Ensonga Lwaki Ebyali mu Lusuku Edeni Bikukwatako
Ensonga Lwaki Ebyali mu Lusuku Edeni Bikukwatako
EMU ku nsonga abeekenneenya Bayibuli gye bawa kwe basinziira okugamba nti olusuku Edeni terwaliyo eri nti balowooza nti ebyawandiikibwa ebirala mu Bayibuli tebyogera butereevu ku lusuku Edeni. Ng’ekyokulabirako, profesa omu ayitibwa Paul Morris yagamba nti: “Ng’oggyeeko ebyo ebiri mu kitabo ky’Olubereberye, tewali byawandiikibwa birala byogera butereevu ku lusuku Edeni.” Abantu abalala abeeyita abakugu bakkiriziganya n’ebyo bye yagamba, naye si batuufu.
Waliwo ebyawandiikibwa ebirala bingi mu Bayibuli ebyogera ku Edeni, Adamu, Kaawa, n’omusota. * Kyokka abo abawakanya ebyo ekitabo ky’Olubereberye bye kyogera ku ebyo ebyaliwo mu lusuku Edeni baba bawakanya Bayibuli yonna. Mu ngeri ki?
Okutegeera ebyaliwo mu lusuku Edeni kikulu nnyo bwe tuba ab’okutegeera Bayibuli yonna. Ng’ekyokulabirako, Ekigambo kya Katonda kituyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza. Engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo erina akakwate n’ebyo ebyaliwo mu lusuku Edeni. Lowooza ku byokulabirako bino.
● Lwaki tukaddiwa era ne tufa? Adamu ne Kaawa bandibaddewo emirembe gyonna singa baagondera Yakuwa. Okujeemera Katonda kye kyokka ekyandibaviiriddeko okufa, era ku lunaku lwennyini lwe baajeemera Katonda lwe baatandika okufa. (Olubereberye 2:16, 17; 3:19) Baafuuka abantu abatatuukiridde, era baaviirako bazzukulu baabwe okusikira ekibi n’obutali butuukirivu. Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”—Abaruumi 5:12.
● Lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo? Mu lusuku Edeni, Sitaani yagamba nti Katonda mulimba era nti alina ebintu ebirungi bye yakweka abantu. (Olubereberye 3:3-5) Bw’atyo yalaga nti Yakuwa si mufuzi mulungi. Adamu ne Kaawa baasalawo okuwuliriza Sitaani ne bajeemera obufuzi bwa Yakuwa, era baayagala okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Olw’okuba Yakuwa mwenkanya era mugezi nnyo, yakiraba nti ensonga eyo okusobola okugonjoolwa obulungi, kyali kyetaagisa ekiseera okuyitawo ng’abantu beefuga bokka. N’olwekyo, emu ku nsonga lwaki waliwo ebintu ebibi eri nti abantu beefuga bokka nga bakolera ku buyinza bwa Sitaani. Era ebivuddemu biraga nti abantu tebasobola kwefuga bokka awatali Katonda.—Yeremiya 10:23.
● Katonda yalina kigendererwa ki okutonda ensi? Katonda bwe yassaawo olusuku Edeni, yalaga nti yali ayagala ensi yonna efuuke ekifo ekirabika obulungi ng’olusuku olwo. Yagamba Adamu ne Kaawa okuzaala baale bajjuze ensi, ‘babeera n’obuyinza ku yo,’ era bagirabirire okutuusa yonna lwe yandifuuse ng’olusuku Edeni. (Olubereberye 1:28) N’olwekyo, Katonda bwe yali atonda ensi, yayagala ebeere ekifo ekirabika obulungi ennyo, era ng’erimu abantu abatuukiridde abandivudde mu Adamu ne Kaawa. Okutwalira awamu, byonna bye tusoma mu Bayibuli bikwata ku ngeri Katonda gy’ajja okutuukirizaamu ekigendererwa ekyo.
