo gye yayogera ku nsonga ey’okuwa munno ekitiibwa. Ebigambo ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo biraga nti Pawulo yali abuulirira abo be yawandiikira. (Abebbulaniya 13:1-5) Teyagamba nti, “obufumbo bwa kitiibwa,” wabula yagamba nti, “obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa.” Okukitegeera nti Pawulo yali abuulirira so si nti yali ayogera bwogezi ku mbeera eyaliwo, kiyinza okukukubiriza okuddamu okuwa munno ekitiibwa. Lwaki tugamba bwe tutyo?
7. (a) Biragiro ki eby’omu Byawandiikibwa bye tugondera, era lwaki? (b) Birungi ki ebiva mu kuba abawulize?
7 Lowooza ku ngeri gy’otwalamu ebiragiro ebirala eby’omu Byawandiikibwa, gamba ng’ekiragiro eky’okufuula abantu abayigirizwa oba eky’okukuŋŋaana awamu mu kusinza. (Matayo 28:19; Abebbulaniya 10:24, 25) Kyo kituufu nti oluusi tekiba kyangu kutuukiriza biragiro ebyo. Abantu b’obuulira bayinza okuba nga tebeefiirayo, oba omulimu gw’okola guyinza okuba nga gukukooya nnyo ne kiba nga kikuzibuwalira okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Wadde kiri kityo, weeyongera okubuulira amawulire amalungi, era toyosa nkuŋŋaana z’ekibiina. Tewali ayinza kukulemesa kukola bintu ebyo, k’abe Sitaani! Lwaki? Kubanga oyagala nnyo Yakuwa era ekyo kikukubiriza okugondera ebiragiro bye. (1 Yokaana 5:3) Birungi ki ebivaamu? Ofuna emirembe mu mutima awamu n’essanyu kubanga oba okimanyi nti okola Katonda by’ayagala. Era ekyo kikuzaamu amaanyi. (Nekkemiya 8:10) Kya kuyiga ki ekiri mu kino?
8, 9. (a) Kiki ekitukubiriza okugoberera okubuulirira okukwata ku kuwa obufumbo ekitiibwa, era lwaki? (b) Nsonga ki ebbiri ze tugenda okwogerako?
8 Ng’okwagala kw’olina eri Katonda bwe kukuleetera okugondera ekiragiro ky’okubuulira n’okukuŋŋaana awamu wadde ng’oyolekagana n’ebizibu, era kusobola okukuleetera okussa mu nkola okubuulirira kwa Bayibuli okugamba nti, “obufumbo [bwo] bubeerenga bwa kitiibwa,” ne bwe kiba nga kirabika ng’ekizibu. (Abebbulaniya 13:4; Zabbuli 18:29; Omubuulizi 5:4) Okugatta ku ekyo, nga Katonda bw’akuwa emikisa olw’okufuba okwenyigira mu kubuulira n’okukuŋŋaana awamu n’abalala, mu ngeri y’emu ajja kukuwa emikisa mingi bw’onoofuba okuwa ekitiibwa obufumbo bwo.—1 Abassessalonika 1:3; Abebbulaniya 6:10.
9 Kati olwo obufumbo bwo oyinza otya okubuwa ekitiibwa?
Olina okwewala empisa ezisobola okwonoona obufumbo bwo. Okugatta ku ekyo, weetaaga okubaako ky’okola okunyweza obufumbo bwo.WEEWALE ENJOGERA N’EMPISA EZIMALAMU OBUFUMBO EKITIIBWA
10, 11. (a) Nneeyisa ki emalamu obufumbo ekitiibwa? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okukubaganyaako ebirowoozo ne munnaffe mu bufumbo?
10 Omukyala omu Omukristaayo yagamba nti: “Nsaba Yakuwa annyambe nsobole okugumira embeera eno.” Mbeera ki? Yagamba: “Omwami wange anvuma buli kiseera. Muyinza obutandabako binuubule, naye ebigambo ebirumya by’anjogerera buli kiseera, gamba nga ‘Wantama!’ ‘Tolina ky’ogasa!’ birumya omutima gwange.” Omukyala ono ayogera ku kizibu eky’amaanyi ennyo—okukozesa ebigambo ebivuma mu bufumbo.
