EKITUNDU 2
Oyinza Otya Okuyiga Amazima Agakwata ku Katonda?
1, 2. Kyakulabirako ki ekiraga obukulu bw’okuba n’ekisinziirwako ekyesigika okusobola okusalawo ensonga ezikwata ku ddiini?
TUYINZA tutya okumanya Katonda? Kitwetaagisa okwekenneenya enjigiriza z’amadiini gonna? Ekyo tekisoboka. Naye, ne bwe twandibadde nga tusobola okukikola, twanditegedde tutya enjigiriza entuufu?
2 Mazima ddala, olw’okuba waliwo endowooza ez’enjawulo ezikwata ku Katonda, twetaaga okufuna kye tuyinza okusinziirako okumanya enzikiriza entuufu, abantu bonna kye bayinza okukkiriza. Okuwaayo ekyokulabirako: Ka tugambe nti waliwo obutakkiriziganya mu katale ku bikwata ku buwanvu bw’olugoye. Omutunzi agamba nti olugoye luwera yaadi ssatu, kyokka ye omuguzi agamba nti teruwera. Ensonga eyo eyinza etya okugonjoolebwa? Nga bakozesa olukoba olupima.
3. Lwaki Baibuli yawandiikibwa?
3 Waliwo kye tuyinza okusinziirako ekyesigika okusobola okusalawo ensonga ezikwata ku ddiini? Yee. Ye Baibuli. Katonda yawandiisa Baibuli abantu bonna basobole okutegeera amazima agamukwatako. Obuwumbi n’obuwumbi bwa Baibuli zikubiddwa. Baibuli evvuunuddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu, mu nnimi ezisukka mu 2,100. Kumpi buli muntu asobola okusoma amazima agakwata ku Katonda mu lulimi lwe.
4. Bubaka ki obuli mu Baibuli?
4 Baibuli kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Katonda. Etunnyonnyola ebintu
bye tutanditegedde. Etutegeeza abo abali mu ttwale ery’emyoyo, etulaga endowooza ya Katonda, engeri ze, n’ebigendererwa bye. Era etutegeeza engeri gye yakolaganamu n’abantu abaaliwo enkumi n’enkumi z’emyaka egiyise. Eyogera ku bintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, era n’etulaga n’engeri gye tuyinza okuzuulamu ekkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.Ensonga Lwaki Osobola Okwesiga Baibuli
5. Kyakulabirako ki ekiraga nti Baibuli ekkiriziganya ne sayansi?
5 Waliwo ensonga nnyingi lwaki tusobola okukkiriza nti ddala Baibuli Kigambo kya Katonda. Ensonga emu eri nti Baibuli ekkiriziganya ne sayansi. Mu biseera eby’edda, abantu mu nsi yonna baali balowooza nti ensi yali erina ekigiwaniridde. Ng’ekyokulabirako, mu Afirika ow’Ebugwanjuba, abantu baali balowooza nti ensi ewaniriddwa omusota ogwezinze. Kyokka, nga kikkiriziganya ne sayansi, omuwandiisi wa Baibuli yawandiika emyaka egisukka mu 3,500 egiyise nti Katonda “awanika ensi awatali kintu.”—Yobu 26:7.
6. Bukakafu ki obusingirayo ddala obulaga nti Baibuli yava eri Katonda?
6 Obukakafu obusingirayo ddala obulaga nti ddala Baibuli yava eri Katonda, bwe butuufu bwayo mu kulagula ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Okwawukana ku ebyo abantu bye balagula, Katonda amanyi bulungi eby’omu biseera eby’omu maaso; buli ky’agamba kituukirira.
7. Bunnabbi ki obumu obwa Baibuli obwatuukirizibwa mu biseera ebyayita?
7 Ebikumi n’ebikumi by’obunnabbi bwa Baibuli bwatuukirizibwa mu biseera eby’edda. Ng’ekyokulabirako, ng’ebulayo emyaka 700, Baibuli yagamba nti Yesu yali wa kuzaalibwa mu kibuga ky’e Besirekemu, era ekyo kyennyini kye kyabaawo. (Mikka 5:2; Matayo 2:3-9) Era okwongereza ku bunnabbi obulala bungi obukwata ku Yesu, Baibuli yalagula nti yandizaaliddwa omuwala embeerera, era nti oluvannyuma bandimuliddemu olukwe n’ebitundu 30 ebya ffeeza. Obunnabbi obwo nabwo bwatuukirira. Mazima ddala, tewali muntu n’omu eyandisobodde okulagula ebintu ebyo ne bituukirira!—Isaaya 7:14; Zekkaliya 11:12, 13; Matayo 1:22, 23; 27:3-5.
8. Bunnabbi ki obumu obw’omu Baibuli obutuukirizibwa leero, era bukakasa ki?
8 Obunnabbi bungi obw’omu Baibuli butuukirizibwa mu kiseera kyaffe. Buno wammanga bwe bumu ku bwo:
-
“Eggwanga lirirumba eggwanga [mu ntalo], n’obwakabaka bulirumba obwakabaka; walibaawo n’ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli.”—Lukka 21:10, 11.
-
“Obujeemu buliyinga obungi.”—Matayo 24:12.
-
“Mu nnaku ez’oluvannyuma . . . abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, . . . abatagondera bazadde baabwe, . . . abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, . . . abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda.”— 2 Timoseewo 3:1-5.
Tokikkiriza nti ebintu ebyo weebiri leero? Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kulaga nti Baibuli kitabo kya njawulo nnyo. Kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa!—2 Timoseewo 3:16.
Baibuli Ekyusiddwa?
9, 10. Kiki ekiraga nti Katonda takkirizza bantu kukyusa Baibuli?
9 Ka tugambe nti ggwe nnannyini kkolero era nga wateekawo olukalala lw’amateeka abakozi bo ge balina okugoberera. Singa omulabe akyusa bye wawandiika, wandikoze ki? Wandibadde totereeza ekyo ekikyusiddwa? Mu ngeri y’emu, Katonda takkiriza bantu kukyusa mazima g’Ekigambo kye, Baibuli.
10 Abo abagezezzaako okukyusa enjigiriza eziri mu Kigambo kya Katonda tebatuuse ku buwanguzi. Bwe tugeraageranya Baibuli gye tulina leero n’eyo ey’edda ennyo, zifaanagana. Ekyo kiraga nti wadde nga wayiseewo emyaka mingi, Baibuli tekyusiddwa.