Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bakabaka Abavuganya Batuuka mu Kyasa eky’Amakumi Abiri

Bakabaka Abavuganya Batuuka mu Kyasa eky’Amakumi Abiri

Essuula ey’Ekkumi n’Ettaano

Bakabaka Abavuganya Batuuka mu Kyasa eky’Amakumi Abiri

1. Munnabyafaayo omu agamba nti mawanga ki agaasukkuluma ku gannaago mu Bulaaya mu kyasa ekya 19?

MUNNABYAFAAYO Norman Davies yawandiika nti “Bulaaya yatutumuka nnyo mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda olw’amaanyi ge yalina.” Yagattako: “Bulaaya yali ya maanyi nnyo mu kiseera ekyo: mu by’emirimu, mu by’enfuna, mu by’obuwangwa, era ng’eyoleka amaanyi gaayo ku nkalu z’ensi endala zonna.” Davies agamba nti, “amawanga agaasukkuluma ku gannaago mu ‘kyasa ekyo Bulaaya mwe yatutumukira ennyo,’ okusooka yali Bungereza . . . ate mu myaka egyaddako n’eba Bugirimaani.”

GYEKUBIDDE KU KUKOLA BUBI”

2. Ng’ekyasa ekya 19 kinaatera okuggwaako, bufuzi ki obwali “kabaka w’obukiika obwa kkono” era buluwa obwali “kabaka w’obukiika obwa ddyo”?

2 Ng’ekyasa ekya 19 kinaatera okuggwaako, Obwakabaka bwa Bugirimaani bwe bwali “kabaka w’obukiika kkono” ate Bungereza ye yali “kabaka ow’obukiika obwa obwa ddyo.” (Danyeri 11:14, 15) Malayika wa Yakuwa yagamba nti: “Bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba [gyekubidde] ku kukola bubi, era balyogera eby’obulimba nga batudde ku mmeeza emu.” Yagattako: “Naye tebiriraba mukisa: kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa [“ebyagerekebwa,” NW].”—Danyeri 11:27.

3, 4. (a) Ani yafuuka empura eyasooka ow’Obwakabaka bwa Bugirimaani, era mukago ki ogwakolebwa? (b) Nkola ki Empura Wiriyemu gye yatandikawo?

3 Nga Jjanwali 18, 1871, Wiriyemu I yafuuka empura eyasooka ow’Obwakabaka bwa Bugirimaani. Yalonda Otto voni Bisimaaka okubeera katikkiro. Ng’ebirowoozo bye byonna abitadde ku kukulaakulanya obwakabaka bwe obuppya, Bisimaaka yeewala obukuubagano n’amawanga amalala era yatta omukago ne Austria-Hungary era ne Itale, ogwayitibwa Omukago ogw’Amawanga Asatu. Naye ebigendererwa bya kabaka ono omuppya byalwaddaaki ne bikontana n’ebigendererwa bya kabaka ow’ebukiika ddyo.

4 Nga Wiriyemu I ne Frederick III eyamuddira mu bigere, bamaze okufa mu 1888, Wiriyemu II eyalina emyaka 29 egy’obukulu yatuula ku nnamulondo. Wiriyemu II, oba Empura Wiriyemu, yawaliriza Bisimaaka okulekulira era n’atandikawo enkola ey’okugaziya obufuzi bwa Bugirimaani okwetooloola ensi. Munnabyafaayo omu agamba nti “wansi wa Wiriyemu II, [Bugirimaani] yafuuka eggwanga ery’amalala era ekkambwe.”

