ESSUULA 25
‘Obusaasizi bwa Katonda Waffe’
1, 2. (a) Maama akola ki ng’omwana we akaaba? (b) Ani alina obusaasizi obusinga obwa maama?
MU MATUMBI budde, omwana akaaba. Amangu ago maama azuukuka. Okuva lwe yazaala omwana, takyebaka nnyo nga bwe yeebakanga. Kati asobola okwawulawo engeri ez’enjawulo omwana we z’akaabamu. N’olwekyo, asobola okumanya obanga omwana we ayagala kuyonka, kusitulwa, oba kufiibwako mu ngeri endala. Kyokka omwana we k’abe ng’akaabye lwa nsonga ki, maama we asitukiramu n’abaako ky’akolawo. Okwagala kw’alina eri omwana we kumukubiriza okukola ku byetaago by’omwana we.
2 Obusaasizi maama bw’alaga omwana we, y’emu ku nneewulira ez’amaanyi abantu ze booleka. Kyokka waliwo alina obusaasizi obusingawo n’awo, ng’ono ye Katonda waffe, Yakuwa. Okwekenneenya engeri eno esikiriza kisobola okutuyamba okweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. N’olwekyo, ka twekkaanye amakulu g’obusaasizi, era n’engeri Katonda waffe gy’abwolekamu.
Obusaasizi Kye Ki?
3. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okusaasira’ kirina makulu ki?
3 Mu Bayibuli waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obusaasizi n’ekisa. Ebigambo bingi eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyavvuunulwa obusaasizi, bitegeeza obusaasizi obungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kigambo ky’Olwebbulaniya ra·chamʹ, ekitera okuvvuunulwa ‘okusaasira.’ Ekitabo ekimu kigamba nti, ekigambo ra·chamʹ “kyoleka enneewulira ey’amaanyi ey’obusaasizi, gamba ng’eyo gy’oba nayo bw’olaba abantu b’oyagala nga babonaabona oba nga bali mu bwetaavu.” Yakuwa akozesa ekigambo ekyo eky’Olwebbulaniya okulaga engeri gy’awuliramu. Ekigambo ekyo kirina akakwate n’ekigambo “nnabaana” era kisobola okuvvuunulwa ‘ng’obusaasizi bwa maama.’ a—Okuva 33:19; Yeremiya 33:26.
4, 5. Bayibuli ekozesa etya enneewulira maama gy’aba nayo eri omwana we okutuyamba okutegeera obusaasizi bwa Yakuwa?
4 Bayibuli ekozesa enneewulira maama gy’aba nayo eri omwana we okutuyamba okutegeera amakulu g’obusaasizi bwa Yakuwa. Isaaya 49:15, wagamba nti: “Omukazi ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa oba ayinza obutakwatirwa kisa [ra·chamʹ] omwana gw’azaala? Abakazi bano ne bwe beerabira, nze sirikwerabira.” Ekyawandiikibwa ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa asaasira nnyo abantu be. Mu ngeri ki?
5 Kizibu okuteebereza nti maama ayinza okwerabira okuyonsa n’okulabirira omwana we. Ekyo kiri bwe kityo kubanga omwana talina ky’ayinza kukola ku lulwe; emisana n’ekiro aba yeetaaga maama we okumufaako n’okumulaga okwagala. Kyokka eky’ennaku, bamaama abamu tebafaayo ku baana baabwe, naddala ‘mu biseera bino ebizibu,’ omutali ‘kwagala kwa baluganda.’ (2 Timoseewo 3:1, 3) Naye Yakuwa agamba nti: “Sirikwerabira.” Obusaasizi Yakuwa bw’alaga abaweereza be tebukoma. Busingira wala obusaasizi maama bw’aba nabwo eri omwana we. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omukugu omu yayogera bw’ati ku Isaaya 49:15: “Kino kye kyawandiikibwa oboolyawo ekisingirayo ddala okwoleka okwagala kwa Katonda okw’amaanyi mu Ndagaano Enkadde.”
