Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda
Essuula ey’Ekkumi n’Omwenda
Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda
Kitegeeza ki okwagala Katonda?
Tusobola tutya okwekuumira mu kwagala kwa Katonda?
Yakuwa alisasula atya abo abeekuumira mu kwagala kwe?
1, 2. Wa we tuyinza okufuna obukuumi leero?
KUBA akafaananyi ng’oli wekka mu luguudo otambula, nga kibuyaga ow’amaanyi akunta. Eggulu likwata ekizikiza. Litandika okumyansa n’okubwatuka era enkuba etandika okutonnya ennyo. Otandika okudduka ng’onoonya aw’okweggama. Olaba aw’okweggama ku mabbali w’oluguudo. Walungi era ng’enkuba tetuukawo. Ng’osanyuka nnyo okufuna aw’okweggama awalungi!
2 Tuli mu biseera ebizibu ennyo. Embeera mu nsi yeeyongera okwonooneka buli lukya. Kyokka, waliwo ekifo kye tuyinza okugendamu ne tufuna obukuumi era ne tutatuusibwako kabi. Kifo ki ekyo? Weetegereze Baibuli ky’egamba: “N[n]aayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.”—Zabbuli 91:2.
3. Tusobola tutya okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe?
3 Lowooza ku ekyo! Yakuwa, Omutonzi era Omufuzi w’obutonde bwonna, asobola okuba ekiddukiro kyaffe. Asobola okutukuuma olw’okuba wa maanyi nnyo okusinga omuntu yenna Yuda 21) Yee, tusaanidde okwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga tunyweza enkolagana gye tulina ne Kitaffe ow’omu ggulu omwagazi. Mu ngeri eyo tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa kye kiddukiro kyaffe. Naye tuyinza tutya okunyweza enkolagana gye tulina ne Katonda?
oba ekintu kyonna ekiyinza okututuusaako akabi. Ne bwe tuba nga tutuusiddwako akabi, Yakuwa asobola okuggyawo ebibi byonna ebiba bivudde mu kabi ako. Tusobola tutya okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe? Nga tumwesiga. Ate era, Ekigambo kye kitukubiriza nti: ‘Mwekuumirenga mu kwagala kwa Katonda.’ (MANYA ENGERI KATONDA GY’ALAZEEMU OKWAGALA ERA OBEEKO KY’OKOLA
4, 5. Ezimu ku ngeri Yakuwa mw’atulaggidde okwagala ze ziruwa?
4 Okusobola okwekuumira mu kwagala kwa Katonda, kitwetaagisa okutegeera engeri Yakuwa gy’atulazeemu okwagala. Lowooza ku zimu ku njigiriza za Baibuli z’oyize nga weeyambisa akatabo kano. Ng’Omutonzi waffe, Yakuwa atuwadde ensi okuba amaka gaffe agasanyusa. Agitaddemu emmere nnyingi nnyo, amazzi, eby’obugagga eby’omu ttaka, ensolo ezisanyusa, n’ebifo ebirabika obulungi. Ng’oyo eyawandiisa Baibuli, Katonda atutegeezezza erinnya lye n’engeri ze. Ate era, Ekigambo kye kitutegeeza nti yatuma Omwana we gw’ayagala ennyo ku nsi era n’amuleka okubonyaabonyezebwa n’okutufiirira. (Yokaana 3:16) Ekikolwa kino kituganyula kitya? Kituwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso eby’ekitalo.
5 Ate era, essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso lyesigamye ku kintu ekirala Katonda ky’akoze. Yakuwa ataddewo gavumenti ey’omu ggulu, ng’eno bwe Bwakabaka bwa Masiya. Mangu ddala, ejja kukomya okubonaabona kwonna era efuule ensi ekifo ekirungi ennyo. Kirowoozeeko! Tusobola okufuna emirembe n’essanyu eby’olubeerera. (Zabbuli 37:29) Mu kiseera kino, Katonda atuwadde obulagirizi okusobola okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esingayo obulungi. Ate era, atuwadde ekirabo eky’okusaba ne kiba nti tusobola okumutuukirira ekiseera kyonna wonna we tuba tuli. Zino ze zimu ku ngeri Yakuwa z’alazeemu abantu bonna okwagala era naawe ozingirwamu.
