Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 89

Peetero Yeegaana Yesu

Peetero Yeegaana Yesu

Yesu bwe yali n’abatume be mu kisenge ekya waggulu, yabagamba nti: ‘Ekiro kya leero, mmwenna mujja kunjabulira.’ Peetero yamuddamu nti: ‘Wadde abalala bonna banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.’ Naye Yesu yagamba Peetero nti: ‘Enkoko bw’eneeba tennakookolima, ojja kunneegaana emirundi esatu.’

Abasirikale bwe baatwala Yesu ewa Kayaafa, abasinga obungi ku batume be badduka. Kyokka babiri ku batume be baamugoberera nga bali mu kibinja ky’abantu. Omu ku bo yali Peetero. Peetero bwe yatuuka mu luggya lwa Kayaafa, yagenda n’ayota omuliro. Omuwala omuweereza bwe yalaba Peetero, yamugamba nti: ‘Nkumanyi! Wabadde ne Yesu!’

Peetero yamuddamu nti: “Ky’oyogerako sikimanyi!” Peetero yavaawo n’agenda ku mulyango. Naye waayita akaseera katono ne wabaawo omuwala omuweereza omulala eyamulaba n’agamba abantu nti: “Omusajja ono yabadde ne Yesu!” Peetero yagamba nti: ‘Yesu gw’oyogerako simumanyi!’ Ate era waaliwo omusajja eyagamba Peetero nti: ‘Naawe oli omu ku bo! kubanga enjogera yo ekiraga nti oli Mugaliraaya, nga Yesu.’ Naye Peetero yalayira nti: ‘Yesu simumanyi!’

Mu kiseera ekyo, enkoko yakookolima. Yesu yakyuka n’atunuulira Peetero. Peetero yajjukira ebigambo Yesu bye yamugamba era n’afuluma wabweru n’akaaba nnyo.

Olukiiko Olukulu lwatuula ne bawozesa Yesu mu nnyumba ya Kayaafa. Abaali ku lukiiko olwo baali bamaze okusalawo nti bagenda kutta Yesu naye nga banoonya ensonga kwe banaasinziira okumutta. Kyokka baalemererwa okuzifuna. Oluvannyuma Kayaafa yabuuza Yesu nti: ‘Oli Mwana wa Katonda?’ Yesu yamuddamu nti: ‘Yee, ndi Mwana wa Katonda.’ Kayaafa yagamba nti: ‘Tetwetaaga bujulizi bulala bwonna. Ono muvvoozi!’ Ab’olukiiko olwo bonna baasalawo nti Yesu attibwe. Baakuba Yesu empi, baamuwandulira amalusu, era baamusiba ku maaso ne bamukuba ng’eno bwe bagamba nti: ‘Bw’oba oli nnabbi tubuulire akukubye!’

Obudde bwe bwakya, baatwala Yesu mu kisenge Olukiiko Olukulu mwe lwali lutuula ne baddamu okumubuuza nti: ‘Oli Mwana wa Katonda?’ Yesu yabaddamu nti: “Mmwe mmwenyini mukyogedde.” Baagamba nti Yesu yali avvodde era ne bamutwala mu lubiri lwa Pontiyo Piraato, gavana wa Rooma. Kiki ekyaddirira? Tugenda kukiraba.

“Ekiseera . . . kituuse musaasaane buli omu adde ewuwe mundeke nzekka. Naye siri nzekka, kubanga Kitange ali nange.”​—Yokaana 16:32