11 Nga kiba kya nnaku nnyo abafumbo mu maka Amakristaayo bwe bawaanyisiganya ebigambo ebivuma, ebireetera omuntu okulumizibwa okumala ekiseera ekiwanvu! Kya lwatu nti, obufumbo bwe bubaamu ebigambo ng’ebyo tebuba bwa kitiibwa. Okozesa ebigambo ng’ebyo mu bufumbo bwo? Engeri emu ey’okumanyaamu kino, kwe kubuuza munno mu bwesimbu nti, “Ebigambo byange bikuyisa bitya?” Singa munno akugamba nti ebigambo byo bitera okumulumya, olina okuba omwetegefu okukyusa enjogera yo.—Abaggalatiya 5:15; soma Abeefeso 4:31.
12. Kiki ekiyinza okuleetera Katonda okutwala okusinza kw’omuntu ng’okutagasa?
12 Kijjukire nti engeri gy’okozesaamu olulimi lwo mu bufumbo erina ky’ekola ku nkolagana yo ne Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa.” (Yakobo 1:26) Enjogera yo erina akakwate ka maanyi n’okusinza kwo. Bayibuli tewagira ndowooza egamba nti engeri omuntu gy’ayisaamu ab’omu maka ge si kikulu nnyo kasita aba ng’aweereza Katonda. Okwo kuba kwerimbalimba. (Soma 1 Peetero 3:7.) Oyinza okuba ng’oli munyiikivu mu kuweereza Katonda, naye singa mu bugenderevu okozesa ebigambo ebirumya munno, enteekateeka y’obufumbo oba togiwadde kitiibwa era okusinza kwo Katonda ayinza okukutunuulira ng’okutagasa.
13. Omufumbo ayinza atya okulumya munne?
13 Abafumbo era kibeetaagisa okuba abeegendereza baleme kulumya bannaabwe mu butali bugenderevu. Lowooza ku byokulabirako bibiri: Maama ali obwannamunigina atera okukubira omusajja Omukristaayo omufumbo essimu ng’amusaba amuwe ku magezi, era ne boogerera ekiseera kiwanvu; ow’oluganda ali obwannamunigina buli wiiki amala ebiseera bingi ng’abuulira ne mwanyinnaffe omufumbo. Abafumbo aboogerwako mu byokulabirako ebyo bayinza okuba nga tebalina biruubirirwa bikyamu, naye ekyo kye bakola kiyisa kitya bannaabwe mu bufumbo? Omukyala omu eyali mu mbeera ng’eyo yagamba: “Kinnuma nnyo bwe ndaba ng’omwami wange amala ebiseera bingi ng’ayogera ne muganda wange omulala mu kibiina era ng’amufaako nnyo. Muli mpulira nga nze tantwala ng’ekikulu.”
14. (a) Buvunaanyizibwa ki obukwata ku bufumbo obulagibwa mu Olubereberye 2:24? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
14 Kya lwatu mwannyinaffe oyo awamu n’abalala abali mu mbeera ng’eyiye bayisibwa bubi. Bannaabwe mu bufumbo basuula muguluka obuvunaanyizibwa Katonda bw’awa abafumbo obugamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we.” (Olubereberye 2:24) Wadde ng’abafumbo balina okweyongera okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe, okusingira ddala bavunaanyizibwa eri bannaabwe mu bufumbo. Kyo kituufu nti Abakristaayo baagala nnyo basinza bannaabwe naye okusingira ddala bavunaanyizibwa eri bannaabwe mu bufumbo. N’olwekyo, singa Abakristaayo abafumbo bamala ebiseera bingi nnyo ne basinza bannaabwe abalala oba singa baba n’enkolagana ey’oku lusegere ennyo nabo, naddala abo bwe batafaananya kikula, bayinza okuleeta ebizibu mu bufumbo bwabwe. Kino kyandiba nga kye kivaako ebizibu mu bufumbo bwo? Weebuuze, ‘Munnange mmuwa ebiseera ebimala, mmufaako, era mmulaga okwagala nga bwe kigwanira?’
15. Okusinziira ku Matayo 5:28, lwaki Abakristaayo abafumbo basaanidde okwewala okufaayo ennyo ku abo be batafaananya kikula?
Matayo 5:28) N’ekivaamu, bakola ebintu ebimaliramu ddala obufumbo ekitiibwa. Lowooza ku ekyo omutume Pawulo kye yayogera ku nsonga eno.