● Lwaki Yesu Kristo yajja ku nsi? Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda mu lusuku Edeni, Katonda yabasalira omusango ogw’okufa, bo awamu n’abaana baabwe. Naye olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu, yatuma Omwana we ku nsi asobole okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo. (Matayo 20:28) Ekyo kitegeeza ki? Bayibuli egamba nti Yesu ye “Adamu ow’oluvannyuma.” Kyokka obutafaananako Adamu, Yesu ye yasigala mwesigwa eri Yakuwa. Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka oba ng’ekinunulo, kisobozese abantu abeesigwa okusonyiyibwa ebibi byabwe era n’okufuna obulamu obutuukiridde Adamu ne Kaawa bwe baalimu nga tebannayonoona. (1 Abakkolinso 15:22, 45; Yokaana 3:16) Olwa ssaddaaka Yesu gye yawaayo, tuli bakakafu nti ekigendererwa Yakuwa kye yalina ng’atonda ensi kijja kutuukirira. *
Ekigendererwa Katonda kye yalina okutonda ensi kitegeerekeka bulungi, era kijja kutuukirira. Ng’olusuku Edeni bwe lwali olwa ddala, nga lulimi ebisolo n’abantu, n’ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku biseera eby’omu maaso tekibuusibwabuusibwa era kijja kutuukirira. Wandyagadde okulaba ng’ebisuubizo ebyo bituukirira era n’okubiganyulwamu? Ekyo kijja kusinziira ku ggwe. Katonda ayagaliza abantu bonna obulamu obwo obulungi, nga mw’otwalidde n’abo abakola ebintu ebibi.—1 Timoseewo 2:3, 4.
Yesu bwe yali anaatera okufa, yayogera n’omusajja eyali omumenyi w’amateeka, era omusajja oyo yali akimanyi nti ekibonerezo ekyali kimuweereddwa eky’okufa kyali kimugwanira. Omusajja oyo yayagala Yesu amubudeebude era amuwe essuubi. Yesu yamugamba nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) Bwe kiba nti Yesu ayagala omusajja oyo abeere mu lusuku lwa Katonda, beera mukakafu nti ye ne Kitaawe baagala naawe obeereyo! Bw’oba ng’oyagala okubeera mu lusuku lwa Katonda, weeyongere okuyiga ebikwata ku Katonda.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 3 Ng’ekyokulabirako, laba Olubereberye 13:10; Ekyamateeka 32:8; 2 Samwiri 7:14; 1 Ebyomumirembe 1:1; Isaaya 51:3; Ezeekyeri 28:13; 31:8, 9; Lukka 3:38; Abaruumi 5:12-14; 1 Abakkolinso 15:22, 45; 2 Abakkolinso 11:3; 1 Timoseewo 2:13, 14; Yuda 14; ne Okubikkulirwa 12:9.
^ lup. 8 Okumanya ebisingawo ku kinunulo Kristo kye yawaayo, laba essuula 5 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasanduuko/Ebifaananyi]
OBUNNABBI OBUTUYAMBA OKUTEGEERA ENSONGA ENKULU EYOGERWAKO MU BAYIBULI
“Nja kuteekawo obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lye. Alikubetenta omutwe era naawe olimubetenta ekisinziiro.”—Olubereberye 3:15.
Obwo bwe bunnabbi obusooka obuli mu Bayibuli, Katonda bwe yayogera mu lusuku Edeni. Omukazi, ezzadde lye, omusota, n’ezzadde ly’omusota be baani? “Obulabe” obwayogerwako obwandibaddewo wakati w’ezzadde ly’omukazi n’ezzadde ly’omusota, buliwo mu ngeri ki?
OMUSOTA
Sitaani Omulyolyomi.—Okubikkulirwa 12:9.
OMUKAZI
Ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, omuli bamalayika. (Abaggalatiya 4:26, 27) Nnabbi Isaaya yagamba nti “omukazi” yandizadde eggwanga ery’omwoyo.—Isaaya 54:1; 66:8.
EZZADDE LY’OMUSOTA
Abo abasalawo okukola ebyo Sitaani by’ayagala.—Yokaana 8:44.
EZZADDE LY’OMUKAZI
Ezzadde ly’omukazi ekkulu ye Yesu Kristo, eyava mu kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Abalala abali mu “zzadde” ly’omukazi be baganda ba Kristo abajja okufugira awamu naye mu ggulu. Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta be bakola eggwanga ery’omwoyo, kwe kugamba, “Isirayiri wa Katonda.”—Abaggalatiya 3:16, 29; 6:16; Olubereberye 22:18.
OKUBETENTEBWA EKISINZIIRO
Obulumi obw’akaseera akatono obwatuusibwa ku Masiya. Yesu bwe yali ku nsi, Sitaani yasobola okumuviirako okufa, naye ekyo kyaliwo kumala kaseera buseera kubanga Katonda yamuzuukiza.
OKUBETENTEBWA OMUTWE
Yesu ajja kuggyawo ebizibu byonna Sitaani bye yaleeta, era oluvannyuma amuzikirize.—1 Yokaana 3:8; Okubikkulirwa 20:10.
Okusobola okumanya ensonga enkulu eyogerwako mu Bayibuli, laba akatabo The Bible—What Is Its Message? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi]
Adamu ne Kaawa baakaddiwa era ne bafa