Obuwulize
Obuwulize bukulu kwenkana wa?
Kuv 19:5; Ma 10:12, 13; Mub 12:13; Yak 1:22
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 15:17-23—Nnabbi Samwiri anenya Kabaka Sawulo olw’okujeemera Yakuwa; Samwiri alaga nti kikulu nnyo okuba abawulize
-
Beb 5:7-10—Wadde nga Yesu yali atuukiride, bwe yali ku nsi yayiga obuwulize olw’ebintu bye yayitamu ng’abonaabona
-
Omukristaayo asaanidde kukola ki singa ab’obuyinza bamugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Dan 3:13-18—Abebbulaniya abasatu bagaana okuvunnamira ekifaananyi Kabaka Nebukadduneeza ky’ataddewo, wadde ng’ekyo kiyinza okubaviirako okuttibwa
-
Mat 22:15-22—Yesu agamba nti abagoberezi be balina okugondera ab’obuyinza okuggyako ng’ab’obuyinza babagambye okukola ekintu ekimenya amateeka ga Katonda
-
Bik 4:18-31—Abatume beeyongera okubuulira wadde ng’ab’obuyinza babalagidde okulekera awo okubuulira
-
Kiki kye tulina okukola okusobola okusigala nga tuli bawulize eri Yakuwa?
Ma 6:1-5; Zb 112:1; 1Yo 5:2, 3
Laba ne Zb 119:11, 112; Bar 6:17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Ezr 7:7-10—Ezera kabona omwesigwa ateekateeka omutima gwe asobole okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera Amateeka ga Katonda n’okugayigiriza abalala
-
Yok 14:31—Yesu alaga ensonga lwaki akola ebyo Kitaawe bye yamulagira
-
Kiki ekyandituleetedde okugondera Yakuwa ne Yesu?
Bwe tuba abawulize kiraga kitya nti tulina okukkiriza?
Bar 1:5; 10:16, 17; Yak 2:20-23
Laba ne Ma 9:23
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 6:9-22; Beb 11:7—Nuuwa ayoleka okukkiriza ng’azimba eryato nga Yakuwa bw’amulagidde; ‘akolera ddala bw’atyo’
-
Beb 11:8, 9, 17—Ibulayimu ayoleka okukkiriza ng’ava mu Uli nga Yakuwa bw’amulagidde, era ng’akkiriza okuwaayo omwana we nga ssaddaaka
-
Kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamugondera?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lev 26:3-6—Yakuwa asuubiza okuwa emikisa n’okulabirira abo abamugondera
-
Kbl 13:30, 31; 14:22-24—Olw’okuba Kalebu muwulize, Yakuwa amuwa emikisa
-
Biki ebivaamu bwe tutaba bawulize?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 2:16, 17; 3:17-19—Olw’okuba Adamu ne Kaawa bajeemedde Yakuwa Katonda, bagobebwa mu Lusuku Edeni, bafuuka abatatuukiridde, era bafiirwa obulamu obutaggwaawo
-
Ma 18:18, 19; Bik 3:12, 18, 22, 23—Yakuwa agamba nti wajja kujjawo Nnabbi asinga Musa era nti abo abanaamujeemera bajja kubonerezebwa
-
Yud 6, 7—Bamalayika abajeemu n’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola basunguwaza Yakuwa olw’obujeemu bwabwe
-
Lwaki tusaanidde okugondera Yesu Kristo?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yok 12:46-48; 14:24—Yesu akiraga nti bwe tutawuliriza by’agamba tujja kusalirwa omusango
-
Lwaki Abakristaayo bagondera abalabirizi mu kibiina?
Lwaki omukyala Omukristaayo asaanidde okugondera omwami we?
Lwaki abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 37:3, 4, 8, 11-13, 18—Yusufu agondera kitaawe we era agenda okulaba baganda be wadde nga tebamwagala
-
Luk 2:51—Wadde nga Yesu atuukiridde, agondera bazadde be, Yusufu ne Maliyamu, abatatuukiridde
-
Lwaki kya magezi okugondera bakama baffe ne bwe waba nga tewaaliwo atulaba?
Lwaki Abakristaayo bagondera gavumenti?