6. Oyinza otya okusiima okwagala Yakuwa kw’akulaze?
6 Ekibuuzo ekikulu ky’oyinza okwebuuza kiri nti: Nnaasiima ntya okwagala Yakuwa kwandaze? Bangi bajja kugamba nti, “Nange kinneetaagisa okulaga Yakuwa okwagala.” Naawe eyo y’endowooza gy’olina? Yesu yagamba nti ekiragiro ekisinga obukulu kye kino: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi bo gonna.” (Matayo 22:37) Mazima ddala, olina ensonga nnyingi nnyo kw’osinziira okwagala Yakuwa Katonda. Naye okuwulira nti olina okwagala ng’okwo kye kyokka ekizingirwa mu kwagala Yakuwa n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna?
7. Okuwulira obuwulizi nti oyagala Katonda, kye kyokka ekiraga nti omwagalira ddala? Nnyonnyola.
7 Nga bwe kinnyonnyolwa mu Baibuli, okwagala Katonda tekukoma ku kuwulira obuwulizi nti omwagala. Mu butuufu, wadde nga kikulu okuwulira nti oyagala Yakuwa, enneewulira eyo eba ntandikwa butandikwa ey’okwagala okwa nnamaddala kw’oba nakwo eri Yakuwa. Akasigo k’ekibala ke kaloka ne kavaamu omuti ogubala ebibala. Kyokka, singa oba oyagala ekibala, osobola okuba omumativu ng’omuntu akuwadde akasigo kaakyo? N’akatono! Mu ngeri y’emu, okuwulira nti oyagala Yakuwa Katonda, eba ntandikwa butandikwa ey’okumwagala. Baibuli eyigiriza bw’eti: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Omuntu ayagalira ddala Katonda, ateekwa okubala ebibala ebirungi. Okwagala okwo ateekwa okukwoleka mu bikolwa.—Matayo 7:16-20.
8, 9. Tusobola tutya okulaga nti twagala Katonda era nti tusiima by’atukolera?
8 Tulaga nti twagala Katonda bwe tukwata ebiragiro bye era ne tuteeka mu nkola emisingi gye. Kino si kizibu kutuukiriza. Amateeka Isaaya 48:17, 18) Bwe tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, tuba tulaga nti ddala tusiima ebyo byonna by’atukoledde. Eky’ennaku, abantu batono nnyo leero abalaga okusiima ng’okwo. Tetwagala kuba ng’abantu b’omu kiseera kya Yesu abataalaga kusiima. Yesu yawonya abalwadde b’ebigenge kkumi, kyokka omu yekka ye yakomawo okumwebaza. (Lukka 17:12-17) Mazima ddala, twandyagadde okubeera ng’oyo eyasiima, so si nga bali omwenda abataasiima.
ga Yakuwa si mugugu gye tuli, wabula gatuyamba okuba mu bulamu obulungi, obw’essanyu, era obumatiza. (9 Kati olwo, ebiragiro bya Yakuwa bye tulina okukwata bye biruwa? Tulabyeko ebiwerako mu katabo kano, naye ka twejjukanyeyo bitonotono. Okukwata ebiragiro bya Katonda kijja kutuyamba okwekuumira mu kwagala kwe.
WEEYONGERE OKUSEMBERERA YAKUWA
10. Nnyonnyola ensonga lwaki kikulu okweyongera okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa Katonda.
10 Ekintu ekikulu ennyo ekitusobozesa okuba n’enkolagana Engero 2:1-5.
ey’oku lusegere ne Yakuwa kwe kuyiga ebimukwatako. Kye kintu kye tutasaanidde kulekera awo kukola. Singa obadde wabweru ekiro mu budde obunnyogovu ng’oyota omuliro, wandigulese ne guzikira? N’akatono. Wandibadde oseesaamu enku buli kiseera omuliro ogwo gusobole okusigala nga gwaka era nga gukubugumya. Obulamu bwo buyinza okukosebwa singa omuliro guzikira. Ng’enku bwe zisobozesa omuliro okweyongera okwaka, ‘n’okumanya Katonda’ kusobozesa okwagala kwe tulina gy’ali obutaddirira.—11. Ebyo Yesu bye yayigiriza byakwata bitya ku bagoberezi be?