5. Bakabaka ababiri baatuula batya “ku mmeeza emu,” era baayogera ku ki?

5 Empura Nikolasi II owa Russia bwe yatuuza olukiiko olw’emirembe mu Hague, eky’omu Nazalandi, nga Agusito 24, 1898, waaliwo obweraliikirivu mu mawanga. Olukiiko luno era n’olwo olwaluddirira mu 1907 lwasalawo okuteekawo Kkooti Entawuluzi ey’Enkalakkalira mu Hague. Olw’okwegatta ku kkooti eno, Bugirimaani ne Bungereza zaawa ekifaananyi nti bisemba mirembe. Baatuula “ku mmeeza emu,” ne balabika nga ab’omukwano, naye emitima gyabwe gyali “gyekubidde ku kukola bubi.” ‘Okwogera eby’obulimba nga batudde ku mmeeza emu’ kwali tekuyinza kuvaamu mirembe gya nnamaddala. Ebiruubirirwa byabwe eby’obufuzi, eby’obusuubuzi, n’eby’obujaasi, byali ‘tebiyinza kulaba mukisa’ kubanga enkomerero ya bakabaka abo ‘ya mu biro ebyagerekebwa’ Yakuwa Katonda.

‘ALIKYAWA ENDAGAANO ENTUKUVU’

6, 7. (a) Mu ngeri ki kabaka ow’obukiika kkono gye ‘yaddayo mu nsi ye’? (b) Kabaka w’obukiika ddyo yakolawo ki nga kabaka w’obukiika kkono yeegaziya?

6 Malayika wa Katonda yagattako: “[Kabaka w’obukiika kkono] n’alyoka addayo mu nsi ye n’obugagga obungi: n’omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by’alyagala, n’alyoka addayo mu nsi ye.”—Danyeri 11:28.

7 Empura Wiriyemu yaddayo mu “nsi” oba mu mbeera eya kabaka ow’edda ow’obukiika kkono. Mu ngeri ki? Ng’aluubirira okugaziya Obwakabaka bwa Bugirimaani era n’obuyinza bwabwo. Wiriyemu II yagezaako okufuna amatwale mu Afirika ne mu bifo ebirala. Ng’ayagala okuvuganya n’eggye lya Bungereza ery’oku nnyanja, naye yakola eggye ery’amaanyi ery’oku mazzi. Ekitabo The New Encyclopædia Britannica kigamba nti “eggye lya Bugirimaani ery’oku nnyanja lyatuuka okuba nga lye liddirira erya Bungereza amaanyi mu myaka nga kikumi gyokka.” Okukakasa nti eggye lyayo ery’oku nnyanja lisigala ku ntikko, Bungereza yaligaziya. Ate era Bungereza yakkaanya ne Bufalansa ne Russia ne bakolawo endagaano gye baayita Endagaano ey’Amawanga Asatu. Kati olwo Bulaaya yalimu ebiwayi bibiri ebikontana. Ekimu kyali Omukago ogw’Amawanga Asatu ate ekirala kyali Endagaano ey’Amawanga Asatu.

8. Bugirimaani yatuuka etya okufuna ‘obugagga bungi’?

8 Bugirimaani yalumba amawanga amalala, kino ne kigisobozesa okufuna ‘obugagga bungi’ olw’okuba lye lyali eggwanga erisinga obukulu mu Mukago ogwo ogw’Amawanga Asatu. Austria-Hungary ne Itale gaali mawanga Makatuliki. N’olwekyo, Omukago gwabwe era gwalina obuwagizi bwa ppaapa, songa omukago oguyitibwa Endagaano y’Amawanga Asatu, agataali makatuliki, omwali kabaka w’obukiika ddyo tegwalina buwagizi bwa ppaapa.

