ESSUULA 25
‘Obusaasizi bwa Katonda Waffe’
1, 2. (a) Maama akola ki ng’omwana we akaaba? (b) Nneewulira ki esinga obusaasizi bwa maama amaanyi?
MU MATUMBI budde, omwana akaaba. Amangu ago, maama azuukuka. Okuva bwe yazaala omwana, takyebaka nnyo nga bwe yeebakanga. Kati asobola okwawulawo engeri ez’enjawulo omwana we zaakaabamu. N’olwekyo, asobola okumanya obanga omwana we ayagala kuyonka, kusitulwa oba kufiibwako mu ngeri endala. Kyokka, omwana we k’abe ng’akaabye lwa nsonga ki, maama we asitukiramu n’abaako ky’akolawo. Okwagala kw’alina eri omwana we kumukubiriza okufaayo ku byetaago by’omwana we.
2 Obusaasizi maama bw’alaga omwana we, y’emu ku nneewulira ez’amaanyi abantu ze booleka. Kyokka, waliwo enneewulira esingawo okuba ey’amaanyi—obusaasizi bwa Katonda waffe, Yakuwa. Okwekenneenya engeri eno esikiriza kiyinza okutuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. N’olwekyo, ka twekkaanye amakulu g’obusaasizi, era n’engeri Katonda waffe gy’abwolekamu.
Obusaasizi Kye Ki?
3. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okukwatibwa ekisa” kirina makulu ki?
3 Mu Baibuli waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obusaasizi n’ekisa. Ebigambo bingi eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyogera ku kigambo kino, biwa amakulu agooleka obusaasizi obungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kigambo ky’Olwebbulaniya ra·chamʹ, ekitera okuvvuunulwa “okukwatibwa ekisa.” Ekitabo ekimu kinnyonnyola nti, ekigambo ra·chamʹ “kyoleka enneewulira *—Okuva 33:19; Yeremiya 33:26.
ey’amaanyi ey’obusaasizi, gamba ng’eyo gy’oba nayo bw’olaba b’oyagala oba abeetaaga obuyambi nga babonaabona.” Ekigambo kino eky’Olwebbulaniya, ekikozesebwa ku Yakuwa, kirina akakwate n’ekigambo “nnabaana” era kiyinza okunnyonnyolwa nga “obusaasizi bwa maama.”4, 5. Baibuli ekozesa etya enneewulira maama gy’ayoleka eri omwana we okutuyigiriza ku busaasizi bwa Yakuwa?
4 Baibuli ekozesa enneewulira maama gy’ayoleka eri omwana we okutuyigiriza amakulu g’obusaasizi bwa Yakuwa. Mu Isaaya 49:15, tusoma nti: “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira [ra·chamʹ] mwana wa nda ye? Weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe.” Ekyawandiikibwa ekyo kiraga bulungi nnyo nti Yakuwa asaasira nnyo abantu be. Mu ngeri ki?
5 Kizibu okuteebereza nti maama ayinza okwerabira okuyonsa n’okulabirira omwana we. Kiri kityo kubanga omwana talina ky’ayinza kukola ku bubwe; emisana n’ekiro aba yeetaaga okufiibwako n’okwagalibwa maama we. Kyokka, eky’ennaku, bamaama abamu tebafaayo ku baana baabwe, naddala mu ‘nnaku zino ez’enkomerero,’ omutali ‘kwagala kwa baluganda.’ (2 Timoseewo 3:1, 3) “Naye,” Yakuwa agamba, “siikwerabirenga.” Obusaasizi Yakuwa bw’alaga abaweereza be tebukoma. Bwa maanyi nnyo okusinga enneewulira yonna gy’oyinza okuteebereza, gamba ng’obusaasizi maama bw’alaga omwana we. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omukugu omu yayogera bw’ati ku Isaaya 49:15: “Kino kye kimu ku byawandiikibwa, kabekasinge ekisingirayo ddala okwoleka okwagala kwa Katonda okw’amaanyi mu Ndagaano Enkadde.”
