Yesu Omuto mu Yeekaalu
OLUGERO 87
Yesu Omuto mu Yeekaalu
LABA omulenzi ono omuto ayogera n’abasajja bano abakulu. Be bayigiriza b’omu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi. Era omulenzi oyo ye Yesu. Yeeyongedde okukula. Kati aweza emyaka 12.
Abayigiriza beewuunyizza nnyo nti Yesu amanyi bingi nnyo ebikwata ku Katonda n’ebintu ebiri mu Baibuli. Naye lwaki Yusufu ne Malyamu tebali wano? Bali ludda wa? Ka tulabe.
Buli mwaka Yusufu aleeta ab’omu maka ge e Yerusaalemi ku mukola ogw’enjawulo oguyitibwa Okuyitako. Lugendo luwanvu okuva e Nazaaleesi okutuuka e Yerusaalemi. Tewali n’omu alina mmotoka, era tewaliiwo ggaali za muka. Tebyaliwo mu kiseera ekyo. Abantu abasinga obungi batambuza bigere, era kibatwalira ennaku nga ssatu okutuuka e Yerusaalemi.
Naye kati Yusufu alina amaka manene. Bwe kityo waliwo bato ba Yesu abalala ab’okulabirira. Omwaka guno, Yusufu ne Malyamu n’abaana baabwe batambula olugendo oluwanvu okuddayo ewaabwe e Nazaaleesi. Balowooza nti Yesu ali wamu n’abalala ku lugendo. Naye bwe bawummulamu ku nkomerero y’olunaku, Yesu tebamulaba. Bamunoonya mu b’eŋŋanda n’ab’emikwano, naye tali nabo! N’olwekyo baddayo e Yerusaalemi okumunoonya.
Mu nkomerero, Yesu bamusanga wano n’abayigiriza. Abawuliriza ng’ate bw’ababuuza ebibuuzo. Era abantu bonna beewuunya olw’amagezi Yesu g’alina. Naye Malyamu agamba: ‘Mwana wange, lwaki otukoze bw’oti? Taata wo nange tubadde beeraliikirivu nnyo nga tukunoonya.’
‘Lwaki mubadde munnoonya?’ bw’atyo Yesu bw’addamu. ‘Mubadde temumanyi nti nnina okubeera mu nnyumba ya Kitange?’
Yee, Yesu ayagala okubeera w’ayinza okuyigira ku Katonda. Naffe ekyo si kye twandibadde tukola? Ewaabwe e Nazaaleesi, Yesu yagendanga mu nkuŋŋaana okusinza buli wiiki. Olw’okuba yassangayo omwoyo, yayiga ebintu bingi okuva mu Baibuli. Ka tubeere nga Yesu era tugoberere ekyokulabirako kye.
Lukka 2:41-52; Matayo 13:53-56.