Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?

Waliwo eddiini za bika bibiri: emu esobozesa abantu okufuna obulamu ate endala ebatwala mu kuzikirira. Akatabo kano kakuyamba okuzuula ekkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.

Ennyanjula

Obulamu bwaffe kati, ne mu biseera eby’omu maaso, bwesigamye ku Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. N’olwekyo kikulu nnyo okusinza kwaffe okuba nga kukkirizibwa gy’ali!

EKITUNDU 1

Amadiini Gonna Gayigiriza Bituufu?

Amadiini gaawukana mu nzikiriza. Bye gayigiriza byonna bituufu?

EKITUNDU 2

Oyinza Otya Okuyiga Amazima Agakwata ku Katonda?

Waliwo ekiyinza okusinziirwako okusobola okumanya ekituufu mu ddiini?

EKITUNDU 3

Baani Abali mu Ttwale ery’Emyoyo?

Enzikiriza ez’obuwangwa ezikwata ku myoyo nkulu nnyo mu ddiini z’omu Afirika. Naye enzikiriza ezo ntuufu? Bayibuli ewa eky’okuddamu.

EKITUNDU 4

Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa?

Abantu bangi bakkiriza nti okufa si ye nkomerero y’obulamu, wabula nti liba kkubo eritutuusa mu bulamu obulala. Bayibuli ekyo ekyogerako ki?

EKITUNDU 5

Amazima Agakwata ku Busamize n’Obulogo

Emyoyo emibi gya maanyi era gya bulabe, naye galiko ekkomo.

EKITUNDU 6

Amadiini Gonna Gasiimibwa Katonda?

Abantu abamu balowooza nti amadiini gonna gasanyusa Katonda. Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?

EKITUNDU 7

Baani Abali mu Ddiini ey’Amazima?

Bayibuli esobola okukuyamba okumanya abakola Katonda by’ayagala.

EKITUNDU 8

Weesambe Eddiini ez’Obulimba; Beera mu Ddiini ey’Amazima

Yesu yagamba nti: “Oyo ataba ku ludda lwange aba mulabe wange.” Oyinza otya okulaga oludda lw’oliko?

EKITUNDU 9

Eddiini ey’Amazima Eyinza Okukuganyula Emirembe Gyonna!

Bw’osinza Yakuwa, ajja kukuwa emikisa kati ne mu biseera eby’omu maaso.