ESSOMO 67
Bbugwe wa Yerusaalemi
Kati ka tuddeyo emyaka mitono emabega. Waaliwo omusajja Omuyisirayiri ayitibwa Nekkemiya eyali omuweereza wa Kabaka Alutagizerugiizi. Nekkemiya yali abeera mu kibuga kya Buperusi ekiyitibwa Susani. Muganda wa Nekkemiya yamuleetera amawulire amabi okuva mu Yuda n’amugamba nti: ‘Abantu abaddayo e Yerusaalemi bali mu mbeera mbi. Bbugwe wa Yerusaalemi Abababulooni gwe baamenya taddangamu kuzimbibwa.’ Ekyo kyanakuwaza nnyo Nekkemiya. Nekkemiya yayagala okugenda okuyamba Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi, era bw’atyo yasaba Yakuwa amuyambe, kabaka amukkirize okugenda.
Kabaka yakiraba nti Nekkemiya yali munakuwavu. Yamugamba nti: ‘Sikulabangako ng’onakuwadde bw’otyo. Obadde ki?’ Nekkemiya yamuddamu nti: ‘Lwaki sinakuwala ng’ekibuga kyaffe Yerusaalemi kiri matongo?’ Kabaka yamubuuza nti: ‘Kiki ky’oyagala nkukolere?’ Amangu ago, Nekkemiya yasaba Yakuwa mu kasirise. Oluvannyuma yagamba kabaka nti: ‘Nkusaba onzikirize ŋŋende e Yerusaalemi nzimbe bbugwe waakyo.’ Kabaka Alutagizerugiizi yakkiriza Nekkemiya okugenda era n’akakasa nti ajja kutuuka mirembe. Okugatta ku ekyo, yafuula Nekkemiya gavana wa Yuda era n’amuwa emiti egy’okukozesa okukola enzigi z’ekibuga.
Nekkemiya bwe yatuuka mu Yerusaalemi, yalambula bbugwe w’ekibuga. Oluvannyuma yakuŋŋaanya bakabona n’abaami b’ekibuga n’abagamba nti: ‘Ekibuga kiri mu mbeera mbi nnyo. Tusitukiremu tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi.’ Abantu bakkiriza okukola kye yabagamba, ne batandika okuzimba bbugwe.
Naye abamu ku balabe b’Abayisirayiri baatandika okubasekerera n’okubajerega nga bagamba nti: ‘Bbugwe gwe bazimba n’ekibe kisobola okumusuula.’ Wadde kyali kityo, Abayisirayiri beeyongera okuzimba bbugwe.
Abalabe b’Abayudaaya baakola olukwe okulumba Yerusaalemi nga bava mu njuyi zonna. Abayudaaya bwe baawulira ku lukwe olwo, baatya nnyo. Naye Nekkemiya yabagamba nti: ‘Temutya. Yakuwa ali naffe.’ Nekkemiya era yateekawo abakuumi okukuuma abazimbi, ekyo ne kiremesa abalabe okubalumba.
Mu nnaku 52 zokka, bbugwe wa Yerusaalemi yali amaze okuzimbibwa. Nekkemiya yaleeta Abaleevi bonna mu Yerusaalemi okusobola okutongoza bbugwe oyo. Yabaawulamu ebibinja bibiri eby’abayimbi. Baagenda ne bayita ku madaala agaali okumpi n’Omulyango gw’Oluzzi, abamu ne batambula nga badda ku ludda olumu ate abalala ne batambula nga badda ku ludda olulala. Baayimbira Yakuwa nga bakuba ebitaasa, n’ebivuga eby’enkoba, n’entongooli. Ezera yagenda n’ekibinja ky’abayimbi ekimu ate Nekkemiya n’agenda n’ekibinja ekirala, ne basisinkanira ku yeekaalu. Abantu bonna, omwali abasajja, abakazi, n’abaana, baawaayo ebiweebwayo eri Yakuwa era ne bajaganya. Amaloboozi gaabwe gaawulirwa wala nnyo.
“Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa.”—Isaaya 54:17