Amagezi
Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna amagezi aga nnamaddala?
Wa we tusobola okuggya amagezi aga nnamaddala?
Katonda ayagala tumusabe okutuwa amagezi?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 1:8-12—Kabaka Sulemaani akyali omuto asaba Yakuwa okumuwa amagezi asobole okufuga obulungi abantu ba Isirayiri, era Yakuwa amuwa ky’asabye
-
Nge 2:1-5—Amagezi, okumanya, n’okutegeera bigeraageranyizibwa ku by’obugagga ebyakwekebwa, era bwe tubinoonya Yakuwa atuyamba okubizuula
-
Yakuwa atuwa atya amagezi era ayitira mu ani?
Is 11:2; 1Ko 1:24, 30; 2:13; Bef 1:17; Bak 2:2, 3
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Nge 8:1-3, 22-31—Amagezi googerwako ng’omuntu, era ebyo ebigoogerwako bikwata ku Mwana wa Katonda, omubereberye w’ebitonde byonna
-
Mat 13:51-54—Bangi ku abo abawuliriza Yesu, beewuunya wa omuntu akuze nga balaba gye yaggya amagezi amangi ennyo
-
Tumanyira ku ki nti omuntu alina amagezi agava eri Katonda?
Amagezi gatuyamba gatya era gatukuuma gatya?
Nge 2:10-13; 3:21-23; 4:5-7
Laba ne Nge 7:2-5; Mub 7:12
Lwaki amagezi agava eri Katonda ga muganyulo nnyo?
Laba ne Yob 28:18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yob 28:12, 15-19—Wadde nga Yobu ali mu bulumi bungi nnyo, era afiiriddwa abaana be n’ebintu bye byonna, asiima nnyo amagezi ga Katonda
-
Zb 19:7-9—Kabaka Dawudi agamba nti amateeka ga Yakuwa n’ebyo by’atujjukiza bisobola okugeziwaza oyo atalina bumanyirivu
-
Lwaki kya kabi okukolera ku magezi g’abantu b’ensi abatayagala Yakuwa?