9. Kabaka w’obukiika kkono ‘yakyawa atya endagaano entukuvu’ mu mutima gwe?

9 Ate kyali kitya eri abantu ba Yakuwa? Baali bamaze ebbanga ddene nga balangirira nti ‘ebiseera by’ab’amawanga ebigereke’ byali bijja kukoma mu 1914. * (Lukka 21:24) Mu mwaka ogwo, Obwakabaka bwa Katonda nga bukulemberwa Omusika wa Kabaka Dawudi, Yesu Kristo, bwateekebwawo mu ggulu. (2 Samwiri 7:12-16; Lukka 22:28, 29) Okuviira ddala mu Maaki 1880, akatabo Watch Tower kaakwataganya okufuga kw’Obwakabaka bwa Katonda n’enkomerero ‘y’ebiseera by’ab’amawanga ebigereke,’ oba “ebiseera by’Ab’amawanga.” (King James Version) Naye omutima gwa kabaka Omugirimaani ow’obukiika kkono ‘gwakyawa endagaano entukuvu ey’Obwakabaka.’ Mu kifo ky’okukkiriza obufuzi bw’obwakabaka, Empura Wiriyemu ‘yakola by’ayagala’ ng’aluubirira okufuga ensi yonna. Naye, mu kukola bw’atyo yatemera Ssematalo I oluwenda.

KABAKA “ANAKUWALA” MU LUTALO

10, 11. Ssematalo I yatandika atya, era mu ngeri ki gye yatandikamu mu ‘kiseera ekigereke’?

10 Malayika yalagula nti “mu biro ebyalagirwa [kabaka w’obukiika kkono] aliddayo, aligenda mu bukiika obwa ddyo: naye mu biro eby’oluvannyuma tekiriba nga bwe kyali mu biro eby’olubereberye.” (Danyeri 11:29) ‘Ebiseera Katonda bye yagereka’ okukomezaamu obufuzi bw’Ab’amawanga ku nsi byatuuka mu 1914 bwe yassaawo Obwakabaka obw’omu ggulu. Nga Jjuuni 28 mu mwaka ogwo, Ssaabalangira Francis Ferdinand ow’omu Austria ne mukyala we baatemulwa omusajja Omusaabu mu kibuga Sarayevo, eky’omu Bosnia. Ekyo nno kye kyaviirako Ssematalo I.

11 Empura Wiriyemu yakubiriza eggwanga lya Austria ne Hungary okwesasuza eri Ssabiya. Nga bamaze okukakasibwa obuwagizi bwa Bugirimaani, eggwanga lya Austria ne Hungary lyaggulawo olutalo ku Ssabiya nga Jjulaayi 28, 1914. Naye Russia yadduukirira Ssabiya. Bugirimaani bwe yaggulawo olutalo ku Russia, Bufalansa (eyali mu Ndagaano ey’Amawanga Asatu) yawagira Russia. Olwo ate Bugirimaani n’eggulawo olutalo ku Bufalansa. Olw’okwagala okufuna ekkubo erituuka amangu mu Paris, Bugirimaani yazinda Bubirigi, ensi Bungereza gye yali ekakasa nti terina ludda lw’ewagira. N’olwekyo Bungereza yaggulawo olutalo ku Bugirimaani. Amawanga amalala genyigiramu, era ne Itale n’ekyusa oludda. Mu lutalo olwo, Bungereza yafuula Misiri ettwale lyayo esobole okukugira kabaka w’obukiika kkono okwefuga Omukutu gw’e Swezi n’okuzinda Misiri, eryali eggwanga lya kabaka ow’obukiika ddyo mu biseera ebyayita.

12. Mu ssematalo eyasooka, mu ngeri ki ebintu gye ‘bitaali nga mu biro eby’olubereberye’?

12 Ekitabo The World Book Encyclopedia kigamba nti: “Wadde ng’Amawanga ag’Omukago ge yali erwanyisa gaali mangi era nga ga maanyi, Bugirimaani yalabika ng’egenda okuwangula olutalo olwo.” Mu ntalo ezaaliwo emabega wakati wa bakabaka ababiri, Obwakabaka bw’Abaruumi, nga kabaka w’obukiika kkono, bwatuukanga ku buwanguzi. Naye ku mulundi guno, ‘ebintu tebyali nga mu biro eby’olubereberye.’ Kabaka w’obukiika kkono yawangulwa. Ng’annyonnyola ekyaviirako ekyo, malayika yagamba: “Ebyombo eby’e Kittimu birijja okumulumba: kyaliva anakuwala.” (Danyeri 11:30a) “Ebyombo eby’e Kittimu” bye biruwa?

