Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 8

Amaanyi ag’Okuzza Obuggya—Yakuwa ‘Azza Obuggya Buggya Ebintu Byonna’

Amaanyi ag’Okuzza Obuggya—Yakuwa ‘Azza Obuggya Buggya Ebintu Byonna’

1, 2. Biki abantu bye bafiirwa leero, era tukwatibwako tutya olw’okufiirwa okwo?

 OMWANA abuzizza oba amenye eky’okuzannyisa kye ky’ayagala ennyo era akaaba nnyo. Kikunakuwaza okumulaba ng’akaaba! Kyokka, wali olabye engeri omwana gy’asanyukamu muzadde we bw’azuula ky’aba abuzizza? Eri omuzadde, kiyinza okuba ekyangu ennyo okuzuula eky’okuzannyisa ekyo oba okukiddaabiriza. Naye omwana kimwewuunyisa nnyo era asanyuka nnyo. Ekintu ekyalabise ng’ekibulidde ddala oba ekyonoonekedde ddala kiba kizziddwaawo!

2 Yakuwa, Kitaffe asingayo obulungi, alina amaanyi okuzzaawo ebyo abaana be ab’oku nsi bye balowooza nti baafiirwa. Kya lwatu, tetutegeeza bya kuzannyisa. Mu ‘biseera bino ebizibu ennyo,’ tufiirwa ebintu ebikulu ennyo n’okusingawo. (2 Timoseewo 3:1-5) Ebintu bingi abantu bye batwala ng’eby’omuwendo biba mu kabi buli kiseera, gamba ng’amaka gaabwe, ebintu byabwe, emirimu gyabwe, n’embeera y’obulamu bwabwe. Era tuyinza okunakuwala bwe tulowooza ku kwonoonebwa kw’obutonde okuviiriddeko ebika bingi eby’ebisolo n’ebimera okusaanawo. Kyokka, tewali kituluma kusinga kufiirwa muntu gwe twagala ennyo. Okufiirwa omuntu wo naye nga tolina ky’oyinza kukolawo kiyinza okukuyitirirako.—2 Samwiri 18:33.

3. Kiki ekizzaamu amaanyi ekyogerwako mu Ebikolwa by’Abatume 3:21, era Yakuwa anaakozesa ki okukituukiriza?

3 N’olwekyo, nga kizzaamu nnyo amaanyi okuyiga ku maanyi ga Yakuwa ag’okuzza obuggya ebintu! Nga bwe tugenda okulaba, waliwo ebintu bingi ebyewuunyisa Katonda by’asobola okuzza obuggya era by’ajja okuddiza abaana be ab’oku nsi. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti Yakuwa ajja ‘kuzza obuggya ebintu byonna.’ (Ebikolwa 3:21) Okutuukiriza ekyo, Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe, obufugibwa Omwana we, Yesu Kristo. Obukakafu bulaga nti Obwakabaka buno bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914. a (Matayo 24:3-14) Biki ebigenda okuzzibwa obuggya? Ka twetegereze ebimu ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo eby’okuzza obuggya ebintu. Ekimu ku byo tukiraba era weekiri. Ebirala bijja kubaawo ku kigero ekinene mu biseera eky’omu maaso.

Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo

4, 5. Kiki ekyatuuka ku bantu ba Katonda mu 607 E.E.T., naye yabawa ssuubi ki?

4 Ekintu ekimu Yakuwa kye yamala edda okuzzaawo kwe kusinza okulongoofu. Okusobola okutegeera ekyo kye kitegeeza, mu bufunze ka twekenneenye ebyafaayo by’obwakabaka bwa Yuda. Ekyo kijja kutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’abadde akozesaamu amaanyi ge ag’okuzza obuggya ebintu.—Abaruumi 15:4.