6. Abantu bangi batwala batya obusaasizi, naye Yakuwa atukakasa ki?
6 Omuntu bw’aba omusaasizi kiraga nti munafu? Abantu bangi abatatuukiridde bwe batyo bwe balowooza. Ng’ekyokulabirako, omufirosoofo Omuruumi ayitibwa Seneca, eyaliwo mu kiseera kya Yesu, yayigiriza nti “obusaasizi bwoleka obunafu mu ndowooza.” Seneca yali omu ku abo abaali batumbula endowooza ey’obutooleka nneewulira yonna. Seneca yagamba nti omuntu ow’amagezi ayinza okuyamba abo abali mu nnaku, naye tateekwa kubasaasira, kubanga ekyo kimulemesa okuba mu mirembe. Omuntu aba n’endowooza ng’eyo aba yeerowoozaako, era aba tasobola kwoleka busaasizi obwa nnamaddala. Naye Yakuwa tali bw’atyo n’akamu! Mu Kigambo kye, atukakasa nti “musaasizi.” (Yakobo 5:11) Nga bwe tujja okulaba, obusaasizi si bunafu, wabula ngeri eyoleka amaanyi. Ka tulabe engeri Yakuwa, okufaananako omuzadde ayagala abaana be, gy’ayolekamu obusaasizi.
Yakuwa Lwe Yalaga Eggwanga lya Isirayiri Obusaasizi
7, 8. Abayisirayiri baabonaabona batya nga bali e Misiri, era Yakuwa yakolawo ki?
7 Obusaasizi bwa Yakuwa bulabibwa mu ngeri gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isirayiri. Ku nkomerero y’ekyasa 16 E.E.T., Abayisirayiri baali mu buddu e Misiri, era baali banyigirizibwa nnyo. Abamisiri baakalubya “obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu egy’amaanyi egy’okusamba obudongo n’okukuba amatoffaali, era nga babakozesa buli mulimu ogw’amaanyi.” (Okuva 1:11, 14) Mu nnaku eyo, Abayisirayiri baakaabirira Yakuwa okubayamba. Katonda omusaasizi yakolawo ki?
8 Yakuwa yakwatibwako nnyo. Yagamba nti: “Mazima ddala ndabye okubonaabona kw’abantu bange abali e Misiri era mpulidde okukaaba kwabwe olw’abo ababawaliriza okukola; era mmanyi bulungi obulumi bwe balimu.” (Okuva 3:7) Yakuwa yali tayinza kulaba bantu be nga babonaabona era nga bakaaba n’atabalumirirwa. Nga bwe twalaba mu Ssuula 24 ey’akatabo kano, Yakuwa ye Katonda alumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala ngeri erina akakwate n’obusaasizi. Naye Yakuwa teyalumirirwa bulumirirwa bantu be kyokka; yabaako ky’akolawo okubayamba. Isaaya 63:9 lugamba nti: “Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula.” Yakuwa yanunula Abayisirayiri okuva mu Misiri “n’omukono ogw’amaanyi.” (Ekyamateeka 4:34) Oluvannyuma lw’ekyo, yabawa emmere mu ngeri ey’ekyamagero era n’abatuusa mu Nsi Ensuubize.
9, 10. (a) Lwaki Yakuwa yanunulanga Abayisirayiri oluvannyuma lw’okukkalira mu Nsi Ensuubize? (b) Mu kiseera kya Yefusa, Yakuwa yanunula atya Abayisirayiri, era kiki ekyamuleetera okukola ekyo?
9 Obusaasizi bwa Yakuwa tebwakoma awo. Abayisirayiri bwe bakkalira mu Nsi Ensuubize, enfunda n’enfunda tebaasigala nga beesigwa, era ekyo kyabaviirako okubonaabona. Naye oluvannyuma beekubanga mu kifuba era ne bakaabirira Yakuwa okubayamba. Enfunda n’enfunda yabanunulanga. Lwaki? “Kubanga yali asaasira abantu be.”—2 Ebyomumirembe 36:15; Ekyabalamuzi 2:11-16.
