Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 10

Ennyanjula yʼEkitundu 10

Yakuwa ye Kabaka ow’oku ntikko. Okuva edda n’edda azze ayoleka obuyinza bwe era ajja kweyongera okubwoleka. Ng’ekyokulabirako, yanunula Yeremiya mu kinnya kye yali asuuliddwamu. Yawonya Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego okuva mu muliro, era yakuuma Danyeri n’ataliibwa mpologoma. Yakuwa yakuuma Eseza era n’amukozesa okuwonyaawo eggwanga ly’Abayisirayiri. Yakuwa tajja kuleka bintu bibi kweyongera kubaawo mirembe na mirembe. Obunnabbi obukwata ku kifaananyi ekinene n’omuti omunene bulaga nti mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bwa Yakuwa bujja kumalawo ebintu ebibi byonna era bufuge ensi yonna.

MU KITUNDU KINO

Yakuwa Atuma Yeremiya Okubuulira

Ebyo Yeremiya bye yayogera byanyiiza nnyo abakadde.

Yerusaalemi Kizikirizibwa

Abantu b’omu Yuda beeyongera okusinza bakatonda ab’obulimba, bwe kityo Yakuwa tabanunula.

Abalenzi Bana Abaagondera Yakuwa

Abalenzi bana abaggibwa mu Yuda bamalirivu okusigala nga beesigwa eri Yakuwa, wadde nga bali mu lubiri e Babulooni.

Obwakabaka Obulibeerawo Emirembe n’Emirembe

Danyeri annyonnyola amakulu g’ekirooto kya Nebukadduneeza.

Tebaavunnamira Kifaananyi

Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagaana okuvvunnamira ekifaananyi kya Kabaka ekya zzaabu.

Obwakabaka Obulinga Omuti Omunene

Ekirooto Nebukadduneeza kye yaloota kyali kikwata ku biseera bye eby’omu maaso.

Ebigambo Biwandiikibwa ku Kisenge

Ebigambo ebyewuunyisa byalabika ddi ku kisenge, era byalina makulu ki?

Danyeri Asuulibwa mu Kinnya ky’Empologoma

Sabanga Yakuwa buli lunaku nga Danyeri bwe yakolanga!

Eseza Ayamba Abantu Be Okuwonawo

Wadde nga yali mugwira era nga bazadde be bombi baafa, Eseza yafuuka nnaabakyala.

Ezera Yayigiriza Abantu Amateeka ga Katonda

Abayisirayiri baawuliriza Ezera era ne beeyama eri Katonda.

Bbugwe wa Yerusaalemi

Nekkemiya yakimanya nti abalabe baali bateekateeka okubalumba. Lwaki teyatya?