ESSUULA 17
Sigala mu Kwagala kwa Katonda
“Mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo . . . musobole okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.”—YUDA 20, 21.
1, 2. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda?
FFENNA twagala okuba nga tuli balamu bulungi era nga tulina amaanyi. Bwe kityo tufuba okulya emmere ennungi, okukola dduyiro obutayosa, n’okulabirira emibiri gyaffe. Wadde ng’okukola ebintu ebyo kiba kitwetaagisa okufuba, ebivaamu biba birungi, era eyo ye nsonga lwaki tetukoowa kubikola. Kyokka era twetaaga okuba nga tuli balamu bulungi era nga tulina amaanyi ne mu ngeri endala.
2 Wadde nga twatandika bulungi okuweereza Yakuwa, tulina okweyongera okunyweza enkolagana yaffe naye. Yuda bwe yakubiriza Abakristaayo ‘okwekuumira mu kwagala kwa Katonda,’ yababuulira n’engeri gye baali basobola okukikolamu. Yabagamba nti: “Mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo.” (Yuda 20, 21) Kati olwo tuyinza tutya okuba n’okukkiriza okunywevu?
WEEYONGERE OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWO
3-5. (a) Sitaani ayagala otwale otya emitindo gya Yakuwa? (b) Otwala otya amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye?
3 Kikulu nnyo okuba nga ggwe kennyini oli mukakafu nti amakubo ga Yakuwa ge gasingayo obulungi. Sitaani ayagala Olubereberye 3:1-6) Ne leero bw’atyo bw’akola.
olowooze nti emisingi gya Yakuwa mizibu nnyo okukolerako era nti bw’ova ku bulagirizi bwa Yakuwa oba musanyufu. Okuviira ddala mu lusuku Edeni, Sitaani abadde afuba okuleetera abantu okuba n’endowooza eyo. (4 Ekyo Sitaani ky’agamba kituufu? Ddala emisingi gya Yakuwa gitumalako emirembe? Nedda. Lowooza ku kino: Kuba akafaananyi ng’ogenze mu kkuumiro ly’ebisolo. Oba oli eyo n’olaba ekitundu ekimu nga baakyetooloza olukomera. Oboolyawo oyinza okutandika okwebuuza, ‘Lwaki bassaawo olukomera luno?’ Naye oba okyebuuza ekibuuzo ekyo n’owulira empologoma ng’ewulugumira munda w’olukomera. Awo kati olukomera olwo oba olutwala otya? Okitegeera nti lwateekebwawo kukuwa bukuumi oleme kuliibwa mpologoma! Emisingi gya Yakuwa giringa olukomera olwo, ate Sitaani alinga empologoma eyo. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala. Omulabe wammwe Omulyolyomi atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.”—1 Peetero 5:8.
5 Yakuwa atwagaliza obulamu obusingayo obulungi. Tayagala tulimbibwelimbibwe Sitaani. Eyo ye nsonga lwaki yatuteerawo amateeka n’emisingi egitukuuma era egituyamba okuba abasanyufu. (Abeefeso 6:11) Yakobo yagamba nti: “Oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira, ag’eddembe, era n’aganyiikiriramu . . . ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.”—Yakobo 1:25.
6. Kiki ekisobola okutuyamba okukiraba nti amakubo ga Katonda ge gasingayo obulungi?
6 Bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, obulamu bwaffe bulongooka era enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. Ng’ekyokulabirako, bwe tufuba okumusaba obutayosa nga bw’atukubiriza okukola, kituganyula Matayo 6:5-8; 1 Abassessalonika 5:17) Bwe tugondera ekiragiro kya Yakuwa ekikwata ku kukuŋŋaananga okumusinza n’okuzziŋŋanamu amaanyi era ne twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu, tufuna essanyu lingi. (Matayo 28:19, 20; Abaggalatiya 6:2; Abebbulaniya 10:24, 25) Bwe tufumiitiriza ku ngeri ebintu ebyo gye binywezezzaamu okukkiriza kwaffe, tweyongera okukiraba nti amakubo ga Yakuwa ge gasingayo obulungi.
nnyo. (7, 8. Kiki ekisobola okutuyamba obuteeraliikirira bigezo bye tuyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso?
7 Oluusi tuyinza okweraliikirira nti mu maaso eyo tujja kwolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo. Singa owulira bw’otyo, jjukira ebigambo bya Yakuwa bino: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata. Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo Isaaya 48:17, 18.
gijja kuba ng’omugga n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”—8 Bwe tugondera Yakuwa, emirembe gyaffe giba ng’omugga ogutakalira, n’obutuukirivu bwaffe buba ng’amayengo g’ennyanja agataggwa ku nnyanja. Ka kibe ki ekitutuukako mu bulamu bwaffe, tusobola okusigala nga tuli beesigwa. Bayibuli egamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga. Talireka mutuukirivu kugwa.”—Zabbuli 55:22.