5 Teeberezaamu engeri Abayudaaya abeesigwa gye baawuliramu Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa mu 607 E.E.T. Ekibuga kyabwe kye baali baagala ennyo kyali kizikiriziddwa, nga ne bbugwe waakyo ali ku ttaka. Ekyali kisingawo n’okuba ekibi kyali nti yeekaalu Sulemaani gye yali azimbye, awaali okusinza okw’amazima mu nsi yonna, nayo yali ezikiriziddwa. (Zabbuli 79:1) Abaawonawo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ensi yaabwe n’esigala matongo, ng’esolo enkambwe ze zigyetaayizaamu. (Yeremiya 9:11) Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, kyalabika ng’abaali bafiiriddwa byonna. (Zabbuli 137:1) Naye Yakuwa eyali yalagula edda okuzikirizibwa okwo, era yabawa essuubi nti ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu ebyo kyali kijja mu maaso.

6-8. (a) Nsonga ki eddiŋŋanwa mu biwandiiko bya bannabbi Abebbulaniya, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya ku Bayudaaya? (b) Obunnabbi obukwata ku kuzza obuggya ebintu butuukiriziddwa butya mu kiseera kyaffe?

6 Mu butuufu, ensonga y’okuzza obuggya ebintu yaddiŋŋanwa mu biwandiiko bya bannabbi Abebbulaniya. b Okuyitira mu bannabbi abo, Yakuwa yasuubiza okuzza obuggya ensi yaabwe, eddemu okubaamu abantu, ebe ngimu, era nga tewakyaliwo kabi konna okuva eri ensolo enkambwe n’abalabe baabwe. Ensi yaabwe eyali egenda okuzzibwawo, Katonda yagyogerako ng’olusuku lwe! (Isaaya 65:25; Ezeekyeri 34:25; 36:35) N’ekisinga obukulu, okusinza okulongoofu kwandizziddwaawo, era ne yeekaalu n’ezimbibwa nate. (Mikka 4:1-5) Obunnabbi buno bwawa Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse essuubi, ne kibayamba okugumiikiriza obuwambe bwe baalimu okumala emyaka 70 mu Babulooni.

7 Kyaddaaki, ekiseera eky’okuzza ebintu obuggya kyatuuka. Oluvannyuma lw’okununulwa mu Babulooni, Abayudaaya baddayo mu Yerusaalemi ne baddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. (Ezera 1:1, 2) Bwe baanywerera ku kusinza okulongoofu, Yakuwa yabawa omukisa, n’afuula ettaka lyabwe eggimu era eribaza ebirime. Yabakuuma ne batatuusibwako kabi balabe baabwe n’ensolo enkambwe ezaali zimaze emyaka mingi nga zeetaayiza mu nsi yaabwe. Nga bateekwa okuba nga baajaguza nnyo olw’amaanyi ga Yakuwa ag’okuzza obuggya ebintu! Kyokka obunnabbi obwo obukwata ku kuzza obuggya ebintu bwali butuukiriziddwa ku kigero kitono nnyo. Okutuukirizibwa okusingawo obunene kwali kwa kubaawo mu “nnaku ezisembayo,” mu kiseera kyaffe, nga Muzzukulu wa Kabaka Dawudi atuuziddwa ku ntebe y’obwakabaka.—Isaaya 2:2-4; 9:6, 7.

8 Nga Yesu yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu mu 1914, yakola ku byetaago eby’omwoyo eby’abantu ba Katonda abeesigwa abali ku nsi. Nga Kuulo Omuperusi bwe yasumulula ensigalira y’Abayudaaya okuva mu Babulooni mu 537 E.E.T., ne Yesu yasumulula ensigalira y’Abayudaaya ab’omwoyo, nga be bagoberezi be abaafukibwako amafuta, okuva mu buyinza bw’amadiini ag’obulimba. Mu Bayibuli amadiini ago gayitibwa “Babulooni Ekinene.” (Okubikkulirwa 18:1-5; Abaruumi 2:29) Okuva mu 1919, Abakristaayo ab’amazima baddamu okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. (Malaki 3:1-5) Okuva mu kiseera ekyo, abantu ba Yakuwa bamusinziza mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo erongooseddwa, ng’eno y’enteekateeka ya Katonda ey’okusinza okulongoofu. Lwaki kino kikulu nnyo gye tuli leero?

