Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Kino Kye Kyali Ekigendererwa kya Katonda?

Ddala Kino Kye Kyali Ekigendererwa kya Katonda?

Ddala Kino Kye Kyali Ekigendererwa kya Katonda?

EMPAPULA z’amawulire, ttivi awamu ne rediyo, byogera ku ntalo, obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa ebya bannalukalala. Ng’oggyeko ebyo, lowooza ku ebyo ebikweraliikiriza ggwe ng’omuntu. Oboolyawo obulwadde oba okufiirwa omwagalwa bikuleetera ennaku. Muli oyinza okuwulira ng’omusajja omulungi Yobu, eyagamba nti yali ‘ayenjebuse olw’okubonaabona.’​—Yobu 10:15, Baibuli y’oluganda eya 2003.

Weebuuze:

▪ Naye ddala kino Katonda kye yanjagaliza awamu n’abantu bonna?

▪ Nnyinza kuggya wa obuyambi okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye nnina?

▪ Waliwo essuubi lyonna nti ekiseera kirituuka ne tufuna emirembe ku nsi?

Baibuli eddamu ebibuuzo bino mu ngeri ematiza.

BAIBULI EYIGIRIZA NTI KATONDA AJJA KUTUUKIRIZA EBINTU BINO WAMMANGA.

“Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era okufa tekulibaawo nate, so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.”​—Okubikkulirwa 21:4

“Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi.”​—Isaaya 35:6

‘Amaaso g’omuzibe w’amaaso galizibuka.’​—Isaaya 35:5

“Bonna abali mu ntaana . . . ba[li]vaamu.”​—Yokaana 5:28, 29

“N’oyo atuulamu talyogera nti: Ndi mulwadde.”​—Isaaya 33:24

“Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”​—Zabbuli 72:16

GANYULWA MU EBYO BAIBULI BY’EYIGIRIZA

Tolowooza nti ebyo ebyogeddwako waggulu biteeberezebwa buteeberezebwa. Katonda asuubiza okubituukiriza byonna, era Baibuli ennyonnyola engeri gy’ajja okukikolamu.

Naye Baibuli tekoma ku kunnyonnyola bunnyonnyozi ngeri gyalikikolamu, naye era etusobozesa n’okuba n’obulamu obumatiza mu kiseera kino. Lowooza ku bizibu by’olina. Biyinza okuzingiramu obwavu, ebizibu by’omu maka, obulwadde, oba okufiirwa omwagalwa. Baibuli esobola okukuyamba okukola ku bizibu ebyo kati, era n’okuddamu ebibuuzo bino:

Lwaki tubonaabona?

Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebitweraliikiriza mu bulamu?

Tuyinza tutya okwongera okufuna essanyu mu maka?

Kiki ekitutuukako bwe tufa?

Tuliddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa?

Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Katonda alituukiriza ebisuubizo bye eby’omu biseera eby’omu maaso?

Olw’okuba osoma akatabo kano kiraga nti oyagala okumanya Baibuli ky’eyigiriza. Akatabo kano kajja kukuyamba. Weetegereze nti wansi w’olupapula waliwo ebibuuzo ebikwata ku buli katundu. Abantu bukadde na bukadde basiimye nnyo enkola ey’okukozesa ebibuuzo n’okuddamu nga bakubaganya ebirowoozo ku Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Tusuubira nti naawe ojja kugisiima. Ka tukwagalize emikisa gya Katonda ng’oyiga ekyo ddala Baibuli ky’eyigiriza!

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

MANYA BAIBULI YO

BAIBULI erimu ebitabo 66 nga mu bino mwe muli n’amabaluwa. Ebitabo bino birimu essuula n’ennyiriri ekibifuula ebyangu okujulizaamu. Ebyawandiikibwa bwe bijulizibwa mu katabo kano, ennamba eddirira erinnya ly’ekitabo oba ebbaluwa eba eraga essuula ate ennamba eddako eba eraga olunyiriri. Ng’ekyokulabirako, bwe kagamba “2 Timoseewo 3:16” kiba kitegeeza ebbaluwa ya Timoseewo ey’okubiri, essuula 3, olunyiriri 16.

Ojja kuyiga mangu okubikkula Baibuli singa onookeberanga ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano. Lwaki tossaawo nteekateeka ey’okwesomesanga Baibuli buli lunaku? Bw’osoma essuula nga ssatu oba ttaano buli lunaku, ojja kusobola okusoma Baibuli yonna mu mwaka gumu.