13, 14. (a) Okusingira ddala, “ebyombo by’e Kittimu” ebyalumba kabaka ow’ebukiika kkono bye biruwa? (b) Ebyombo ebirala eby’e Kittimu byajja bitya nga ssematalo ow’olubereberye anyiinyiitidde?

13 Kittimu kye kyali Kupulo mu kiseera kya Danyeri. Nga ssematalo ow’olubereberye yaakatandika, ekizinga ky’e Kupulo kyafuuka ettwale lya Bungereza. Ate era, okusinziira ku kitabo The Zondervan Pictorial Encyclopedia of the Bible, erinnya Kittimu “lyatuuka okutegeeza amawanga gonna ag’omu Bu[gwanjuba], naddala ago agaalina amaato ku nnyanja.” Ebigambo “ebyombo eby’e Kittimu” ekitabo New International Version kibivvuunula nga “ebyombo by’oku mbalama ez’ebugwanjuba.” Mu Ssematalo ow’olubereberye, ebyombo by’e Kittimu okusingira ddala gaali amaato ga Bungereza, eggwanga eriri ebugwanjuba wa Bulaaya.

14 Olutalo bwe lwanyiinyiitira, eggye lya Bungereza ery’oku mazzi lyeyongera amaanyi bwe lyafuna amaato amalala ag’e Kittimu. Nga Maayi 7, 1915, eryato lubbira erya Bugirimaani eriyitibwa U-20 lyasaanyaawo emmeeri ey’abantu aba bulijjo eyitibwa Lusitaniya ku lubalama lwa Ireland olw’omu maserengeta. Mu abo abattibwa mwalimu Abaamereka 128. Oluvannyuma, Bugirimaani yeeyongera okukozesa amaato gaayo lubbira mu nnyanja Atalantika. Bwe kityo nno, nga Apuli 6, 1917, Prezidenti wa Amereka Woodrow Wilson yaggulawo olutalo ku Bugirimaani. Ng’ayongeddwako emmeeri z’Amereka ennwanyi awamu n’amagye gaayo, kabaka ow’obukiika ddyo, ng’olwo kati bwe Bufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka, yali alwanagana ne kabaka ow’obukiika kkono.

15. Kabaka ow’obukiika kkono ‘yanakuwala’ atya?

15 Ng’alumbiddwa Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amereka, kabaka w’obukiika kkono ‘yanakuwala’ era mu Noovemba 1918 yakkiriza nti awanguddwa. Wiriyemu II yaddukira e Nazalandi, era enfuga ey’obwakabaka n’ekoma mu Bugirimaani. Naye kabaka ow’obukiika kkono yali tannavaawo.

KABAKA AKOLA ‘BY’AYAGALA’

16. Okusinziira ku bunnabbi, kabaka ow’obukiika kkono yali wa kukola atya ng’awanguddwa?

16 “[Kabaka ow’obukiika kkono] alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by’alyagala: aliddirayo ddala, alirowooza [ku] abo abaleka endagaano entukuvu.” (Danyeri 11:30b) Bw’atyo malayika bwe yalagula, era ne kituukirira.

17. Kiki ekyaleetera Adolf Hitler okututumuka?

17 Ng’olutalo luwedde mu 1918, Amawanga ago ag’Ekinywi agaawangula Bugirimaani gaagikozesa endagaano y’emirembe enkakali. Abagirimaani baanyigirizibwa nnyo endagaano eyo, era gavumenti yaabwe empya n’ebeera nnafu okuviira ddala ku ntandikwa. Bugirimaani yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi omwali n’okuddirira okunene mu by’enfuna okwaviirako abantu obukadde mukaaga obutaba na mirimu. Mu matandika ga 1930, embeera ezo ezaaliwo zaaviirako omusajja ayitibwa Adolf Hitler okututumuka. Yafuuka katikkiro mu Jjanwali 1933 era omwaka ogwaddako n’afuuka prezidenti w’obufuzi Abanazi bwe baayita Obwakabaka obw’Okusatu. *