6. Abantu bangi batunuulira batya obusaasizi, naye Yakuwa atukakasa ki?
Yakobo 5:11) Nga bwe tujja okulaba, obusaasizi si bunafu naye ngeri nkulu era ya maanyi nnyo. Ka tulabe engeri Yakuwa, okufaananako omuzadde omwagazi, gy’agyolekamu.
6 Obusaasizi kabonero akalaga obunafu? Abantu bangi abatatuukiridde balina endowooza ng’eyo. Ng’ekyokulabirako, Seneca, omufirosoofo Omuruumi, eyaliwo mu kiseera kya Yesu, era eyali omuyivu omumanyifu mu Rooma, yayigiriza nti “obusaasizi bwoleka obunafu mu ndowooza.” Seneca yali omu ku abo abatumbula endowooza ey’obutooleka nneewulira ey’ekika kyonna. Seneca yagamba nti omuntu ow’amagezi ayinza okuyamba abo abali mu nnaku, naye tateekwa kubasaasira, kubanga ekyo kimulemesa okuba omuteefu. Endowooza ng’eyo ey’okwerowoozaako, yali tesobozesa muntu kwoleka busaasizi. Naye Yakuwa tali bw’atyo n’akamu! Mu kigambo kye, Yakuwa atukakasa nti ‘wa kisa kingi era musaasizi.’ (Yakuwa Bwe Yalaga Eggwanga Obusaasizi
7, 8. Abaisiraeri baabonaabona batya mu Misiri ey’edda, era Yakuwa yakolawo ki?
7 Obusaasizi bwa Yakuwa bulabibwa mu ngeri gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isiraeri. Ku nkomerero y’ekyasa 16 B.C.E., obukadde n’obukadde bw’Abaisiraeri, baali mu buddu mu Misiri ey’edda, gye baali banyigirizibwa ennyo. Abamisiri ‘baakalubya obulamu bwabwe mu buddu, nga babakozesa amatofaali n’ebbumba.’ (Okuva 1:11, 14) Mu nnaku eyo, Abaisiraeri baakaabirira Yakuwa okubayamba. Katonda omusaasizi yakolawo ki?
8 Omutima gwa Yakuwa gwakwatibwako. Yagamba: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange Okuva 3:7) Yakuwa yali tayinza kulaba kubonaabona kw’abantu be wadde okuwulira okukaaba kwabwe n’atabalumirirwa. Nga bwe twalaba mu Ssuula 24 ey’ekitabo kino, Yakuwa, ye Katonda alumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala ngeri erina akakwate n’obusaasizi. Naye Yakuwa teyalumirirwa bulumirirwa bantu be kyokka; yabaako ky’akolawo ku lwabwe. Isaaya 63:9 lugamba: “Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula.” ‘N’omukono ogw’amaanyi,’ Yakuwa yanunula Abaisiraeri okuva mu Misiri. (Ekyamateeka 4:34) Oluvannyuma lw’ekyo, yabawa emmere mu ngeri ey’ekyamagero era n’abatuusa mu nsi eyali ebala ebibala.
abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku [y]aabwe.” (9, 10. (a) Lwaki Yakuwa yanunulanga Abaisiraeri oluvannyuma lw’okukkalira mu Nsi Ensuubize? (b) Mu kiseera kya Yefusa, Yakuwa yanunula Abaisiraeri okuva ku baani, era kiki ekyamuleetera okukola ekyo?
9 Obusaasizi bwa Yakuwa tebwakoma awo. Abaisiraeri bwe bakkalira mu Nsi Ensuubize, enfunda n’enfunda tebaasigala nga beesigwa era ne babonaabona olw’ekyo. Naye ate oluvannyuma abantu beekubanga mu kifuba era ne bakaabirira Yakuwa. Enfunda n’enfunda yabanunulanga. Lwaki? “Kubanga yasaasira abantu be.”—2 Ebyomumirembe 36:15; Ekyabalamuzi 2:11-16.
