Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 14

Lwaki Katonda Alina Ekibiina ky’Abaweereza Be ku Nsi?

Lwaki Katonda Alina Ekibiina ky’Abaweereza Be ku Nsi?

1. Lwaki Katonda yalonda Abayisirayiri ab’edda okuba abantu be?

Katonda yalonda bazzukulu ba Ibulayimu n’abafuula eggwanga lye era n’abawa amateeka. Eggwanga eryo yaliyita ‘Isirayiri.’ Lye lyokka lye yawa obulagirizi ku ngeri entuufu gy’alina okusinzibwamu era lye yawa ekigambo kye. (Zabbuli 147:19, 20) N’olwekyo abantu ab’amawanga gonna baali basobola okufuna emikisa okuyitira mu Isirayiri.​—Soma Olubereberye 22:18.

Katonda yalonda Abayisirayiri okuba Abajulirwa be. Ebyafaayo byabwe biraga nti abantu baganyulwa nnyo bwe bagondera amateeka ga Katonda. (Ekyamateeka 4:6) Bwe kityo, okuyitira mu ggwanga lya Isirayiri abantu ab’amawanga amalala baali basobola okumanya Katonda ow’amazima.​—Soma Isaaya 43:10, 12.

2. Lwaki Katonda ayagala abaweereza be babe bumu?

Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’alekera awo okukolagana n’eggwanga lya Isirayiri era n’atandika okukolagana n’ekibiina Ekikristaayo. (Matayo 21:43; 23:37, 38) Kaakano Abakristaayo ab’amazima be Bajulirwa ba Yakuwa, so si eggwanga lya Isirayiri.​—Soma Ebikolwa 15:14, 17.

Yesu yateekateeka abagoberezi be okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna. (Matayo 10:7, 11; 24:14; 28:19, 20) Kaakano omulimu guno gunaatera okumalirizibwa mu kiseera kino eky’enkomerero. Yakuwa ayambye obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna okubeera mu kusinza okw’amazima era nga kino tekibangawo mu byafaayo by’omuntu. (Okubikkulirwa 7:9, 10) Abakristaayo ab’amazima bali mu kibiina ekiri obumu. Bayambagana era bazziŋŋanamu amaanyi. Mu nkuŋŋaana zaabwe okwetooloola ensi yonna bayigirizibwa ebintu bye bimu okuva mu Bayibuli.​—Soma Abebbulaniya 10:24, 25.

3. Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kyaffe baatandika batya?

Ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino kyatandika mu myaka gya 1870. Waaliwo abayizi ba Bayibuli abaatandika okuzuula amazima g’omu Bayibuli agaali gakwekeddwa. Baali bakimanyi nti Yesu yalagira ekibiina Ekikristaayo okubuulira, bwe kityo baatandika kaweefube ow’okubuulira amawulire g’Obwakabaka mu nsi yonna. Mu 1931 baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.​—Soma Ebikolwa 1:8; 2:1, 4; 5:42.

4. Ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa kifuna kitya obulagirizi?

Mu kyasa ekyasooka Abakristaayo abaali mu nsi ez’enjawulo baafunanga obulagirizi okuva eri akakiiko akafuzi akaali katwala Yesu okuba Omutwe gw’ekibiina. (Ebikolwa 16:4, 5) Ne mu kiseera kino, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bafuna obulagirizi okuva eri Akakiiko Akafuzi akaliko abakadde abalina obumanyirivu. Akakiiko Akafuzi kalabirira ofiisi z’amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Ofiisi ezo zirabirira omulimu gw’okuvvuunula ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ezisoba mu 600, era ebitabo ebyo bikubibwa ne biweebwa abantu. Akakiiko Akafuzi kawa obulagirizi ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisoba mu 100,000 mu nsi yonna. Mu buli kibiina abasajja abalina ebisaanyizo ebyetaagisa, baweereza ng’abakadde oba abalabirizi. Abasajja bano balabirira ekisibo kya Katonda.​—Soma 1 Peetero 5:2, 3.

Abajulirwa ba Yakuwa bategekeddwa okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. Okufaananako abatume, tubuulira nnyumba ku nnyumba. (Ebikolwa 20:20) Era tuyigiriza Bayibuli abantu abeesimbu abaagala amazima. Naye Abajulirwa ba Yakuwa si kibiina bubiina. Tuli ba luganda era tulina Kitaffe atwagala, era buli omu afaayo ku munne. (2 Abassessalonika 1:3) Olw’okuba abantu ba Yakuwa bategekeddwa okukola Katonda by’ayagala era n’okuyamba abalala, be bantu abasingayo okuba abasanyufu ku nsi.​—Soma Zabbuli 33:12; Ebikolwa 20:35.