10 Lowooza ku kyaliwo mu kiseera kya Yefusa. Olw’okuba Abayisirayiri baatandika okuweereza bakatonda ab’obulimba, Yakuwa yabaleka okunyigirizibwa Abaamoni okumala emyaka 18. Kyokka oluvannyuma Abayisirayiri beenenya. Bayibuli egamba nti: “Awo ne beggyako bakatonda abalala ne baweereza Yakuwa, n’aba nga takyasobola kugumiikiriza kubonaabona kwa Isirayiri.” (Ekyabalamuzi 10:6-16) Abantu be bwe beenenya mu bwesimbu, Yakuwa yali tayinza kubaleka nga babonaabona. N’olwekyo, Yakuwa Katonda omusaasizi yawa Yefusa amaanyi okununula Abayisirayiri mu mikono gy’abalabe baabwe.—Ekyabalamuzi 11:30-33.
11. Okusinziira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abayisirayiri, kiki kye tuyiga ku busaasizi bwe?
11 Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isirayiri etuyigiriza ki ku busaasizi bwe? Ekisooka, olw’okuba musaasizi, takoma ku kumanya nnaku abantu gye babaamu. Jjukira ekyokulabirako kya maama asitukiramu n’abaako ky’akolawo ng’omwana we akaaba. Mu ngeri y’emu, Yakuwa tabuusa maaso nnaku abantu be gye babaamu. Obusaasizi bwe bumuleetera okubaako ky’akolawo okukendeeza ku nnaku yaabwe. Okugatta ku ekyo, engeri Yakuwa gye yayisaamu Abayisirayiri etuyigiriza nti obusaasizi si bunafu, kubanga bwe bwamuleetera okubaako ky’akolawo okuyamba abantu be. Naye Yakuwa abaweereza be tabasaasira kinnoomu, wabula abasaasira ng’ekibiina?
Yakuwa Asaasira Abantu Kinnoomu
12. Amateeka gaalaga gatya nti Yakuwa asaasira abantu kinnoomu?
12 Amateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri gaalaga nti asaasira abantu kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye yafaayo ku baavu. Yakuwa yamanya nti waali wayinza okujjawo embeera ezitasuubirwa ne ziviirako Omuyisirayiri okwavuwala. Abaavu bandiyisiddwa batya? Yakuwa yalagira Abayisirayiri nti: “Tokakanyazanga mutima gwo era tofunyanga ngalo zo eri muganda wo oyo omwavu. Omuweeranga ddala mu bungi era tomuwanga nga weewaliriza bwewaliriza. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa Katonda wo anaakuwanga omukisa mu buli ky’onookolanga na mu buli mulimu gwo gwonna.” (Ekyamateeka 15:7, 10) Era Yakuwa yalagira nti Abayisirayiri tebaalina kukungula nnimiro zaabwe okutuukira ddala ku nsalosalo, wadde okulonderera ebyabanga bisigadde emabega. Ebyo byali bya kulekerwa abaavu. (Eby’Abaleevi 23:22; Luusi 2:2-7) Singa Abayisirayiri baakwata ekiragiro kino, abaavu abaali mu ggwanga lyabwe tekyandibeetaagisizza kusabiriza mmere. Ekyo tekyayoleka obusaasizi bwa Yakuwa?
13, 14. (a) Ebigambo bya Dawudi bitukakasa bitya nti Yakuwa atufaako nnyo ng’abantu kinnoomu? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti Yakuwa aba kumpi n’abo ‘abamenyese omutima’ oba ‘ababoneredde mu mwoyo’?