‘FUBA OKUKULA’
9, 10. Kitegeeza ki okuba omukulu mu by’omwoyo?
9 Bw’oneeyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa ojja kukula mu by’omwoyo. (Abebbulaniya 6:1) Kitegeeza ki okuba omukulu mu by’omwoyo?
10 Okukula mu myaka si kye kifuula omuntu okuba omukulu mu by’omwoyo. Okusobola okukula mu by’omwoyo, tulina okufuula Yakuwa Mukwano gwaffe asingayo era tulina okufuba okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. (Yokaana 4:23) Pawulo yagamba nti: “Abo abagoberera omubiri balowooza bya mubiri, naye abo abagoberera omwoyo balowooza bya mwoyo.” (Abaruumi 8:5) Omuntu akuze mu by’omwoyo teyeemalira ku bya masanyu ga nsi na kunoonya bintu. Mu kifo ky’ekyo, okuweereza Yakuwa ky’akulembeza mu bulamu bwe era asalawo mu ngeri ey’amagezi. (Engero 27:11; soma Yakobo 1:2, 3.) Takkiriza balala kumuleetera kukola bikyamu. Omuntu omukulu mu by’omwoyo amanya ekituufu era n’aba mumalirivu okukikola.
11, 12. (a) Kiki Pawulo kye yayogera ku busobozi bw’Omukristaayo obw’okutegeera? (b) Kufaanagana ki okuliwo wakati w’okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo n’okuba omuddusi omulungi?
11 Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okukula mu Abebbulaniya 5:14) Ekigambo “babutendeka” kituleetera okulowooza ku kutendekebwa abaddusi kwe bayitamu.
by’omwoyo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Emmere enkalubo ya bantu bakulu, abo abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (12 Bwe tulaba omuddusi adduka obulungi, tukimanya nti kimutwalidde ebiseera n’okufuba kungi okusobola okudduka obulungi bw’atyo. Teyazaalibwa nga muddusi mulungi. Omwana bw’aba yaakazaalibwa, aba tamanyi ngeri ya kukozesaamu mikono gye na magulu ge. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ayiga okukwata ebintu n’okutambula. Bw’afuna okutendekebwa asobola okufuuka omuddusi. Mu ngeri y’emu, okusobola okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo kitwala ekiseera era kitwetaagisa okufuba okwetendeka.
13. Kiki ekisobola okutuyamba okuba n’endowooza ya Yakuwa?
13 Mu katabo kano tulabye engeri gye tuyinza okufuna endowooza ya Yakuwa n’okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Katuyambye okwongera okusiima emitindo gya Yakuwa n’okugyagala. Bwe tuba tulina kye tusalawo, tusaanidde okwebuuza nti: ‘Mateeka ki oba misingi ki mu Bayibuli ebisobola okunnyamba mu mbeera eno? Nnyinza ntya okugikolerako? Kiki Yakuwa ky’ayagala nkole?’—Soma Engero 3:5, 6; Yakobo 1:5.
14. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe?
14 Omulimu ogw’okuzimba okukkiriza kwaffe teguliiko kkomo. Ng’okulya emmere erimu ekiriisa bwe kituyamba okuba abalamu obulungi, n’okuyiga ebikwata ku Yakuwa kituyamba okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe. Bwe twali twakatandika okuyiga Bayibuli, twayiga ebintu ebisookerwako ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge. Naye ekiseera Engero 4:5-7; 1 Peetero 2:2.
bwe kigenda kiyitawo tuba twetaaga okuyiga ebintu eby’ebuziba ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge. Ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Emmere enkalubo ya bantu bakulu.” Bwe tukolera ku bintu bye tuyiga tuba ba magezi. Bayibuli egamba nti: “Amagezi kye kintu ekisinga obukulu.”—15. Lwaki kikulu nnyo okwagala Yakuwa ne bakkiriza bannaffe?
15 Omuntu asobola okuba nga mulamu bulungi era ng’alina amaanyi, naye okusobola okusigala mu mbeera eyo aba akimanyi nti alina okweyongera okwerabirira. Mu ngeri y’emu, omuntu akuze mu by’omwoyo aba akimanyi nti alina okweyongera okufuba okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.” (2 Abakkolinso 13:5) Naye okuba n’okukkiriza okunywevu ku bwakyo tekimala. Tulina n’okweyongera okunyweza okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaffe. Pawulo yagamba nti: “Bwe mba . . . nnina okumanya kwonna, era nga nnina okukkiriza okunsobozesa okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba sirina kye ngasa.”—1 Abakkolinso 13:1-3.