11 Yesu yakubiriza abagoberezi be okwagalanga Yakuwa awamu n’Ekigambo kye eky’amazima. Oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, Yesu yayigiriza abayigirizwa be babiri ebintu ebimu ebikwata ku bunnabbi bw’omu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya obwatuukirizibwa ku ye. Baakwatibwako batya? Oluvannyuma baagamba: “Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka mu nda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atubikkulira ebyawandiikibwa?”—Lukka 24:32.
12, 13. (a) Eri abantu abasinga obungi leero, kiki ekituuse ku kwagala kwe balina eri Katonda n’eri Baibuli? (b) Tusobola tutya okukuuma okwagala kwaffe ne kutawola?
12 Bwe wasookera ddala okumanya Baibuli by’eyigiriza, tewawulira ng’obugaanye essanyu era ne weeyongera okwagala Katonda? Awatali kubuusabuusa bwe kityo bwe kyali. Bangi baawulira bwe batyo. Kati okusoomooza kw’olina kwe kukuuma okwagala okwo kuleme okuddirira. Tetwagala kuba ng’abantu abali mu nsi. Yesu yalagula nti: “Okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.” (Matayo 24:12) Okwagala kw’olina eri Yakuwa n’eri amazima ga Baibuli osobola otya okukukuuma ne kutaddirira?
13 Weeyongere okufuna kumanya okukwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (Yokaana 17:3) Fumiitiriza ku ebyo by’oyiga mu Kigambo kya Katonda, era weebuuze nti: ‘Bino binjigiriza ki ku Yakuwa Katonda? Binnyamba bitya okumwagala n’omutima gwange gwonna, n’amagezi gange gonna, n’obulamu bwange bwonna?’ (1 Timoseewo 4:15) Okufumiitiriza ng’okwo kujja kukuyamba okunyweza okwagala kw’olina eri Yakuwa.
14. Okusaba kusobola kutya okunyweza okwagala kwe tulina eri Yakuwa?
Zabbuli 62:8) Yee, okwesomesa Baibuli n’okusaba okuva ku ntobo y’omutima, bintu bikulu nnyo mu kusinza kwaffe, era bituyamba okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.
14 Engeri endala gy’oyinza okunywezaamu okwagala kwo eri Yakuwa kwe kusaba obutayosa. (1 Abasessalonika 5:17) Mu Ssuula 17 ey’akatabo kano, twayiga nti okusaba kirabo kya muwendo okuva eri Katonda. Ng’enkolagana y’abantu bwe yeeyongera okunywera bwe baba n’empuliziganya ennungi, n’enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera bwe tumusaba obutayosa. Kikulu nnyo okusaba mu bwesimbu ate nga tetuddiŋŋana bigambo. Kitwetaagisa okwogera ne Yakuwa ng’omwana bwe yandyogedde ne kitaawe gw’ayagala ennyo. Kya lwatu, twagala okwogera naye mu ngeri ey’ekitiibwa, nga tuli beesimbu era nga bye twogera biviira ddala ku mutima. (FUNA ESSANYU MU KUSINZA KWO
15, 16. Lwaki tusaanidde okutwala omulimu gw’okubuulira Obwakabaka ng’enkizo era ng’ekintu eky’obugagga?
15 Okwesomesa Baibuli n’okusaba bye bimu ku ebyo ebizingirwa mu kusinza bye tusobola okukola nga tuli ku lwaffe. Kyokka, waliwo ekintu ekirala ekizingirwa mu kusinza kye tukola mu lujjudde: okubuulira abalala enzikiriza zaffe. Olina b’obuuliddeko ku mazima g’oyize mu Baibuli? Bwe kiba bwe kityo, ofunye enkizo ey’ekitalo. (Lukka 1:74) Bwe tubuulirako abalala amazima ge tuyize agakwata ku Yakuwa Katonda, tuba tukola omulimu omukulu ennyo ogwaweebwa Abakristaayo bonna—okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.—Matayo 24:14; 28:19, 20.
