Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omutima

Omutima

Bayibuli eraga etya nti omutima ogw’akabonero ky’ekyo kye tuli munda, nga mw’otwalidde ebirowoozo byaffe, ebiruubirirwa byaffe, engeri zaffe, n’enneewulira yaffe?

Zb 49:3; Nge 16:9; Luk 5:22; Bik 2:26

Laba ne Ma 15:7; Zb 19:8

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 9:​46-48​—Yesu awabula abatume be bw’akiraba nti mu mitima gyabwe beeyagaliza ebitiibwa

Lwaki kikulu okukuuma omutima gwaffe?

1By 28:9; Nge 4:23; Yer 17:9

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 6:​5-7​—Ebintu ebibi ebiri mu mitima gy’abantu biviirako ensi okujjula ebikolwa eby’obukambwe era ekyo kiviirako Katonda okuleeta Amataba

    • 1Sk 11:​1-10​—Kabaka Sulemaani alemererwa okukuuma omutima gwe n’awasa abakazi abagwira abasendasenda omutima gwe n’ava ku Yakuwa

    • Mak 7:​18-23​—Yesu agamba nti omutima y’ensibuko y’ebyo byonna ebisobola okufuula omuntu atali mulongoofu mu maaso ga Katonda

Tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe?

Zb 19:14; Nge 3:​3-6; Luk 21:34; Baf 4:8

Laba ne Ezr 7:​8-10; Zb 119:11

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bef 6:​14-18; 1Se 5:8​—Bw’aba ayogera ku by’okulwanyisa eby’omwoyo, omutume Pawulo agamba nti obutuukirivu, okukkiriza, n’okwagala bisobola okukuuma omutima ogw’akabonero ng’eky’omukifuba bwe kikuuma omutima ogwa ddala

Tuyinza tutya okumanya obanga omutima gwaffe ogw’akabonero gulina ekizibu?

Nge 21:​2-4; Beb 3:12

Laba ne Nge 6:​12-14

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 25:​1, 2, 17-27​—Okumala ekiseera, Kabaka Amaziya akola ebirungi mu maaso ga Katonda naye tabikola na mutima gwe gwonna; oluvannyuma afuna amalala era ajeemera Yakuwa n’afuna ebizibu bingi

    • Mat 7:​17-20​—Yesu agamba nti ng’omuti omubi bwe gussaako ebibala ebibi, n’omutima gw’omuntu omubi gumuviirako okukola ebintu ebibi

Lwaki tusaanidde okufuba okulaba nti omutima gwaffe guba mulungi, era ekyo tuyinza kukikola tutya?

Nge 10:8; 15:28; Luk 6:45

Laba ne Zb 119:​97, 104; Bar 12:​9-16; 1Ti 1:5

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sk 20:​1-6​—Bw’alwala obulwadde obw’amaanyi, Kabaka Keezeekiya yeegayirira Yakuwa amusaasire olw’okuba amuweerezza n’omutima gwe gwonna

    • Mat 21:​28-32​—Yesu akozesa ekyokulabirako okulaga nti embeera y’omutima gw’omuntu yeeyolekera mu ebyo by’akola okusinga mu ebyo by’ayogera

Lwaki kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa akebera emitima gyaffe?

1By 28:9; Yer 17:10

Laba ne 1Sa 2:3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 16:​1-13​—Nnabbi Samwiri akitegeera nti Yakuwa tatwalirizibwa ndabika ya kungulu; atunuulira ekyo omuntu ky’ali mu mutima

    • 2By 6:​28-31​—Essaala Kabaka Sulemaani gy’asaba ng’awaayo yeekaalu eraga nti Yakuwa amanyi bulungi ebiri mu mutima gwaffe era ebyo by’asinziirako okutulaga obusaasizi