10 Lowooza ku kyaliwo mu kiseera kya Yefusa. Olw’okuba Abaisiraeri baatandika okuweereza bakatonda ab’obulimba, Yakuwa yabaleka okunyigirizibwa Abaamoni okumala emyaka 18. Mu nkomerero, Abaisiraeri beenenya. Baibuli etugamba: “Ne baggya mu bo bakatonda abaggya ne baweereza mukama: omwoyo gwe ne gumuluma olw’ennaku za Isiraeri.” (Ekyabalamuzi 10:6-16) Abantu be bwe beenenya mu bwesimbu, Yakuwa yali tayinza kubaleka nga babonaabona. N’olwekyo, Katonda ow’obusaasizi yawa Yefusa amaanyi okununula Abaisiraeri mu mikono gy’abalabe baabwe.—Ekyabalamuzi 11:30-33.
11. Okusinziira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abaisiraeri, kiki kye tuyiga ku busaasizi bwe?
11 Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isiraeri etuyigiriza ki ku busaasizi bwe? Ekisooka, obusaasizi bwe tebukoma ku kumanya nnaku abantu gye balimu. Jjukira ekyokulabirako kya maama omusaasizi asitukiramu n’abaako ky’akolawo ng’omwana we akaaba. Mu ngeri y’emu, Yakuwa tabuusa maaso nnaku abantu be gye babaamu. Obusaasizi bwe bumuleetera okubaako ky’akolawo okukendeeza ku nnaku yaabwe. Okugatta ku ekyo, engeri Yakuwa gye yayisaamu Abaisiraeri etuyigiriza nti obusaasizi si bunafu, kubanga obusaasizi bwamuleetera okubaako ky’akolawo ku lw’abantu be. Naye, Yakuwa asaasira baweereza be bokka ng’ekibiina?
Yakuwa Asaasira Abantu Kinnoomu
12. Amateeka galaga gatya nti Yakuwa asaasira abantu kinnoomu?
12 Amateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri gaalaga nti asaasira abantu kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye yafaayo ku baavu. Yakuwa yamanya nti waali wayinza okujjawo embeera ezitasuubirwa ne ziviirako Omuisiraeri okwavuwala. Abaavu bandiyisiddwa batya? Yakuwa yalagira bw’ati Abaisiraeri: “Tokakanyazanga mutima gwo, so tofunyanga ngalo zo eri muganda wo omwavu: tolemanga kumuwa, so n’omutima gwo tegunakuwalanga bw’omuwa: kubanga olw’ekigambo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaavanga akuwa omukisa mu mulimu gwo gwonna ne mu byonna by’onossangako omukono gwo.” (Ekyamateeka 15:7, 10) Era Yakuwa yalagira nti Abaisiraeri tebaalina kukungula nsonda zonna ez’ennimiro yaabwe wadde okulonda ebifisseewo. Ebyo byali bya kulekerwa abaavu. (Eby’Abaleevi 23:22; Luusi 2:2-7) Singa Abaisiraeri baakwata ekiragiro kino ekyaganyulanga abaavu abaali mu ggwanga lyabwe, abaali mu bwetaavu mu Isiraeri tekyandibeetaagisizza kusabiriza mmere. Ekyo tekyayoleka obusaasizi bwa Yakuwa?
13, 14. (a) Ebigambo bya Dawudi bitukakasa bitya nti Yakuwa atufaako nnyo ng’abantu kinnoomu? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti Yakuwa aba kumpi n’abo ‘abamenyese omutima’ oba ‘ababoneredde mu mwoyo’?
