Okusonyiwa
Yakuwa mwetegefu okusonyiwa?
Laba ne 2Pe 3:9
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Zb 78:40, 41; 106:36-46—Yakuwa asonyiwa abantu be enfunda n’enfunda, wadde ng’ebintu ebibi bye bakola bimuleetera obulumi
-
Luk 15:11-32—Yesu akiraga nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa ng’agera olugero olukwata ku taata omusaasizi eyasonyiwa mutabani we eyakola ebintu ebibi naye oluvannyuma ne yeenenya
-
Yakuwa asinziira ku ki okusonyiwa omuntu ebibi?
Yok 1:29; Bef 1:7; 1Yo 2:1, 2
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Beb 9:22-28—Omutume Pawulo akiraga nti Yakuwa asinziira ku ssaddaaka ya Yesu okusonyiwa abantu ebibi
-
Kub 7:9, 10, 14, 15—Mu kwolesebwa, omutume Yokaana alaba ‘ab’ekibiina ekinene’ abalina enkolagana ennungi ne Katonda olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu
-
Bwe tuba twagala Yakuwa atusonyiwe, kiki kye tusaanidde okukola ng’abalala bakoze ebintu ebitulumya?
Mat 6:14, 15; Mak 11:25; Luk 17:3, 4; Yak 2:13
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yob 42:7-10—Nga Yakuwa tannaggyawo bizibu Yobu by’alina n’okuddamu okumuwa eby’obugagga, amugamba asooke kusabira banne abasatu abamwogeddeko obubi
-
Mat 18:21-35—Yesu akyoleka bulungi nti kikulu nnyo okusonyiwa abalala bwe tuba nga naffe twagala okusonyiyibwa
-
Okwatula ebibi n’okwenenya bikulu kwenkana wa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Zb 32:1-5; 51:1, 2, 16, 17—Kabaka Dawudi awulira obulumi bungi olw’ebibi eby’amaanyi bye yakola era yeenenya
-
Yak 5:14-16—Yakobo agamba nti bwe tukola ekibi eky’amaanyi tusaanidde okutegeeza abakadde
-
Nkyukakyuka ki ze tusaanidde okukola bwe tuba nga twagala Yakuwa okutusonyiwa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sk 21:27-29; 2By 18:18-22, 33, 34; 19:1, 2—Kabaka Akabu yeetoowaza bw’akitegeera nti Yakuwa agenda kumubonereza; naye teyeenenya mu bwesimbu, n’olw’ekyo Yakuwa tamusonyiwa
-
2By 33:1-16—Kabaka Manase akola ebintu ebibi ennyo; naye bwe yeenenya, Yakuwa amusonyiwa. Manase akiraga nti akyukidde ddala ng’asaanyaawo okusinza ebifaananyi era ng’akubiriza abantu okusinza Yakuwa
-
Abonoonyi abeenenya Yakuwa abasonyiwa kwenkana wa?
Zb 103:10-14; Is 1:18; 38:17; Yer 31:34; Mi 7:19
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Sa 12:13; 24:1; 1Sk 9:4, 5—Wadde nga Kabaka Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, Yakuwa amusonyiwa era oluvannyuma amwogerako ng’omusajja omwesigwa
-
Yesu yakoppa atya Kitaawe bwe kituuka ku kusonyiwa abalala?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 26:36, 40, 41—Mikwano gya Yesu ab’oku lusegere beebaka mu kiseera w’asingira okubeetaagira ennyo; Yesu akiraba nti wadde nga bandyagadde okumuzzaamu amaanyi, bakoowu nnyo
-
Mat 26:69-75; Luk 24:33, 34; Bik 2:37-41—Peetero yeegaana Yesu emirundi esatu, naye bwe yeenenya Yesu amusonyiwa; oluvannyuma Yesu bw’azuukira amulabikira era n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kibiina
-
Tumanyira ku ki nti okusonyiwa kwa Yakuwa kuliko ekkomo?
Mat 12:31; Beb 10:26, 27; 1Yo 5:16, 17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 23:29-33—Yesu agamba abawandiisi n’Abafalisaayo nti boolekedde okusalirwa omusango gwa Ggeyeena, oba okuzikirizibwa
-
Yok 17:12; Mak 14:21—Yesu ayita Yuda Isukalyoti “omwana w’okuzikirira” era agamba nti kyandisinzeeko singa kalinkwe oyo teyazaalibwa
-
Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okuba abeetegefu okusonyiwa?