15 Okugatta ku ekyo, abafumbo Abakristaayo abafaayo ennyo ku abo be batafaananya kikula abatali bannaabwe mu bufumbo baba beeteeka mu mbeera ey’akabi ennyo. Eky’ennaku, abamu ku Bakristaayo abafumbo batandika okwegwanyiza abantu abo. (“EKITANDA KY’ABAFUMBO KIBEERENGA KIRONGOOFU”
16. Kulabula ki Pawulo kwe yawa okukwata ku bufumbo?
16 Bwe yamala okugamba nti “obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa,” Pawulo yawa n’okulabula kuno: “Ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu, kubanga abagwenyufu n’abenzi Katonda ajja kubasalira omusango.” (Abebbulaniya 13:4) Pawulo yakozesa ebigambo “ekitanda ky’abafumbo” ng’ategeeza okwegatta. Okwegatta kuba ‘kulongoofu,’ oba kuyonjo, singa kubaawo mu bufumbo. N’olwekyo, Abakristaayo bakolera ku bigambo bino: “Sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo.”—Engero 5:18.
17. (a) Lwaki Abakristaayo tebanditwaliriziddwa endowooza ensi gy’erina ku bwenzi? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yobu?
17 Abo abeegatta n’omuntu atali munnaabwe mu bufumbo baba tebassa kitiibwa mu mateeka ga Katonda agakwata ku mpisa. Kyo kituufu nti bangi leero bakitwala nti kya bulijjo era nti kikkirizibwa okuganza omuntu ebweru w’obufumbo. Kyokka, abantu ka babe na ndowooza ki ku bwenzi, Abakristaayo tebasaanidde kutwalirizibwa ndowooza zaabwe. Bakimanyi nti ku nkomerero, abantu si be bajja okusalira ‘abagwenyufu n’abenzi omusango, wabula Katonda y’ajja okugubasalira.’ (Abebbulaniya 10:31; 12:29) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima banywerera ku mitindo gya Yakuwa ku nsonga eno. (Soma Abaruumi 12:9.) Yobu yagamba nti: “Nnakola endagaano n’amaaso gange.” (Yobu 31:1) Okusobola okwewala ebiyinza okubasuula mu bwenzi, Abakristaayo bafuga amaaso gaabwe ne bateegomba kwegatta na muntu atali munnaabwe mu bufumbo.—Laba Ebyongerezeddwako, ku lupapula 219-221.
18. (a) Mu maaso ga Yakuwa obwenzi bubi kwenkana wa? (b) Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenzi n’okusinza ebifaananyi?
18 Mu maaso ga Yakuwa, obwenzi bubi kwenkana wa? Amateeka ga Musa gatuyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo. Mu Isirayiri, obwenzi n’okusinza ebifaananyi bye bimu ku bintu ebyaviirangako omuntu okuweebwa ekibonerezo eky’okuttibwa. (Eby’Abaleevi 20:2, 10) Oyinza okulaba akakwate akaliwo wakati w’ebintu ebyo byombi? Kirowoozeeko, Omuyisirayiri bwe yasinzanga ekifaananyi, yabanga amenye endagaano ye ne Yakuwa. Mu ngeri y’emu, Omuyisirayiri bwe yayendanga, yabanga amenye endagaano ye ne munne mu bufumbo. Eyasinzanga ebifaananyi n’eyayendanga, bombi baabanga beeyisizza mu ngeri ya bukuusa. (Okuva 19:5, 6; Ekyamateeka 5:9; soma Malaki 2:14.) Bwe kityo, bombi baaliko omusango mu maaso ga Yakuwa, Katonda omwesigwa.—Zabbuli 33:4.
19. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okuba omumalirivu okwewala obwenzi, era lwaki?
19 Kya lwatu nti Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa. Kyokka Abakristaayo bwe bajjukira nti mu Isirayiri obwenzi kyali kibi kya maanyi, kibayamba okubeera abamalirivu obutakola kibi ng’ekyo. Lwaki? Kirowoozeeko: Wandiyingidde mu kereziya, n’ofukamira ku maviivi go, n’osabira mu maaso g’ekifaananyi? Oyinza okugamba nti ‘ekyo siyinza kukikola! Naye watya nga bakusuubizza okukuwa obutitimbe bw’ensimbi? Oyinza okugamba nti, ‘ne bwe bampa ki siyinza kukikola! Mazima ddala, eri Omukristaayo ow’amazima, n’okulowooza obulowooza ku ky’okusinza ekifaananyi kiba kya muzizo kubanga aba takuumye bwesigwa bwe eri Yakuwa. Mu ngeri y’emu, eky’obutabeera beesigwa eri Yakuwa n’eri bannaabwe mu bufumbo nga beegatta n’atali munaabwe mu bufumbo kya muzizo nnyo eri Abakristaayo—ka kibe Zabbuli 51:1, 4; Abakkolosaayi 3:5) Tetwagala kukola kintu kiyinza kusanyusa Sitaani naye nga kijja kuleeta ekivume ku Yakuwa ne ku nteekateeka y’obufumbo entukuvu.