18. Hitler yakola atya nga ‘bw’ayagala’?

18 Nga yaakajja mu buyinza, Hitler yakola obulabe obw’amaanyi ku ‘ndagaano entukuvu,’ ekiikirirwa baganda ba Yesu Kristo abaafukibwako amafuta. (Matayo 25:40) Yakola ‘nga bw’ayagala’ eri Abakristaayo abo abeesigwa, n’abayigganya nnyo. Hitler yalongoosa eby’enfuna era n’assaawo enkolagana ennungi n’amawanga amalala. Era ne mu ngeri eyo n’akola nga ‘bw’ayagala.’ Mu myaka mitono, yafuula Bugirimaani obufuzi obw’amaanyi ennyo.

19. Hitler yabiibiita baani ng’anoonya obuwagizi?

19 Hitler ‘yalowooza ku abo abaaleka endagaano entukuvu.’ Bano baali baani? Obujulizi bulaga nga bano baali bakulembeze ba Kristendomu, abaali beetwala okuba mu ndagaano ne Katonda, kyokka nga baalekera awo dda okubeera abayigirizwa ba Yesu Kristo. Hitler yasobola okufuna obuwagizi bw’abo ‘abaaleka endagaano entukuvu.’ Ng’ekyokulabirako, yakola endagaano ne ppaapa mu Rooma. Mu 1935, Hitler yatondawo Ekitongole Ekikola ku Nsonga z’Ekkanisa. Ekimu ku ebyo bye yali aluubirira kyali amakanisa agakkiririza mu Kristo okutambulira ku ntoli ya gavumenti.

“EMIKONO” GISIBUKA MU KABAKA

20. ‘Mikono’ ki kabaka w’obukiika kkono gye yeeyambisa, era yagikozesa kulumba baani?

20 Mu bbanga ttono Hitler yagenda mu lutalo, nga malayika bwe yalagula: “Walibaawo emikono egiriyimirira, nga gisibuka mu ye; era giryonoona awatukuvu, kye kigo, era giriggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna.” (Danyeri 11:31a, NW) “Emikono” egyo ge magye kabaka ow’obukiika kkono ge yakozesa okulwanyisa kabaka ow’obukiika ddyo mu Ssematalo II. Nga Ssebutemba 1, 1939, Abanazi baazinda Poolandi. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri, Bungereza ne Bufalansa zaggulawo olutalo ku Bugirimaani zisobole okuyamba Poolandi. Mu ngeri eyo Ssematalo II n’atandika. Poolandi yawambibwa mangu nnyo, era mu bbanga ttono amagye ga Bugirimaani gaali gamaamidde Denmark, Norway, Netherlands, Bubirigi, Luxembourg, ne Bufalansa. Ekitabo The World Book Encyclopedia kigamba nti “Omwaka 1941 we gwaggweerako, Bugirimaani wansi w’Abanazi yali efuga ekitundu kinene eky’olukalu lwa Bulaaya.”

21. Kabaka ow’obukiika kkono yasingibwa atya amaanyi mu Ssematalo II, era kino kyavaamu ki?

21 Wadde nga Bugirimaani ne Soviet Union zaali zitadde omukono ku Ndagaano y’Omukwano, Okukolera Awamu n’Okussa Ekitiibwa mu Nsalo Zaazo, Hitler yalumba Soviet Union nga Jjuuni 22, 1941. Kino kyaleetera Soviet Union okudda ku ludda lwa Bungereza. Eggye lya Soviet Union lyerwanako nnyo okuziyiza amagye ga Bugirimaani. Mu butuufu, nga Ddesemba 6, 1941, eggye lya Bugirimaani lyawangulwa mu Moscow. Olunaku olwaddako, Japaani eyali ey’omukago ne Bugirimaani, yasuula bbomu ku kibuga Pearl Harbor, eky’omu Hawaii. Hitler bwe yawulira kino, yagamba ababeezi be: “Kati tuteekwa buteekwa okuwangula olutalo luno.” Nga Ddesemba 11 yaggulawo olutalo ku Amereka. Naye teyakitegeererawo nti Soviet Union ne Amereka zaali za maanyi. Ng’amagye ga Soviet Union gamulumba okuva mu buvanjuba, ate go, aga Bungereza ne Amereka nga gamwolekedde okuva ebugwanjuba, Hitler baamusinza amaanyi. Bw’etyo Bugirimaani n’egenda ng’ewambibwako ebitundu. Nga Maayi 7, 1945, Bugirimaani yawangulwa Amawanga ag’Omukago agaali gagirwanyisa.