13 Ne mu kiseera kino, Katonda waffe ow’okwagala atufaako ng’abantu kinnoomu. Tuyinza okuba abakakafu nti amanya bwe tuba nga tubonaabona. Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe. Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:15, 18) Omuntu omu annyonnyola amakulu g’ebigambo bya Baibuli, ayogera bw’ati ku abo aboogerwako mu nnyiriri ezo: “Bamenyese emitima, kwe kugamba, ekibi kibatoowaza, era beenyooma; tebeekakasa era bawulira nga tebasaanira.” Abalinga abo bayinza okulowooza nti Yakuwa abali wala era nti ba wansi nnyo ye okusobola okubafaako. Naye si bwe kiri. Ebigambo bya Dawudi bitukakasa nti Yakuwa tayabulira abo ‘abeenyooma.’ Katonda waffe omusaasizi akimanyi nti mu biseera ng’ebyo, tumwetaaga nnyo era atuba kumpi.
14 Lowooza ku kyaliwo kino. Maama omu mu Amereka, yatwala omwana we bunnambiro mu ddwaliro kubanga yalina obuzibu obw’amaanyi mu kussa. Oluvannyuma lw’okukebera omwana we, abasawo baategeeza maama nti omwana we yali agenda kusula mu ddwaliro ekiro ekyo. Ate maama ye yasula wa ekiro ekyo? Mu ntebe mu ddwaliro okumpi ne mutabani we! Omwana we yali mulwadde era nga yalina okuba naye. Mazima ddala twandisuubidde ekisinganawo okuva eri Kitaffe ow’omu ggulu! Olubereberye 1:26) Ebigambo ebiri mu Zabbuli 34:18 bitutegeeza nti bwe tuba ne “omutima ogumenyese” oba “omwoyo oguboneredde,” Yakuwa ‘aba kumpi’ naffe, ng’omuzadde omwagazi, ng’atusaasira buli kiseera era nga mwetegefu okutuyamba.
Ate oba, twakolebwa mu kifaananyi kye. (15. Yakuwa atuyamba atya ng’abantu kinnoomu?
15 Kati olwo, Yakuwa atuyamba atya ng’abantu kinnoomu? Tekitegeeza nti aggyawo ekituleetera okubonaabona. Kyokka, abo abakaabirira Yakuwa okubayamba abakoledde enteekateeka nnyingi. Ekigambo kye, Baibuli, kituwa okubuulirira okulungi okuyinza okutuyamba okukola enkyukakyuka ennungi. Mu kibiina, Yakuwa ateekawo abalabirizi abalina ebisaanyizo, abafuba okwoleka obusaasizi bwe nga bayamba bakkiriza bannaabwe. (Yakobo 5:14, 15) ‘Ng’Oyo awulira okusaba,’ awa ‘omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Zabbuli 65:2; Lukka 11:13) Omwoyo ogwo guyinza okutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ ne tusobola okugumiikiriza okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulimalawo ebizibu byonna. (2 Abakkolinso 4:7) Tetusiima nteekateeka ezo zonna? Tetwerabiranga nti zooleka obusaasizi bwa Yakuwa.
16. Kikolwa ki ekisingirayo ddala okwoleka obusaasizi bwa Yakuwa, era kitukwatako kitya ng’abantu kinnoomu?
16 Kya lwatu, ekikolwa ekyasingirayo ddala okwoleka obusaasizi bwa Yakuwa, kwe kuwaayo Omwana we omwagalwa ng’ekinunulo ku lwaffe. Yakuwa yeefiiriza era n’alaga okwagala mu kukola ekyo, era kyatuggulirawo ekkubo okufuna obulokozi. Jjukira nti, ekinunulo ekyo kituganyula ffe fennyini. Nga kituukirawo, Zaakaliya, kitaawe wa Yokaana Omubatiza, yalagula nti ekinunulo ekyo kyandyolesezza ‘obusaasizi bwa Katonda waffe.’—Lukka 1:78.
Yakuwa Lw’Atalaga Busaasizi
17-19. (a) Baibuli eraga etya nti obusaasizi bwa Yakuwa buliko ekkomo? (b) Kiki ekyaleetera Yakuwa obutasaasira bantu be?