ki ekibapikiriza okwenyigira mu bwenzi. (ENGERI GY’OYINZA OKUNYWEZAAMU OBUFUMBO BWO
20. Kiki ekibaddewo mu bufumbo obumu? Waayo ekyokulabirako.
20 Ng’oggyeko okwewala empisa ezitaweesa bufumbo kitiibwa, biki ebirala by’osobola okukola okuddamu okuwa munno mu bufumbo ekitiibwa? Ka tugambe nti obufumbo bwo nnyumba era nti ebigambo eby’ekisa, ebikolwa ebirungi, n’obugambo obulala obulungi abafumbo bwe bakozesa bye bintu ebitimbiddwa mu nnyumba eyo yeeyongere okulabika obulungi. Bwe muba n’enkolagana ey’oku lusegere, obufumbo bwammwe buba ng’ennyumba etimbiddwamu ebintu ebigirabisa obulungi ennyo. Okwagala kwammwe bwe kukendeera, ebintu ebyo biba ng’ebitandise okubula kimu ku kimu, ekiviirako obufumbo bwammwe okuba nga tebukyalimu ssanyu, okufaananako ennyumba etaliimu kintu kyonna kisanyusa. Okuva bwe kiri nti oyagala nnyo okugondera ekiragiro kya Katonda ekigamba nti “obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa,” ojja kufuba nnyo okutereeza embeera. Mazima ddala, ekintu kyonna eky’omuwendo kisaanira okuddaabirizibwa. Ekyo oyinza kukikola otya? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Amagezi ge gazimba ennyumba, era okutegeera kwe kuginyweza. Olw’okumanya, ebisenge byayo bijjula eby’obugagga ebya buli ngeri eby’omuwendo era ebisanyusa.” (Engero 24:3, 4) Lowooza ku ngeri abafumbo gye bayinza okukolera ku bigambo ebyo.
21. Tuyinza tutya okunyweza obufumbo bwaffe? (Laba n’akasanduuko ku lupapula 131.)
21 Ebimu ku ‘by’obugagga’ ebibeera mu maka amasanyufu, kwe kwagala okwa nnamaddala, okutya Katonda, n’okukkiriza okunywevu. (Engero 15:16, 17; 1 Peetero 1:7) Ebintu bino binyweza obufumbo. Naye weetegereza engeri ebisenge ebyogeddwako mu lugero olwo waggulu gye bijjuzibwa eby’obugagga? Bijjuzibwa eby’obugagga “olw’okumanya.” Okumanya okuli mu Bayibuli bwe kussibwa mu nkola, kusobola okukyusa endowooza y’abantu era ne kubayamba okuddamu okwagalana. (Abaruumi 12:2; Abafiripi 1:9) N’olwekyo, ggwe ne munno mu bufumbo bwe mukubaganya ebirowoozo ku byawandiikibwa, gamba ng’ekyawandiikibwa eky’olunaku, oba ku nsonga eyeesigamiziddwa ku Bayibuli eri mu Omunaala gw’Omukuumi oba mu Awake! ng’ekwata ku bufumbo, muba ng’abeekenneenya ekintu ekirungi kye muyinza okuteeka mu nnyumba yammwe ne yeeyongera okulabika obulungi. Okwagala kwe mulina eri Yakuwa bwe kubakubiriza okussa mu nkola okubuulirira okukwata ku bufumbo kwe muba musomyeko, mubanga ababa batutte ekintu ekyo ne mukiteeka mu “kisenge” kyammwe. N’ekinaavaamu, mujja kuddamu okuba n’omukwano nga gwe mwalina mu kusooka.
22. Tunaaganyulwa tutya bwe tufuba okunyweza obufumbo bwaffe?
22 Kyo kituufu nti, kiyinza okwetaagisa ebiseera bingi n’okufuba ennyo okusobola okuzzaawo ebintu ebyo kimu ku kimu. Naye singa buli omu ku mmwe akola ekyo ky’asaanidde okukola, mujja kuba bamativu olw’okumanya nti mugondera ekiragiro ekiri mu Bayibuli ekigamba nti: “Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Abaruumi 12:10; Zabbuli 147:11) N’ekisinga obukulu, singa mufuba okussa ekitiibwa mu bufumbo bwammwe, kijja kubasobozesa okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.