22. Kabaka ow’obukiika kkono ‘yayonoona atya awatukuvu era n’aggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna’?

22 “[Emikono gy’Abanazi] giryonoona awatukuvu, kye kigo, era giriggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna,” bw’atyo malayika bwe yagamba. Mu Yuda ey’edda, awatukuvu waali mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Kyokka, Abayudaaya bwe beesamba Yesu, Yakuwa yabaabulira awamu ne yeekaalu yaabwe. (Matayo 23:37–24:2) Okuva mu kyasa ekyasooka C.E., yeekaalu ya Yakuwa ebadde ya bya mwoyo. Awatukuvu w’awatukuvu waayo wali mu ggulu, ate nga lwo oluggya olw’eby’omwoyo luli ku nsi, baganda ba Kabona Omukulu Yesu, abaafukibwako amafuta mwe baweerereza. Okuva mu myaka gya 1930, ‘ab’ekibiina ekinene’ babadde basinziza wamu n’ensigalira y’abaafukibwako amafuta era n’olw’ensonga eyo baweerereza ‘mu yeekaalu ya Katonda.’ (Okubikkulirwa 7:9, 15; 11:1, 2; Abebbulaniya 9:11, 12, 24) Mu nsi ze yali afuga, kabaka ow’obukiika kkono yayonoona oluggya olw’oku nsi olwa yeekaalu ng’ayigganya ensigalira y’abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe. Okuyigganyizibwa okwo kwali kwa maanyi nnyo ne kiba nti “ekiweebwayo eky’ennaku zonna,” ng’eno ye ssaddaaka ey’okutendereza erinnya lya Yakuwa, kyaggibwawo. (Abebbulaniya 13:15) Kyokka, wadde nga baayigganyizibwa nnyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne “endiga endala” beeyongera okubuulira mu kiseera kya Ssematalo II.—Yokaana 10:16.

‘EKY’OMUZIZO KITEEKEBWAWO’

23. ‘Eky’omuzizo’ ekyaliwo mu kyasa ekyasooka kye kiruwa?

23 Ssematalo ow’okubiri bwe yali anaatera okuggwa, waaliwo ekintu ekirala ekyabaawo, nga malayika wa Katonda bwe yalagula. “Baliyimiriza [“baliteekawo,” NW] eky’omuzizo ekizikiriza.” (Danyeri 11:31b) Era Yesu yayogera ku ‘ky’omuzizo.’ Mu kyasa ekyasooka, lino lyali eggye ly’Abaruumi eryajja mu Yerusaalemi mu 66 C.E., okukomya akeegugungo k’Abayudaaya. *Matayo 24:15; Danyeri 9:27.

24, 25. (a) “Eky’omuzizo” eky’omu biseera bino kye kiruwa? (b) Ddi ‘eky’omuzizo lwe kyateekebwawo, era mu ngeri ki?