Ensonga Lwaki Kikulu Okuzzibwa Obuggya mu by’Omwoyo

9. Oluvannyuma lw’abatume okufa, kiki ekyatuuka ku kusinza okulongoofu, naye kiki Yakuwa ky’akoze mu kiseera kyaffe?

9 Lowooza ku bino ebyaliwo mu byafaayo. Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baafuna emikisa mingi mu by’omwoyo. Naye Yesu n’abatume baalagula nti okusinza okw’amazima kwandyonooneddwa. (Matayo 13:24-30; Ebikolwa 20:29, 30) Oluvannyuma lw’ekiseera ky’abatume, Kristendomu yatandikawo. Abakulembeze baayo baagoberera enjigiriza n’ebikolwa eby’ekikaafiiri. Baakifuula kizibu nnyo okutegeera Katonda kubanga baagamba nti Katonda alimu bakatonda basatu, era ne bayigiriza abantu okwenenya eri baffaaza n’okusaba Maliyamu “n’abatuukirivu” mu kifo ky’okusaba Yakuwa. Oluvannyuma lw’ebyasa bingi nga waliwo enjigiriza ez’obulimba, kiki Yakuwa ky’akoze? Mu nsi ejjudde obulimba bw’amadiini n’ebikolwa ebibi, Yakuwa ayingidde mu nsonga n’azzaawo okusinza okulongoofu! Awatali kusavuwaza, tuyinza okugamba nti okuzzaawo okusinza okulongoofu, kye kimu ku bintu ebisingirayo ddala obukulu ebibaddewo mu kiseera kyaffe.

10, 11. (a) Bintu ki ebibiri ebizingirwa mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, era okwatibwako otya? (b) Bantu ba ngeri ki Yakuwa b’aleese mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo, era kiki kye banaalaba?

10 N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima bali mu lusuku olw’eby’omwoyo Yakuwa lwe yeeyongera okulungiya. Olusuku luno luzingiramu ki? Luzingiramu ebintu bibiri ebikulu. Ekisooka, kwe kusinza okulongoofu, kwe kugamba, okusinza Yakuwa Katonda ow’amazima. Atuteereddewo okusinza okutaliimu bulimba wadde okubuzaabuzibwa, era atuwadde emmere ey’eby’omwoyo. Kino kitusobozesa okuyiga ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu, okumusanyusa, n’okufuna enkolagana ennungi naye. (Yokaana 4:24) Eky’okubiri kikwata ku bantu. Nga Isaaya bwe yalagula, “mu nnaku ezisembayo,” Yakuwa ayigirizza abaweereza be ekkubo ery’emirembe. Atuyigirizza obuteenyigira mu ntalo. Wadde nga tetutuukiridde, atuyamba okwambala “omuntu omuggya.” Asiima bye tukola era atuwa omwoyo gwe omutukuvu, ogutusobozesa okwoleka engeri eziri mu kibala kyagwo. (Abeefeso 4:22-24; Abaggalatiya 5:22, 23) Bw’oba okolera awamu n’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, mazima ddala oli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo.

11 Yakuwa aleese mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo abantu b’ayagala, kwe kugamba, abo abamwagala, abaagala emirembe, era “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3) Abalinga abo bajja kuba n’enkizo ey’okulaba okuzzibwa obuggya okw’abantu n’ensi yonna okutabangawo.

“Laba! Ebintu Byonna Mbizza Buggya”

12, 13. (a) Lwaki obunnabbi bw’okuzza obuggya ebintu buteekwa okutuukirizibwa ku kigero ekisingawo? (b) Ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku nsi ekyayogerwako mu Edeni kye kiruwa, era lwaki kituwa essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso?

12 Bungi ku bunnabbi obwogera ku kuzza ebintu obuggya tebukoma ku bya mwoyo byokka. Ng’ekyokulabirako, Isaaya yayogera ku kiseera abalwadde, abalema, abazibe b’amaaso, ne bakiggala lwe baliwonyezebwa era n’okufa ne kuggibwawo ddala. (Isaaya 25:8; 35:1-7) Ebisuubizo ng’ebyo tebyatuukirizibwa ku Isirayiri ey’edda. Era wadde tulabye okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno mu ngeri ey’eby’omwoyo mu kiseera kyaffe, tulina ensonga ennungi okugamba nti mu biseera eby’omu maaso, bujja kutuukirira ku kigero ekisingawo ng’abalwadde, abalema, n’abazibe b’amaaso bonna bawonyezebwa era nga n’okufa kuggibwawo. Ekyo tukikakasa tutya?