KUUMIRA EBIROWOOZO BYO KU SSUUBI LY’OLINA
16. Sitaani ayagala tulowooze ki?
16 Sitaani ayagala tulowooze nti tetusobola kusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Ayagala tuggweemu amaanyi era tulowooze nti ebizibu byaffe tebisobola kugonjoolwa. Tayagala twesige bakkiriza bannaffe era tayagala tube basanyufu. (Abeefeso 2:2) Sitaani akimanyi nti endowooza etali nnuŋŋamu esobola okutukosa era nti esobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Naye Yakuwa atuwadde ekintu ekisobola okutuyamba okulwanyisa endowooza etali nnuŋŋamu. Atuwadde essuubi.
17. Essuubi lye tulina kkulu kwenkana wa?
1 Abassessalonika 5:8, Bayibuli egeraageranya essuubi lye tulina ku nkoofiira omusirikale gy’ayambala mu lutalo aleme kufuna bisago ku mutwe, era eriyita “essuubi ery’obulokozi.” Essuubi lye tulina mu bisuubizo bya Yakuwa lisobola okukuuma ebirowoozo byaffe ne tusobola okwewala endowooza etali nnuŋŋamu.
17 Mu18, 19. Essuubi Yesu lye yalina lyamunyweza litya?
18 Essuubi Yesu lye yalina lyamuyamba okusigala nga munywevu. Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yayolekagana n’ebigezo eby’omuddiriŋŋanwa. Mukwano gwe ow’oku lusegere yamulyamu olukwe. Mukwano gwe omulala yamwegaana. Ate mikwano gye emirala gyamwabulira. Abantu b’eggwanga lye baamwefuulira ne basaba attibwe mu bukambwe. Kiki ekyayamba Yesu okugumira ebigezo ebyo? Bayibuli egamba nti: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, yagumira omuti ogw’okubonaabona, Abebbulaniya 12:2.
okuswala n’atakutwala ng’ekikulu, era n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.”—19 Yesu yali akimanyi nti bwe yandisigadde nga mwesigwa kyandiweesezza Kitaawe ekitiibwa era kyandiraze nti Sitaani mulimba. Essuubi lye yalina lyamuleetera essanyu. Era yali akimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala yali agenda kuddamu okuba ne Kitaawe mu ggulu. Essuubi eryo lyamuyamba okugumira embeera enzibu gye yayitamu. Okufaananako Yesu, naffe tulina okukuumira ebirowoozo byaffe ku ssuubi lye tulina. Ekyo kijja kutuyamba okugumira embeera yonna gye tuyinza okwolekagana nayo.
20. Kiki ekisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu?
20 Yakuwa alaba okukkiriza kw’olina n’obugumiikiriza bw’oyoleka. (Isaaya 30:18; soma Malaki 3:10.) Asuubiza nti “ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala.” (Zabbuli 37:4) N’olwekyo, ebirowoozo byo bikuumire ku ssuubi ly’olina. Sitaani ayagala oggweemu essuubi era olowooze nti ebisuubizo bya Yakuwa tebijja kutuukirira. Naye tokkiriza Sitaani kukubuzaabuza! Bw’okiraba nti essuubi ly’olina ligenda likendeera, saba Yakuwa akuyambe. Jjukiranga ebigambo ebiri mu Abafiripi 4:6, 7, awagamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.”
21, 22. (a) Birungi Yakuwa by’atusuubizza? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
21 Bulijjo funangayo ekiseera ofumiitirize ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza. Mu kiseera ekitali kya wala, buli muntu anaaba ku nsi ajja kuba asinza Yakuwa. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Lowooza ku bulamu bwe buliba mu nsi empya. Obulamu bujja kuba bulungi nnyo n’okusinga bwe tulowooza! Sitaani, badayimooni, n’ebintu ebibi byonna bijja kuba bivuddewo. Tojja kulwala era tojja kufa. Mu kifo ky’ekyo, buli lunaku ojja kuzuukukanga ng’oli musanyufu, ng’oli mulamu bulungi, era ng’olina amaanyi. Abantu bonna bajja kukolera wamu okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Buli muntu ajja kuba alina emmere ennungi n’aw’okusula awalungi. Abantu tebajja kuba bakambwe, wabula buli omu ajja kuba afaayo ku munne. Oluvannyuma lw’ekiseera abantu bonna ku nsi bajja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.”—Abaruumi 8:21.
22 Yakuwa ayagala omufuule Mukwano gwo asingayo. N’olwekyo, fuba nnyo okugondera Yakuwa era weeyongere okumusemberera buli lunaku. Ka buli omu ku ffe asigale mu kwagala kwa Katonda emirembe n’emirembe!—Yuda 21.