24 ‘Kya muzizo’ ki ‘ekiteekeddwawo’ mu biseera bino? Kirabika nti kino kye kintu ‘eky’omuzizo’ ekyagala okwerimbika mu kifo ky’Obwakabaka bwa Katonda. Era nga kino kye kyali Ekinywi ky’Amawanga, ekibiina ekyali kinoonya okussaawo emirembe mu nsi yonna, nga kikiikirirwa ensolo emmyufu eyagenda mu bunnya, oba eyaviirawo ddala nga Ssematalo II abaluseewo. (Okubikkulirwa 17:8) Kyokka, “ensolo,” yali ‘ya kuvaayo mu bunnya.’ Kino kyatuukirira ekibiina ky’Amawanga Amagatte, ekyalimu amawanga 50 nga mw’otwalidde n’eryo eryali liyitibwa Soviet Union, bwe kyassibwawo nga Okitobba 24, 1945. Bwe kityo “eky’omuzizo” malayika kye yalagula, nga kye kibiina ky’Amawanga Amagatte, kyali kiyimiridde.

25 Bugirimaani yali mulabe lukulwe owa kabaka ow’obukiika ddyo mu ssematalo zombi, era ye yali kabaka ow’obukiika kkono. Ani eyandizzeewo nga kabaka ow’obukiika kkono?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 9 Laba essuula 6 ey’ekitabo kino.

^ lup. 17 Obwakabaka bwa Rooma Obutukuvu bwe bwali obwakabaka obusooka, ate Obwakabaka bwa Bugirimaani bwe bwali obw’okubiri.

^ lup. 23 Laba Essuula 11 ey’ekitabo kino.

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Ku nkomerero y’ekyasa eky’e 19, bufuzi ki obwali kabaka w’obukiika kkono, era buluwa obwali kabaka w’obukiika ddyo?

• Mu ngeri ki ebyava mu Ssematalo I gye ‘bitali nga mu biro eby’olubereberye’ eri kabaka ow’obukiika kkono?

• Oluvannyuma lwa Ssematalo I, Hitler yafuula atya Bugirimaani obufuzi obw’amaanyi ennyo mu nsi?

• Biki ebyava mu kanyoolagano wakati wa kabaka ow’obukiika kkono ne kabaka ow’obukiika ddyo mu Ssematalo II?

[Ebibuuzo]

[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 268]

BAKABAKA B’OMU DANYERI 11:27-31

Kabaka w’Ebukiika Kabaka w’Ebukiika

Kkono Ddyo

Danyeri 11:27-30a Obwakabaka bwa Bungereza, era

Bugirimaani n’oluvannyuma

(Ssematalo I) Obufuzi Kirimaanyi Obwa

Bungereza ne Amereka

Danyeri 11:30b, 31 Obwakabaka obw’Okusatu Obufuzi Kirimaanyi

Obwa Hitler Obwa Bungereza

(Ssematalo II) ne Amereka

[Ekifaananyi]

Prezidenti Woodrow Wilson ne Kabaka George Ow’Okutaano

[Ekifaananyi]

Abakristaayo bangi baatulugunyizibwa mu nkambi ez’okubonyaabonyezaamu

[Ekifaananyi]

Abakulembeze ba Kristendomu baawagira Hitler

[Ekifaananyi]

Emmotoka Ssaabalangira Ferdinand mwe yatemulirwa

[Ekifaananyi]

Abaserikale Abagirimaani, Ssematalo I

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 257]

Nga bali e Yalita mu 1945, Katikkiro wa Bungereza Winston Churchill, Prezidenti wa Amereka Franklin D. Roosevelt, ne Joseph Stalin, Katikkiro wa Soviet Union bakkiriziganya ku nteekateeka ez’okufuga Bugirimaani, ez’okukola gavumenti empya mu Poolandi, n’ez’okutuuza olukiiko olw’okutondawo ekibiina ky’Amawanga Amagatte

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 258]

1. Ssaabalangira Ferdinand 2. Eggye lya Bugirimaani ery’oku Nnyanja 3. Eggye lya Bungereza ery’oku nnyanja 4. Lusitaniya 5. Amereka erangirira olutalo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 263]

Japaani eyali ey’omukago ne Bugirimaani bwe yasuula bbomu ku Pearl Harbor, Adolf Hitler yali mukakafu nti ajja kuwangula olutalo