13 Mu Lusuku Edeni, Yakuwa yamanyisa bulungi ekigendererwa kye ekikwata ku nsi. Yali ya kubeeramu abantu abasanyufu, abalamu obulungi, era abali obumu. Omusajja n’omukazi baali ba kulabirira ensi ne byonna ebigiriko, bagifuule olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28) Naye embeera si bw’etyo bw’eri kati. Kyokka tuli bakakafu nti tewali kiyinza kulemesa bigendererwa bya Yakuwa kutuukirira. (Isaaya 55:10, 11) Yesu, Kabaka eyalondebwa Yakuwa, ajja kusobozesa ensi okufuuka Olusuku lwa Katonda.—Lukka 23:43.

14, 15. (a) Yakuwa anazza atya ‘ebintu byonna obuggya’? (b) Obulamu bunaabeera butya mu Lusuku lwa Katonda, era kiki ekisinga okukukwatako?

14 Kuba akafaananyi ng’ensi yonna efuuliddwa Olusuku lwa Katonda! Yakuwa ayogera bw’ati ku kiseera ekyo: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.” (Okubikkulirwa 21:5) Fumiitiriza ekyo kye kiritegeeza. Nga Yakuwa amaze okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi, wajja kuddawo “eggulu eriggya n’ensi empya.” Kino kitegeeza nti gavumenti empya ey’omu ggulu ejja kufuga abantu abaagala Yakuwa era abakola by’ayagala ku nsi. (2 Peetero 3:13) Sitaani ne badayimooni bajja kusuulibwa mu bunnya. (Okubikkulirwa 20:3) Ogwo gwe gujja okuba omulundi ogusookera ddala oluvannyuma lw’emyaka nkumi na nkumi, abantu okuba nga tebeetooloddwa mbeera mbi. Abantu bajja kufuna obuweerero bwa maanyi nnyo.

15 Kyaddaaki, tujja kusobola okulabirira ensi mu ngeri gye yalina okulabirirwamu. Ensi erina obusobozi bw’okwezza obuggya. Ennyanja n’emigga ebyonooneddwa biyinza okwezza obuggya singa ekibiviirako okwonoonebwa kiggibwawo; ettaka eryonooneddwa entalo liyinza okwezza obuggya singa entalo zikoma. Nga kijja kuba kya ssanyu okugoberera amateeka agafuga obutonde, tusobole okufuula ensi yonna ekifo ekifaanana obulungi ennyo ng’olusuku Edeni bwe lwali, era ekirimu ebika ebingi ennyo eby’ebimera n’ebisolo! Mu kifo ky’okumala gazikiriza ebisolo n’ebimera, abantu bajja kuba mu mirembe n’ebitonde byonna ebiri ku nsi. N’abaana bajja kuba tebakyatya nsolo nkambwe.—Isaaya 9:6, 7; 11:1-9.

16. Mu Lusuku lwa Katonda, abantu kinnoomu banazzibwa batya obuggya?

16 N’abantu kinnoomu bajja kuzzibwa obuggya. Oluvannyuma lwa Amagedoni, abanaawonawo bajja kulaba okuwonyezebwa okw’ekyamagero mu nsi yonna. Nga bwe yakola ng’ali ku nsi, Yesu ajja kukozesa amaanyi agaamuweebwa Katonda okuwonya abazibe b’amaaso, bakiggala, n’abalema. (Matayo 15:30) Bannamukadde bajja kuddamu okuba n’amaanyi ag’ekivubuka, era nga balamu bulungi. (Yobu 33:25) Tebajja kuba na nkanyanya wadde obukosefu bwonna. Abantu bonna abeesigwa bajja kukiraba nti ekibi n’obutali butuukirivu bigenda biggwaawo mpolampola. Nga tujja kwebaza nnyo Yakuwa Katonda olw’amaanyi ge ag’ekitalo g’akozesa okuzza ebintu obuggya! Kati ka twekkaanye ekintu ekirala ekizzaamu ennyo amaanyi ekinaabaawo mu kiseera ekyo eky’okuzza ebintu obuggya.