13 Ne mu kiseera kino, Katonda waffe ow’okwagala atufaako ng’abantu kinnoomu. Atulaba bwe tuba nga tubonaabona. Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe. Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:15, 18) Omwekenneenya omu yayogera bw’ati ku abo aboogerwako mu nnyiriri ezo: “Bamenyese emitima, kwe kugamba, ekibi kibatoowaza, era beenyooma; tebeekakasa era bawulira nga tebasaanira.” Abalinga abo bayinza okulowooza nti Yakuwa abali wala era nti ba wansi nnyo ne kiba nti tasobola kubafaako. Naye si bwe kiri. Ebigambo bya Dawudi bitukakasa nti Yakuwa tayabulira abo ‘abeenyooma.’ Katonda waffe omusaasizi akimanyi nti mu biseera ng’ebyo, tuba tumwetaaga nnyo era atuba kumpi.
14 Lowooza ku kino ekyaliwo. Maama omu mu Amerika yaddusa omwana we mu ddwaliro kubanga yalina obuzibu obw’amaanyi mu kussa. Oluvannyuma lw’okukebera omwana we, abasawo baategeeza maama nti omwana oyo yali agenda kusula mu ddwaliro ekiro ekyo. Ate maama ye yasula wa? Mu ntebe mu ddwaliro okumpi ne mutabani we! Omwana we yali mulwadde era yalina okuba naye. Maama bwe yakola bw’atyo yali ayoleka obusaasizi bwa Yakuwa, kubanga twatondebwa mu kifaananyi kya Yakuwa. (Olubereberye 1:26) Tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu akola ekisingawo n’awo. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 34:18 biraga nti bwe tuba ‘n’omutima ogumenyese’ oba “omwoyo oguboneredde,” Yakuwa ‘aba kumpi’ naffe ng’omuzadde atwagala. Bulijjo atusaasira era aba mwetegefu okutuyamba.
15. Yakuwa atuyamba atya ng’abantu kinnoomu?
15 Kati olwo Yakuwa atuyamba atya kinnoomu? Tekitegeeza nti bulijjo aggyawo ebituleetera okubonaabona. Kyokka abo abakaabirira Yakuwa okubayamba abayamba mu ngeri nnyingi. Ekigambo kye, Bayibuli, kirimu okubuulirira okulungi okusobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna. Mu kibiina, Yakuwa ataddewo abalabirizi abalina ebisaanyizo, abafuba okwoleka obusaasizi bwe nga bayamba bakkiriza bannaabwe. (Yakobo 5:14, 15) Oyo “awulira okusaba,” awa ‘omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Zabbuli 65:2; Lukka 11:13) Omwoyo ogwo gusobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ne tusobola okugumiikiriza okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bunaamalawo ebizibu byonna. (2 Abakkolinso 4:7) Nga tusiima nnyo enteekateeka ezo zonna! Tetwerabiranga nti zooleka obusaasizi bwa Yakuwa.
16. Kikolwa ki ekisingirayo ddala okwoleka obusaasizi bwa Yakuwa, era kitukwatako kitya ng’abantu kinnoomu?
16 Kya lwatu, ekikolwa ekyasingirayo ddala okwoleka obusaasizi bwa Yakuwa, kwe kuwaayo Omwana we omwagalwa ng’ekinunulo ku lwaffe. Okwagala kwe kwaleetera Yakuwa okukola ekyo, era ky’atusobozesa okununulibwa mu kibi n’okufa. Jjukira nti ekinunulo ekyo kyaweebwayo ku lulwo kinnoomu. Nga kituukirawo, Zekkaliya, kitaawe wa Yokaana Omubatiza, yagamba nti ekyo kyandyolese “obusaasizi bwa Katonda waffe.”—Lukka 1:78.
Yakuwa lw’Atalaga Busaasizi
17-19. (a) Bayibuli eraga etya nti obusaasizi bwa Yakuwa buliko ekkomo? (b) Kiki ekyaleetera Yakuwa okulekera awo okusaasira abantu be?
