Ennyanjula
Mu biseera bino ebizibu, obufumbo bungi busattulukuse era amaka mangi tegaliimu ssanyu. Ddala amaka gasobola okubaamu essanyu? Yee. Akatabo kano kalimu amagezi amalungi okuva mu Bayibuli agasobola okuyamba abafumbo awamu n’ab’omu maka gaabwe. Bwe munaakolera ku magezi gano mujja kufuna essanyu mu maka gammwe.