Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 7

Ennyanjula yʼEkitundu 7

Ekitundu kino kyogera ku bulamu bwa Kabaka Sawulo ne Kabaka Dawudi, era bye kyogerako byaliwo mu bbanga lya myaka nga 80. Mu kusooka Sawulo yali mwetoowaze era ng’atya Katonda, naye oluvannyuma yakyuka n’alekera awo okugondera Yakuwa. Yakuwa yasalawo okumuggyako obwakabaka era n’alagira Samwiri okufuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri anaddako. Olw’obuggya bwe yalina, emirundi mingi Sawulo yagezaako okutta Dawudi, naye Dawudi teyawoolera ggwanga. Yonasaani mutabani wa Sawulo yali akimanyi nti Yakuwa yali alonze Dawudi, bwe kityo yawagira Dawudi. Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, naye yakkiriza okukangavvula Yakuwa kwe yamuwa. Bw’oba ng’oli muzadde, yamba omwana wo okulaba ensonga lwaki bulijjo kikulu okuwagira enteekateeka za Katonda.

MU KITUNDU KINO

Kabaka wa Isirayiri Eyasooka

Katonda yali ateddewo abalamuzi okukulembera Abayisirayiri naye bo ne basaba kabaka. Samwiri yafuka amafuta ku Sawulo, Sawulo n’afuuka kabaka wa Isirayiri eyasooka, naye oluvannyuma Yakuwa yagaana Sawulo. Lwaki?

Dawudi ne Goliyaasi

Yakuwa yalonda Dawudi okuba kabaka wa Israyiri eyandizzeeko, Dawudi naye yakiraga nti yandibadde kabaka mulungi.

Dawudi ne Sawulo

Lwaki Sawulo yakyawa Dawudi, era Dawudi yeeyisa atya mu mbeera eno?

Yonasaani Yali Muvumu era nga Mwesigwa

Mutabani wa kabaka yafuuka mukwano gwa Dawudi.

Kabaka Dawudi Akola Ekibi eky’Amaanyi

Okusalawo obubi kwavaamu ebizibu bingi.