Eryato Limenyekera ku Kizinga
OLUGERO 112
Eryato Limenyekera ku Kizinga
LABA! eryato liri mu kabi! Limenyekamenyeka! Olaba abantu abali mu mazzi? Abamu batuuse ku lukalu. Oyo ali awo ye Pawulo? Ka tulabe ebimutuuseeko.
Jjukira nti okumala emyaka ebiri Pawulo abadde asibiddwa mu kkomera ly’e Kayisaliya. Awo ye n’abasibe abamu ne bateekebwa ku lyato, ne boolekera Rooma. Nga bayita okumpi n’ekizinga ky’e Kuleete, wajjawo embuyaga ey’amaanyi. Ya maanyi nnyo abasajja ne balemererwa okutereeza eryato. Era tebakyasobola kulaba njuba emisana oba emmunyeenye ekiro. Mu nkomerero, oluvannyuma lw’ennaku nnyingi, abali mu lyato baggwaamu essuubi ery’okuwonawo.
Awo Pawulo n’ayimirira n’abagamba: ‘Tewali n’omu ku mmwe ajja kufiirwa obulamu bwe; eryato lyokka lye lijja okusaanawo. Ekiro ekyayise malayika wa Katonda yazze gye ndi n’aŋŋamba, “Totya, Pawulo! Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali omufuzi Omuruumi. Era Katonda ajja kuwonya abo bonna abali naawe.”’
Awo nga mu ttumbi ku lunaku 14 okuva embuyaga bwe yatandika, abalunnyanja balaba nti amazzi tegakyali mawanvu nnyo! Olw’okutya okutomera enjazi mu kizikiza, basuula ennanga. Enkeera balaba olukalu. Basalawo okuleeta eryato ku lukalu.
Bwe basemberera olukalu, eryato litubira mu musenyu. Awo amayengo ne gatandika okulikuba, era eryato litandika okumenyekamenyeka. Omukungu ow’amagye agamba: ‘Mwenna abasobola okuwuga mmwe muba musooka okwesuula mu nnyanja muwuge mutuuke ku lukalu. N’abalala nammwe mugoberere, era mwekwate ku bitundutundu ebimenyese ku lyato.’ Era ekyo kye bakola. Mu ngeri eno abantu bonna 276 abaali ku lyato batuuka bulungi ku lukalu, nga malayika bwe yasuubiza.
Ekizinga kiyitibwa Merita. Abantu baayo ba kisa nnyo, era balabirira bulungi abo ababadde ku lyato. Obudde bwe bulongooka, Pawulo ateekebwa ku lyato eddala n’atwalibwa e Rooma.