16 Omutume Pawulo yatwala obuweereza bwe ng’ekintu eky’omuwendo ennyo, ng’abuyita eky’obugagga. (2 Abakkolinso 4:7) Okubuulira abantu ebikwata ku Yakuwa Katonda n’ebigendererwa bye gwe mulimu ogusingayo obulungi gw’osobola okukola. Bwe tugukola tuba tuweereza Omukozesa asingayo obulungi, era omulimu guno guvaamu emiganyulo mingi. Bw’ogwenyigiramu, oba oyamba abantu ab’emitima emirungi okusemberera Kitaffe ow’omu ggulu, n’okutandika okutambulira mu kkubo eribatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Teriiyo mulimu mulala ogumatiza okusinga ogwo. Ate era, bw’obuulira abalala ebikwata ku Yakuwa ne ku Kigambo kye, okukkiriza kwo n’okwagala kw’olina eri Yakuwa byeyongera okunywera. Era Yakuwa asiima nnyo okufuba kwo. (Abebbulaniya 6:10) Okunyiikira okukola omulimu ng’ogwo kikuyamba okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.—1 Abakkolinso 15:58.
17. Lwaki omulimu gw’okubuulira gulina okukolebwa mu bwangu leero?
17 Tulina okukijjukira nti omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gulina okukolebwa mu bwangu. Baibuli egamba: ‘Buulira ekigambo mu bwangu.’ (2 Timoseewo 4:2) Lwaki kino kikulu nnyo leero? Ekigambo kya Katonda kitutegeeza nti: “Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.” (Zeffaniya 1:14) Yee, ekiseera kinaatera okutuuka Yakuwa azikirize embeera z’ebintu zino. Abantu balina okulabulwa! Beetaaga okumanya nti, kaakano kye kiseera okulondawo Yakuwa ng’Omufuzi waabwe. Enkomerero ‘tejja kulwa kutuuka.’—Kaabakuuku 2:3.
18. Lwaki tusaanidde okusinza Yakuwa nga tuli wamu n’Abakristaayo ab’amazima?
18 Yakuwa ayagala tumusinze nga tuli wamu n’Abakristaayo ab’amazima. Eno y’ensonga lwaki Ekigambo kye kigamba nti: “Tulowoozaganenga ffekka na ffekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” (Abebbulaniya 10:24, 25) Bwe tukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, tufuna omukisa okutendereza era n’okusinza Katonda waffe. Ate era tuzimbagana era tuzziŋŋanamu amaanyi.
19. Tusobola tutya okubeera n’okwagala okunywevu mu kibiina Ekikristaayo?
19 Bwe tukuŋŋaana awamu n’abasinza ba Yakuwa abalala, omukwano n’okwagalana ebiri mu kibiina byeyongera okunywera. Kikulu buli omu okutunuulira ebirungi mu munne nga Yakuwa bw’atunuulira ebirungi mu ffe. Bakkiriza banno tobasuubira kubeera bantu abatuukiridde. Kijjukire nti bonna tebakulaakulanira ku sipiidi y’emu mu by’omwoyo, era buli omu ku ffe akola ensobi. (Abakkolosaayi 3:13) Bw’okola omukwano n’abo abaagala ennyo Yakuwa, ojja kukula mu by’omwoyo. Yee, okusinza Yakuwa ng’oli wamu ne baganda bo mu by’omwoyo kijja kukuyamba okwekuumira mu kwagala kwa Katonda. Yakuwa asasula atya abo abamusinza n’obwesigwa era abeekuumira mu kwagala kwe?
LUUBIRIRA ‘OBULAMU OBWA NNAMADDALA’
20, 21. ‘Obulamu obwa nnamaddala’ kye ki, era lwaki essuubi eryo lya kitalo?
20 Yakuwa awa abaweereza be abeesigwa empeera y’obulamu, naye bulamu bwa ngeri ki? Oli mulamu? Abasinga obungi ku ffe tujja kugamba nti yee. Tussa, tulya era tunywa. N’olwekyo tuli balamu. Ate mu biseera lwe tubeera abasanyufu, tuyinza n’okugamba nti, “Mazima ddala kaakano tunyumirwa obulamu mu bujjuvu!” Kyokka, Baibuli eraga nti tewaliiwo muntu leero anyumirwa bulamu mu bujjuvu.