Okuzuukiza Abafu

17, 18. (a) Lwaki Yesu yanenya Abasaddukaayo? (b) Mbeera ki eyaleetera Eriya okusaba Yakuwa okuzuukiza omwana wa nnamwandu?

17 Mu kyasa ekyasooka E.E., abakulembeze b’eddiini abaali bayitibwa Abasaddukaayo, baali tebakkiririza mu kuzuukira. Yesu yabanenya ng’agamba nti: “Mwabula, kubanga temumanyi Byawandiikibwa wadde amaanyi ga Katonda.” (Matayo 22:29) Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa alina amaanyi ag’okuzza ebintu obuggya. Mu ngeri ki?

18 Teeberezaamu ekintu kino ekyaliwo mu kiseera kya Eriya. Nnamwandu yali asitudde omwana we eyali afudde. Nnabbi Eriya eyali omugenyi ewa nnamwandu ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo. Emabegako, yali awonyezza omwana oyo okufa enjala. Kirabika Eriya yali ayagala nnyo omwana oyo. Maama w’omwana yali munakuwavu nnyo. Omwana ono ye yekka gwe yalina era yamujjukizanga bbaawe eyafa. Ayinza okuba yali asuubira omwana we okumulabirira ng’akaddiye. Olw’ennaku ennyingi ennyo, nnamwandu yalowooza nti yali abonerezebwa olw’ensobi gye yakola emabega. Eriya yali tayagala nnaku ya nnamwandu kweyongera. Yaggya omulambo ku nnamwandu, n’agutwala mu kisenge kye n’asaba Yakuwa Katonda okuzzaawo obulamu bw’omwana oyo.—1 Bassekabaka 17:8-21.

19, 20. (a) Ibulayimu yalaga atya nti yali akkiririza mu busobozi bwa Yakuwa obw’okuzuukiza omuntu, era okukkiriza okwo yali akwesigamya ku ki? (b) Kiki Yakuwa kye yasobozesa Eriya okukola olw’okuba yalina okukkiriza?

19 Eriya si ye yasooka okukkiririza mu kuzuukira. Emyaka mingi nnyo emabega, Ibulayimu yalina okukkiriza nti Yakuwa alina obusobozi bw’okuzzaawo obulamu bw’omuntu era yalina ensonga ennungi eyamuleetea okulowooza bw’atyo. Ibulayimu bwe yali aweza emyaka 100 nga ne Saala alina emyaka 90, mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yazza buggya amaanyi gaabwe ag’okuzaala, n’asobozesa Saala okuzaala omwana. (Olubereberye 17:17; 21:2, 3) Ng’omwana oyo amaze okukula, Yakuwa yasaba Ibulayimu okumuwaayo nga ssaddaaka. Ibulayimu yalaga okukkiriza, nga mukakafu nti Yakuwa asobola okuzzaawo obulamu bwa Isaaka. (Abebbulaniya 11:17-19) Okukkiriza okw’amaanyi bwe kutyo Ibulayimu kwe yalina kutuyamba okutegeera ensonga lwaki bwe yali tannalinnya lusozi kuwaayo Isaaka, yakakasa abaweereza be nti ye ne Isaaka bandikomyewo.—Olubereberye 22:5.

“Laba, omwana wo mulamu”!

20 Yakuwa yawonyawo obulamu bwa Isaaka, ne kiba nti kyali tekyetaagisa kumuzuukiza mu kiseera ekyo. Kyokka ku bikwata ku Eriya, omwana wa nnamwandu yali amaze okufa, naye teyali wa kusigala mu mbeera eyo kumala bbanga ddene. Olw’okuba Eriya yayoleka okukkiriza, Yakuwa yamusobozesa okuzuukiza omwana oyo! Oluvannyuma Eriya yawa nnamwandu omwana we, era n’amugamba: “Laba, omwana wo mulamu”!—1 Bassekabaka 17:22-24.

