Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
Okwagala kusinga kutya okumanya? (1 Kol. 8:1)
Tuyinza tutya okuzimba ekibiina ng’abaweereza ba Katonda ab’edda bwe baakola? (Bar. 13:8)
Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku abo be tubuulira? (1 Bas. 2:7, 8)
Tuyinza tutya okuyamba oluganda lwe tulina olw’ensi yonna okweyongera okukula? (Bef. 4:1-3, 11-16; 1 Bas. 5:11)
Tuyinza tutya okukola buli kimu mu kwagala? (1 Kol. 16:14)