21 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okufuba ‘okunyweza obulamu obwa nnamaddala.’ (1 Timoseewo 6:19) Ebigambo ebyo bitegeeza nti ‘obulamu obwa nnamaddala’ tusuubira kubufuna mu biseera bya mu maaso. Yee, bwe tuliba nga tutuukiridde, tujja kuba balamu mu bujjuvu olw’okuba tujja kubeera mu bulamu bwennyini Katonda bwe yali ayagala tubeeremu. Bwe tuliba mu lusuku lwa Katonda ku nsi, nga tuli balamu bulungi, nga tulina emirembe n’essanyu, tujja kuba tunyumirwa ‘obulamu obwa nnamaddala’—obulamu obutaggwaawo. (1 Timoseewo 6:12) Eryo si ssuubi lya kitalo?
22. Osobola otya ‘okunyweza obulamu obwa nnamaddala’?
22 Tusobola tutya okunyweza ‘obulamu obwa nnamaddala’? Mu ssuula y’emu, Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okukolanga ebirungi, n’okubeeranga abagagga mu bikolwa ebirungi.’ (1 Timoseewo 6:18) N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti okufuna obulamu obwa nnamaddala kisinziira ku ngeri gye tussa mu nkola amazima ge tuyize mu Baibuli. Naye Pawulo yali ategeeza nti tugwanidde okufuna ‘obulamu obwa nnamaddala’ olw’okwoleka ebikolwa ebirungi? Nedda! Obulamu obwo tujja kubufuna ‘olw’ekisa’ Katonda kye yatulaga. (Abaruumi 5:15) Kyokka, Yakuwa ayagala okuwa obulamu abo abamuweereza n’obwesigwa. Ayagala ofune ‘obulamu obwa nnamaddala.’ Obulamu ng’obwo obw’essanyu, obw’emirembe era obutaggwaawo, bujja kufunibwa abo abeekuumira mu kwagala kwa Katonda.
23. Lwaki kikulu okwekuumira mu kwagala kwa Katonda?
23 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Nsinza Katonda mu ngeri entuufu eragibwa mu Baibuli?’ Bwe twekebera buli lunaku, ne tukisanga nga eky’okuddamu kiri nti yee, awo tuba tuli mu kkubo ettuufu. Tuba bakakafu nti Yakuwa kye kiddukiro kyaffe. Ajja kukuuma abantu be abeesigwa mu nnaku zino embi ez’embeera z’ebintu zino enkadde. Ajja kutuwonyawo atutuuse mu mbeera z’ebintu empya ezinaatera kutuuka. Nga tujja kuba basanyufu nnyo okubeerawo mu kiseera ekyo! Era nga tujja kusanyuka nnyo okuba nti twasalawo mu ngeri ey’amagezi mu nnaku zino ez’oluvannyuma! Bw’osalawo bw’otyo kati, ojja kunyumirwa ‘obulamu obwa nnamaddala,’ obulamu Yakuwa Katonda bwe yali ayatwagaliza okubeeramu, emirembe gyonna!
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Tulaga nti twagalira ddala Katonda nga tukwata ebiragiro bye era nga tussa mu nkola emisingi gye.—1 Yokaana 5:3.
▪ Okusoma Ekigambo kya Katonda, okusaba Yakuwa okuviira ddala ku ntobo y’omutima, okuyigiriza abalala ebimukwatako, n’okumusinza mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, bijja kutuyamba okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.—Matayo 24:14; 28:19, 20; Yokaana 17:3; 1 Abassessalonika 5:17; Abebbulaniya 10:24, 25.
▪ Abo abeekuumira mu kwagala kwa Katonda balina essuubi ery’okufuna ‘obulamu obwa nnamaddala.’—1 Timoseewo 6:12, 19; Yuda 21.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 184]
Onoofuula Yakuwa ekiddukiro kyo mu nnaku zino embi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 187]
Okufaananako omuliro ogulina okuseesebwamu, okwagala kw’olina eri Yakuwa kulina okukulaakulanyizibwa kuleme okuddirira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 190]
Yakuwa ayagala ofune ‘obulamu obwa nnamaddala.’ Onoobufuna?