21, 22. (a) Okuzuukira okwogerwako mu Byawandiikibwa kwalina kigendererwa ki? (b) Yokaana 5:28,29 walaga ki ku kuzuukira okunaabaawo mu Lusuku lwa Katonda?

21 Bwe kityo nno, ogwo gwe gwali omulundi ogusookera ddala mu Bayibuli, Yakuwa okukozesa amaanyi ge okuzuukiza omuntu. Oluvannyuma, Yakuwa yawa Erisa, Yesu, Pawulo, ne Peetero amaanyi okuzuukiza abantu. Kya lwatu nti abo abaazuukizibwa baddamu ne bafa. Wadde kiri kityo, ebintu ng’ebyo ebyogerwako mu Bayibuli bitulaga ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.

22 Mu Lusuku lwa Katonda, Yesu ajja kuba “kuzuukira n’obulamu.” (Yokaana 11:25) Ajja kuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu, abasobozese okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. (Yokaana 5:28, 29) Teeberezaamu essanyu erinaabaawo ng’ab’emikwano n’ab’eŋŋanda abazuukiziddwa bagwaŋŋana mu bifuba mu ssanyu eppitirivu! Abantu bonna bajja kutendereza Yakuwa olw’obusobozi bwe obw’okuzzawo obulamu bw’abantu.

23. Yakuwa yalaga atya amaanyi ge mu ngeri ey’ekitalo, era ekyo kituwa bukakafu ki ku ssuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso?

23 Yakuwa yatuwa obujulizi obwesigika obulaga nti essuubi eryo kkakafu. Ng’ayoleka amaanyi ge ago mu ngeri ey’ekitalo, Yakuwa yazuukiza Omwana we Yesu, ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi eky’omu ggulu, n’aba nga y’amuddirira mu buyinza. Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, Yesu yalabikira ebikumi n’ebikumi by’abantu. (1 Abakkolinso 15:5, 6) N’abo ababuusabuusa, obujulizi ng’obwo bwandibadde bubamala. Yakuwa alina amaanyi okuzzaawo obulamu.

24. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuzuukiza abafu, era ssuubi ki ffenna lye tusaanidde okutwala nga lya muwendo?

24 Yakuwa talina bubeezi maanyi kuzzaawo bafudde naye era ayagala nnyo okukikola. Yobu, omusajja omwesigwa, yaluŋŋamizibwa okugamba nti Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abafu. (Yobu 14:15) Tokwatibwako okukimanya nti Yakuwa ayagala nnyo okukozesa amaanyi ge mu ngeri ng’eyo ey’okwagala? Kyokka, kijjukire nti okuzuukiza abafu kimu bumu ku ebyo Yakuwa by’ajja okukola ng’azza ebintu obuggya. Nga weeyongera okunyweza enkolagana yo naye, siimanga essuubi ery’ekitalo ly’olina ery’okulaba Yakuwa ng’azza ‘ebintu byonna obuggya.’—Okubikkulirwa 21:5.

a ‘Ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu byonna’ kyatandika Obwakabaka bwa Masiya bwe bwateekebwawo era muzzukulu wa Kabaka Dawudi n’atuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka. Yakuwa yali yasuubiza Dawudi nti muzzukulu we ajja kufuga emirembe gyonna. (Zabbuli 89:35-37) Naye oluvannyuma lwa Babulooni okuzikiriza Yerusaalemi mu 607 E.E.T., tewaaliwo muzzukulu wa Dawudi eyaddamu okutuula ku ntebe y’obwakabaka. Yesu, eyazaalibwa ku nsi mu lunyiriri lwa Dawudi, ye yafuuka Kabaka oyo eyasuubizibwa, bwe yatuuzibwa ku ntebe mu ggulu.

b Ng’ekyokulabirako, Musa, Isaaya, Yeremiya, Ezeekyeri, Koseya, Yoweeri, Amosi, Obadiya, Mikka, ne Zeffaniya bonna baayogera ku nsonga eyo.