17 Twandikitutte nti obusaasizi bwa Yakuwa tebuliiko kkomo? Nedda. Baibuli ekiraga bulungi nti Yakuwa tasaasira bantu banyooma makubo ge ag’obutuukirivu. (Abaebbulaniya 10:28) Okusobola okutegeera lwaki akola bw’atyo, jjukira ekyatuuka ku ggwanga lya Isiraeri.
18 Wadde nga enfunda n’enfunda Yakuwa yanunula Abaisiraeri okuva ku balabe baabwe, obusaasizi bwe bwatuuka we bukoma. Abantu abo abakakanyavu baasinzanga ebifaananyi, ne baleeta n’ebifaananyi ebyo eby’omuzizo mu yeekaalu ya Yakuwa! (Ezeekyeri 5:11; 8:17, 18) Era tugambibwa: “Ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa obusungu bwa Mukama lwe bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona.” (2 Ebyomumirembe 36:16) Ekiseera kyatuuka ne kiba nti waali tewakyaliwo nsonga yonna esinziirwako kusaasira Baisiraeri, era bwe kityo, ne basunguwaza Yakuwa. Biki ebyavaamu?
19 Yakuwa yali takyayinza kusaasira bantu be. Yagamba: “Sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, nneme okubazikiriza.” (Yeremiya 13:14) Bwe kityo, Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo byazikirizibwa, era Abaisiraeri ne batwalibwa mu buddu mu Babulooni. Nga kiba kya nnaku nnyo abantu bwe bajeema ne kiviirako Katonda obutabasaasira!—Okukungubaga 2:21.
20, 21. (a) Kiki ekiribaawo obusaasizi bwa Yakuwa bwe bulituuka we bukoma mu kiseera kyaffe? (b) Nteekateeka ki ey’obusaasizi bwa Yakuwa ejja okwogerwako mu ssuula eddako?
20 Kiri kitya mu kiseera kyaffe? Yakuwa takyukanga. Olw’obusaasizi, awadde Abajulirwa be omulimu gw’okubuulira ‘amawulire amalungi’ mu nsi yonna. (Matayo ) Abantu bwe basiima obubaka bw’Obwakabaka, Yakuwa abayamba okubutegeera. (Ebikolwa 16:14) Naye omulimu guno tegujja kweyongera mu maaso kiseera kyonna. Tekyandibadde kikolwa kya busaasizi Yakuwa okuleka ensi eno embi n’okubonaabona kwonna okugirimu okweyongera mu maaso ebbanga lyonna. Obusaasizi bwa Katonda bwe bunaatuuka we bukoma, ajja kutuukiriza omusango gw’asalidde enteekateeka y’ebintu eno. Mu kukola ekyo, ajja kuba alaga obusaasizi eri ‘erinnya lye ettukuvu’ n’eri abaweereza be abanyiikivu. ( 24:14Ezeekyeri 36:20-23) Yakuwa ajja kuggyawo obubi aleete ensi empya ey’obutuukirivu. Yakuwa ayogera bw’ati ku babi: “Eriiso lyange teririsonyiwa so sirisaasira, naye ndireeta ekkubo lyabwe ku mutwe gwabwe.”—Ezeekyeri 9:10.
21 Okutuusa ng’ekyo kibaddewo, Yakuwa akyasaasira abantu, wadde abo aboolekedde okuzikirizibwa. Abantu aboonoonyi bwe beenenya mu bwesimbu, bayinza okuganyulwa mu emu ku nteekateeka za Yakuwa ezisingayo okuba ez’obusaasizi—okusonyiyibwa. Mu ssuula eddako, tujja kwogera ku byokulabirako ebiri mu Baibuli ebiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu mu bujjuvu.
^ lup. 3 Mu Zabbuli 103:13, ekigambo ky’Olwebbulaniya ra·chamʹ kirina akakwate n’obusaasizi taata bw’alaga abaana be.