17 Twandikitutte nti obusaasizi bwa Yakuwa tebuliiko kkomo? Nedda. Bayibuli eraga bulungi nti Yakuwa tasaasira bantu banyooma makubo ge ag’obutuukirivu. (Abebbulaniya 10:28) Okusobola okutegeera ensonga lwaki akola bw’atyo, jjukira ekyatuuka ku ggwanga lya Isirayiri.
18 Wadde ng’enfunda n’enfunda Yakuwa yanunula Abayisirayiri mu mukono gw’abalabe baabwe, obusaasizi bwe bwatuuka we bukoma. Abantu abo abakakanyavu baasinzanga ebifaananyi, era ne baleeta ebifaananyi ebyo eby’omuzizo mu yeekaalu ya Yakuwa! (Ezeekyeri 5:11; 8:17, 18) Ate era Bayibuli egamba nti: “Baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima ne banyooma ebigambo bye era ne basekerera ne bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be, okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.” (2 Ebyomumirembe 36:16) Ekiseera kyatuuka ne kiba nti waali tewakyaliwo nsonga yonna esinziirwako kusaasira Bayisirayiri. Ebikolwa byabwe byasunguwaza Yakuwa era yali mutuufu okusunguwala. Biki ebyavaamu?
19 Yakuwa yali takyayinza kusaasira bantu be. Yagamba nti: “Sijja kubasaasira wadde okubakwatirwa ennaku, wadde okubakwatirwa ekisa; tewali kijja kunnemesa kubazikiriza.” (Yeremiya 13:14) Bwe kityo Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo byazikirizibwa, era Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwambe e Babulooni. Nga kiba kya nnaku nnyo abantu bwe bajeema ne baba nga tebakyasobola kusaasirwa Katonda!—Okukungubaga 2:21.
20, 21. (a) Kiki ekinaabaawo obusaasizi bwa Yakuwa bwe bunaatuuka we bukoma? (b) Nteekateeka ki ey’obusaasizi bwa Yakuwa ejja okwogerwako mu ssuula eddako?
20 Ate kiri kitya mu kiseera kyaffe? Yakuwa takyukanga. Olw’okuba musaasizi, awadde abaweereza be omulimu gw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Abantu bwe bawuliriza obubaka bw’Obwakabaka, Yakuwa abayamba okubutegeera. (Ebikolwa 16:14) Naye omulimu guno tegujja kweyongera mu maaso kiseera kyonna. Tekiba kikolwa kya busaasizi Yakuwa okuleka ensi eno embi n’okubonaabona kwonna okugirimu okweyongera mu maaso ebbanga lyonna. Obusaasizi bwa Katonda bwe bunaatuuka we bukoma, ajja kuzikiriza ensi ya Sitaani. Wadde ng’ajja kukola bw’atyo, ajja kuba ayolese obusaasizi kubanga ajja kukakasa nti ‘erinnya lye ettukuvu’ liggibwako enziro era ajja kulokola abo abamwagala. (Ezeekyeri 36:20-23) Yakuwa ajja kuggyawo ebintu ebibi aleete ensi empya ey’obutuukirivu. Yakuwa ayogera bw’ati ku babi: “Eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa era sijja kubasaasira. Nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe.”—Ezeekyeri 9:10.
21 Ng’ekyo tekinnabaawo, Yakuwa akyasaasira abantu, omuli n’abo aboolekedde okuzikirizibwa. Abantu aboonoonyi bwe beenenya mu bwesimbu, baganyulwa mu emu ku nteekateeka za Yakuwa ezisingayo okwoleka obusaasizi, nga kwe okusonyiwa. Mu ssuula eddako, tujja kwogera ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu mu bujjuvu.
a Mu Zabbuli 103:13, ekigambo ky’Olwebbulaniya ra·chamʹ kirina akakwate n’obusaasizi taata bw’alaga abaana be.